Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 28, 2004. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30 nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Maayi 3 okutuuka nga Jjuuni 28, 2004. [Weetegereze: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]
ENSONGA EZ’OKWOGERAKO
1. Biki ebiyinza okutulemesa okwogera mu ngeri eya bulijjo nga tuli ku platifomu? [be lup. 179 kat. 4]
2. Lwaki okussa obulungi n’okukkakkanya ebinywa byaffe si bye byokka ebyetaagisa mu kulongoosa eddoboozi lyaffe? [be lup. 181 kat. 2]
3. Bwe tuba tubuulira abalala amazima agakwata ku Baibuli, bintu ki bye tuyinza okukola okusobola ‘okufuuka byonna eri bonna’? (1 Kol. 9:20-23) [be lup. 186 but. 2-4]
4. Okuwuliriza obulungi nga tuli mu buweereza kizingiramu ki? [be lup. 187]
5. Lwaki kikulu okussa ekitiibwa mu buli gwe tuba tusanze mu buweereza bwaffe? [be lup. 190]
EMBOOZI 1
6. Abo abayigiriza abalala obubaka bwa Katonda balina kiruubirirwa ki, era kiki ekinaabayamba okutuuka ku kiruubirirwa ekyo? (Mat. 5:16; Yok. 7:16-18) [be lup. 56 kat. 3–lup. 57 kat. 2]
7. Lwaki kirungi okugeraageranya ebintu nga tuyigiriza, era Yesu yakozesa atya engeri eno ey’okuyigiriza? [be lup. 57 kat. 3; lup. 58 kat. 2]
8. Okwawukana ku Bafalisaayo, okuyigiriza kwa Yesu kwatuuka kutya ku mitima gy’abantu? [be lup. 59 but. 2-3]
9. Tuyinza tutya okuyamba abo be tuyigiriza okukolera ku bye bayiga naye nga si ffe ababasaliddewo? [be lup. 60 but. 1-3]
10. Singa omuntu atubuuza ekibuuzo ekikwata ku ekyo ye ky’alina okwesalirawo ku lulwe, twandimuzzeemu ki? [be lup. 69 but. 4-5]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Lwaki Musa yagoberera ‘pulaani ya weema n’ey’ebintu byayo byonna’? (Kuv. 25:9) [it-2 lup. 1058 kat. 7]
12. Tuyinza kuyiga ki ku ngeri Alooni gye yaddamu Musa ku bikwata ku kayana aka zaabu? (Kuv. 32:24)
13. Kiki kye tuyigira ku ngeri Abaisiraeri gye baalagamu okukkiriza nga bagondera ekiragiro kya Yakuwa ekiri mu Okuva 34:23, 24?
14. Ekigendererwa kya ssaddaaka eweebwayo olw’emirembe kye kiruwa? (Leev. 3:1)
15. Alooni okulondebwa mu kifo ky’obwakabona nga bwe kiri mu Eby’Abaleevi 8:23, kituukagana kitya ne Yesu okubeera kabona? [it-2 lup. 1113 kat. 4; w68 lup. 399 kat. 24]