LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/04 lup. 3
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 7/04 lup. 3

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino wammanga ey’empapula 32 eyinza okugabibwa: A Book for All People, Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?; Gavumenti Eneereta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, When Someone You Love Dies?, ne Will There Ever Be a World Without War? Ssebutemba: Tujja kugaba akatabo Is There a Creator Who Cares About You? Oba Life​—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation? (akatono oba ekinene), oba Revelation​—Its Grand Climax At Hand! Okitobba: Wajja kubeerawo kampeyini ey’enjawulo ey’okugaba brocuwa empya, naye zo magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! zijja kugabibwa mu mwezi gwonna. Ebirala ebinaabayamba okukakasa nti magazini zonna ze mufuna zigabibwa bijja kubategeezebwa gye bujjako awo. Bw’osanga omuntu ayagala okumanya ebisingawo, oyinza okumuwa brocuwa Atwetaagisa, era n’okola enteekateeka okutandika okumuyigiriza Baibuli.

◼ Okutandika ne Ssebutemba, abalabirizi b’ebitundu bajja kuwa emboozi ya bonna erina omutwe ogugamba nti: “Okwaŋŋanga Ebiseera eby’Omu Maaso nga Tulina Okukkiriza era nga Tuli Bavumu.”

◼ Nga bakola mu kitundu ekitannaweebwa kibiina kyonna, ababuulizi bayinza okugaba brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya. Nnyinimu bw’aba ng’ebyo abirina, oyinza okumuwa akatabo akalala konna. Bonna balina okutwala tulakiti ezimala ez’okuleka mu maka awatasangiddwa bantu oba ez’okuwa abo abatayagala bitabo. Okufuba kwetaagisa okusobola okuddira abo abaagala okumanya ebisingawo, nnaddala bwe kiba nti ekitundu ekyo kiri kumpi n’ekibiina ekimu.

◼ Abawandiisi b’ebibiina basaanidde okubeera ne foomu ezimala Okusabirwa Okukola nga Payoniya owa Bulijjo (S-205), n’ezo Okusabirwa Okukola nga Payoniya Omuwagizi (S-205b). Zino ziyinza okusabibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Beera n’ezinaamala omwaka gwonna.

◼ Nga temunaaweereza ku ofiisi y’ettabi foomu okusabirwa okukola nga bapayoniya owa bulijjo, omuwandiisi w’ekibiina asaanidde okuzeekenneenya okukakasa nti zijjuziddwamu bulungi. Abo abasaba bwe baba nga tebakyajjukira lunaku lwe baabatizibwako, bandiruteebeerezza era ne baluwandiika. Omuwandiisi asaanidde okuwandiika olunaku olwo ku kaadi eyitibwa Congregation’s Publisher Record.

◼ Bw’obanga okola enteekateeka y’okugendako mu nsi endala ng’ezingiramu okubeera mu nkuŋŋaana z’ekibiina, oba mu nkuŋŋaana ennene, okusaba kwo okukwata ku kutegeezebwa ennaku, ebiseera n’ebifo by’enkuŋŋaana ezo, kulina kuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi ekubiriza omulimu mu nsi eyo. Endagiriro za ofiisi z’ettabi ziri ku lupapula olusembayo mu Yearbook ekyali empya.

◼ Kyetaagisa ofiisi y’ettabi okubeera n’ebiwandiiko ebituufu eby’endagiriro n’ennamba z’essimu ez’abakadde abakubiriza obukiiko bw’abakadde n’ez’abawandiisi. Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna mu ndagiriro, Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina kandijjuzizzaamu foomu eyitibwa Presiding Overseer/Secretary Change of Address (S-29), ne kagissaako emikono era n’eweerezebwa ku ofiisi y’ettabi amangu ddala. Kino kitwaliramu n’enkyukakyuka mu nnamba y’essimu mu kitundu ekyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza