Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Jjulaayi 12
Oluyimba 18
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4, laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Jjuuni 15 ne Awake! aka Jjuuni 22. Mu kimu ku byokulabirako, laga ng’omubuulizi ali ku kkubo agabira magazini omuntu atasobola kwogera bulungi lulimu lw’omubuulizi.
Ddak. 18: “Koppa Obwenkanya bwa Yakuwa.”a Ng’ebiseera bwe biba bikusobozesa, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiragiddwa.
Ddak. 15: Baibuli—Ekitabo Ekirimu Obunnabbi Obwesigika. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku brocuwa A Book for All People, empapula 27-9. Bwe tuba mu buweereza bwaffe, tutera okusanga abantu abaagala okumanya ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Baibuli etutegeeza ebintu ebyesigika ebikwata ku biseera eby’omu maaso eby’essanyu abantu abawulize bye bajja okubeeramu. Yogera ku bunnabbi obumu obw’omu Baibuli obutusobozesa okweyongera okwesiga ebyo Baibuli by’eyogerako ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Saba omubuulizi alage ekyokulabirako ku ngeri obunnabbi bwa Baibuli obutuukiriziddwa gye busobola okukozesebwa okuyamba omuntu ayagala amazima okweyongera okwesiga Baibuli.
Oluyimba 86 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjulaayi 19
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Mukubaganye ebirowoozo ku bukulu bw’okubeera n’enteekateeka y’okusoma Baibuli obutayosa, wadde nga wayinza okubaawo ebitaataaganya enteekateeka eyo. Yogera ne ku ebyo ebiri mu Watchtower aka Agusito 15, 2000, olupapula 32.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana—Ekitundu 1.” Kwogera nga kwa kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Saba abawuliriza boogere ku ebyo ebiri mu kitabo Proclaimers empapula 572-4, ebiraga engeri omulimu gw’okuyigiriza Baibuli gye guzze gukulaakulanamu mu kiseera kino. Baleetere okwesunga ebitundu ebirala ebinaaddaako ebikwatagana na kino. Mu ebyo ebijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mwe muli ekikwata ku ngeri y’okweteekerateekera okuyigiriza omuntu Baibuli, engeri y’okuyambamu omuyizi okutegeka, obungi bw’ebyo by’olina okuyigiriza, engeri y’okukozesaamu obulungi ebyawandiikibwa, engeri y’okuddamu ebibuuzo omuyizi by’aba abuuzizza, ddi lw’olina okutandika okusaba, n’engeri y’okukubiriza omuyizi okujja mu nkuŋŋaana. Kubiriza bonna okukozesa ebirowoozo ebiweereddwa era n’okuteereka ebitundu ebyo kubanga bijja kukozesebwa mu biseera eby’omu maaso.
Oluyimba 5 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjulaayi 26
Oluyimba 65
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjulaayi. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4, laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Jjulaayi 1 ne Awake! aka Jjulaayi 8. Mu buli kyakulabirako laga engeri ey’enjawulo ey’okuddamu abo abatuziyiza okwogera nabo nga bagamba nti “Lwaki mujja mu maka gaffe olutata?”—Laba akatabo Reasoning olupapula 20.
Ddak. 8: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kya kukubirizibwa omukadde. Soma era mukubaganye ebirowoozo ku kitundu kyonna.
Ddak. 25: “Engeri y’Okubuulira mu Kitundu Ekikolerwamu Bizineesi.”b Yogera ku nteekateeka y’ekibiina ey’okukola mu bifo ng’ebyo. Mu bufunze, laga ebyokulabirako ebibiri ebiri mu butundu 4-5 oba ekyokulabirako ekirala ekituukirawo mu kitundu kyammwe. Ng’ebiseera bwe biba bikusobozesezza, saba abawuliriza boogere ku bintu ebizzaamu amaanyi ebyaliwo nga babuulira mu bitundu awakolerwa bizineesi.
Oluyimba 52 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 2
Oluyimba 22
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 22: Owa Ensonga? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ministry School olupapula 254, obutundu 1-2. Nga tunnyonnyola era nga tulaga engeri ebyawandiikibwa gye bisobola okukozesebwamu nga tuli mu buweereza bw’ennimiro oba nga tuli ku pulatifoomu, okuyigiriza kwaffe kujja kweyongera okuba okulungi singa tuwa n’ensonga lwaki ebyo bye twogerako bituufu mu kifo ky’okumala googera bwogezi. Ng’okozesa ebyokulabirako okuva mu katabo Reasoning oba ekitabo ekirala kyonna ekisaana mu kitundu kyammwe, laga engeri (1) y’okulondamu ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu eziri mu kyawandiikibwa era n’okuzinnyonnyola, (2) y’okuwa obukakafu obuwagira ensonga enkulu eri mu kyawandiikibwa ekyo ng’ojuliza ennyiriri endala eziriraanyewo oba ebyawandiikibwa ebirala ebikwata ku nsonga eyo, (3) y’okukozesaamu ekyokulabirako okusobola okulaga obutuufu bw’ebyo by’oyogerako, ne (4) y’okukozesa ebibuuzo okusobola okuyamba abakuwuliriza okufumiitiriza ku nsonga eyo. Yogera ku miganyulo egiri mu kukubaganya ebirowoozo mu ngeri eno.
Ddak. 15: Kozesa Bulungi Akatabo 2004 Yearbook. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo. Yogera ku bikulu ebiri mu “Bbaluwa Eva ku Kakiiko Akafuzi,” emiwendo egimu egiraga okweyongerayongera okw’amaanyi egiri mu lipoota ey’ensi yonna, n’ebyokulabirako ebitonotono ebizzaamu amaanyi. Kubiriza bonna okusoma akatabo ako konna omwaka guno.
Oluyimba 12 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.