LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/04 lup. 3
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Laba Ebirala
  • Weeyongere Okuganyulwa mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Faayo ku Kugaba Magazini!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 7/04 lup. 3

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Tusobola tutya okufuna kopi za Watchtower ne Awake!?

Okuva enteekateeka ey’okufuna magazini za Watchtower ne Awake! oba obutambi obuliko magazini ezo mu nnimi zonna okuyitira mu poosita bwe yaggibwawo, ababuulizi bonna bateekeddwa okufuna magazini n’obutambi okuyitira mu bibiina byabwe. Kyokka, magazini eziri mu mpandiika ya bamuzibe n’obutambi obubaweerezebwa, byo bisobola okuweerezebwa okuyitira mu poosita eri abo abagwanidde. Weetegereze nti ebibiina bisobola okulagiriza obutambi obuliko magazini nga bakozesa foomu okusabirwa ebitabo by’ekibiina. Magazini eziri mu nnimi engwira n’eziri mu nnukuta ennene, nazo zisobola okulagirizibwa nga mukozesa foomu y’emu.

Singa wabaawo omuntu mu kitundu kyo ayagala okufuna magazini obutayosa, kakasa nti ozimutwalira waleme kubaawo n’emu gyasubwa. Abo abaagobebwa mu kibiina basobola okufuna magazini n’ebitabo ebirala mu kifo we babigabira mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Tosaanidde kutwaliranga magazini omuntu agobeddwa mu kibiina.

Singa Akakiiko Akakola ku Buweereza bw’Ennimiro kasaba okuweereza omuntu magazini okuyitira mu poosita olw’okuba tebasobola kuzimutwalira, omuwandiisi w’ekibiina alina okuweererezaako ebbaluwa eraga nti okusaba okwo kwekenneenyezebwa era ne kukkirizibwa Akakiiko Akakola ku Buweereza bw’Ennimiro.

Kino kitegeeza nti ababuulizi tebalina kuwandiikira ofiisi y’ettabi nga basaba okuweerezebwa magazini okuyitira mu poosita. Foomu eriko okusaba ng’okwo okw’ababuulizi oba abo abaagala okuzisoma, ejja kuzzibwayo eri ekibiina.

◼ Omusibe ayinza atya okufuna magazini?

Bwe kiba kisoboka, ekibiina ekirabirira omulimu gw’okubuulira mu kitundu omuli ekkomera, kisobola okukola enteekateeka ababuulizi batwalire abasibe magazini, mu ngeri eyo omusibe aba asobola okufuna kopi za Watchtower ne Awake! Kino bwe kiba nga tekisoboka, omusibe kennyini ayinza okuwandiikira ofiisi y’ettabi ng’asaba okuweerezebwa magazini okuyitira mu poosita. Weetegereze nti n’abo abagobeddwa mu kibiina kyokka nga basibe nabo basobola okufuna magazini nga bwe kiragiddwa mu kitundu kino.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza