LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/04 lup. 7
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 6/04 lup. 7

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjuuni: Learn From the Great Teacher. Singa abantu abamu bagamba nti tebalina baana, bawe brocuwa Atwetaagisa. Bw’oba ogaba brocuwa eno essira lisse ku kutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula 32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?; Gavumenti Eneereta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies? Ssebutemba: Tujja kugaba akatabo Is There a Creator Who Cares About You? Oba Life​—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation?

◼ Okusobola okukakasa nti Ekizimbe ky’Obwakabaka kikuumibwa bulungi, omuntu aba asembyeyo okukivaamu asaanidde okusiba enzigi n’okukola ebirala ebyetaagisa okukuuma ekizimbe ekyo. Bw’aba nga tasobola kukola bintu ebyo, asaanidde okuyita omuntu omulala asobola era n’okumulinda okutuusa lw’ajja. Abakadde basaanidde okumanya ababuulizi abalina ebisumuluzo by’Ekizimbe ky’Obwakabaka.

◼ Mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba mujja kubaamu ebikwata ku vidiyo eyitibwa Respect Jehovah’s Authority. Vidiyo eno eri mu Lungereza. Ebibiina byonna bijjukizibwa nti bwe banaaba basaba ebitabo by’ekibiina omulundi oguddako, basabireko ne vidiyo eno.

◼ Ng’oli mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Tambula ne Katonda,” jjukira okuwandiika ensonga enkulu ezijja okukuyamba okwenyigira mu kwejjukanya ebyali mu lukuŋŋaana olwo okunaabaawo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu Okitobba.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza