Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Agusito 9
Oluyimba 27
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 bwe biba nga bisobola okukola mu kitundu kyammwe, bikozese okulaga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Jjulaayi 15 ne Awake! aka Jjulaayi 22. Ebyokulabirako ebirala biyinza okukozesebwa. Yogera ne ku nteekateeka y’okuwaayo kyeyagalire. Jjukiza abawuliriza okuleeta kopi zaabwe eza brocuwa Atwetaagisa mu lukuŋŋaana lwa wiiki ejja.
Ddak. 15: “Obugumiikiriza Buvaamu Emiganyulo.”a Yogera ne ku ebyo ebiri mu Watchtower aka Ddesemba 15, 2000, empapula 22-3, obutundu 15-18.
Ddak. 20: Okukozesa Tulakiti Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2002, empapula 3-4. Bategeeze nti tuli beetegefu okukola enkyukakyuka ezituukagana n’embeera za buli muyizi nga bwe kiri mu katundu 5. Lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri nga byesigamiziddwa ku butundu 8 okutuuka ku 10. Bwe wabaawo engeri endala eyinza okukola obulungi mu kitundu kyammwe, ginnyonnyole era gy’oba owaako ekyokulabirako. Saba abawuliriza boogere ebyaliwo bwe baakozesa tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?
Oluyimba 11 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 16
Oluyimba 70
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak.15: Fuba Okuyigiriza Abaana Bo Amazima. Kwogera okwesigamiziddwa ku katabo Essanyu mu Maka, empapula 55-59. Yogera ku ngeri nnya abazadde ze bayinza okukozesa okuyamba abaana baabwe okukulaakulanya enkolagana ennungi ne Yakuwa, nga bagoberera amagezi agaweereddwa mu katabo ako.
Ddak. 20: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana—Ekitundu 2.”b Lagayo ekyokulabirako eky’eddakiika ttaano. Omubuulizi abuuza omukadde engeri y’okuyambamu omuyizi wa Baibuli okukulaakulana. Omukadde amugamba nti ekizibu ekitera okubaawo, kwe kumala ebiseera bingi nga mwogera ku bintu ebitali bikulu n’ensonga endala eziteetaagisa nnyo mu kiseera eky’okuyiga. Ng’akozesa essomo 9 mu brocuwa Atwetaagisa, alaga omubuulizi engeri (1) y’okuteeka essira ku nsonga enkulu mu kitundu ekiba kisomebwa, (2) ey’okukozesaamu obulungi ebyawandiikibwa ebiba biragiddwa, ne (3) engeri y’okutuukaganyamu essomo eryo n’ebyetaago by’omuyizi. Era amutegeeza nti kyetaagisa okutegeka obulungi buli lw’aba agenda okusomesa omuyizi.
Oluyimba 38 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 23
Oluyimba 13
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Agusito 1 ne Awake! aka Agusito 8. Mu kimu ku byokulabirako, laga ng’omubuulizi abuulira omusomesa we.
Ddak. 10: “Enteekateeka Empya ey’Okwejjukanya Ebibadde mu Lukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu n’olw’Ennaku Ebbiri.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitundu ekiri ku lupapula 4. Bategeeze ennaku z’omwezi olukuŋŋaana olw’ennaku ebbiri n’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu lwe zinaabeererawo bwe ziba nga zimanyiddwa. Abo abandyagadde okubatizibwa basaanidde okutegeeza omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde ng’ekyabulayo ekiseera.
Ddak. 20: Okugaba Akatabo Creator mu Ssebutemba. Kwogera n’okulaga ebyokulabirako. Nokolayo ku bimu ebyogeddwa ku katabo kano. (w99 6/15 emp. 25-6) Yogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu katabo, era oggumize ezimu ku nsonga enkulu eziyinza okusikiriza abo abali mu kitundu kyammwe. (km 2/99 lup. 2; km 4/99 lup. 2; km 9/99 lup. 2) Yogera ku kyokulabirako ekirimu ennyanjula eri mu katabo Reasoning oba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, ekyawandiikibwa, n’ensonga oba essuula okuva mu katabo Creator. Saba omubuulizi alina obumanyirivu alage ekyokulabirako ekyo. Singa akatabo Creator kaba tekaliiwo, goberera amagezi ge gamu agaweereddwa okulaga ekyokulabirako nga weeyambisa ekitabo ekirala ekiriwo.
Oluyimba 98 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 30
Oluyimba 53
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Agusito.
Ddak. 15: “Essomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde—Omulyango Omugazi Ogutuusa ku Mirimu Emingi.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Yogera ne ku ebyo ebiri mu 2004 Yearbook, empapula 239-40. Bategeeze nti ku lukuŋŋaana olw’ennaku ebbiri ebaayo olukuŋŋaana lw’abo abandyagadde okugenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza. Kubiriza bonna abalina ebisaanyizo okugenda mu ssomero eryo.
Ddak. 20: Oganyuddwa? Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Yogera ku birowoozo ebiddirira ebyali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka mu mwaka gw’obuweereza oguyise: Wandiika ennyanjula yo ku kapapula. (km 10/03 lup. 8) Siima abalala okuviira ddala ku mutima olw’ebyo bye bakoze. (km 11/03 lup. 1) Buulira mu kiseera abantu abasinga obungi kye babeereramu awaka. (km 12/03 lup. 1) Ssaawo ebiseera ebikakafu eby’okusomeramu Baibuli, okuteekateekeramu enkuŋŋaana n’okugenda mu buweereza bw’ennimiro. (km 1/04 lup. 4) Kozesa brocuwa “Ensi Ennungi” nga weeyigiriza era ng’osoma Baibuli. (km 3/04 lup. 2) Teekawo ekiruubirirwa eky’okusoma Baibuli yonna. (km 4/04 lup. 1) Buulira mu bifo awakolerwa bizineesi. (km 7/04 lup. 4) Kozesa tulakiti okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. (km 8/04 lup. 2) Saba abawuliriza boogere ku miganyulo gye bafunye bwe bakozesezza amagezi ago.
Oluyimba 50 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 6
Oluyimba 42
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 25: “Yoleka Omwoyo gw’Obwapayoniya.”c Mu bufunze buuza ebibuuzo payoniya omu oba babiri. Basabe boogere ku ngeri ekyokulabirako ky’abazadde, abakadde oba abalala gye kyabakubiriza okussaawo ekiruubirirwa eky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.
Oluyimba 90 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.