Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maayi: Mugabe Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo nga mwe muli n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala lwonna olw’ekibiina naye nga tebatera kujja mu nkuŋŋaana, laba nti obawa akatabo Sinza Katonda. Fuba okutandika okubayigiriza Baibuli, naddala bwe kiba nti abamu baamala dda okusoma akatabo Okumanya ne brocuwa Atwetaagisa. Jjuuni: Learn From the Great Teacher. Singa abantu abamu bagamba nti tebalina baana, bawe brocuwa Atwetaagisa. Bw’oba ogaba brocuwa essira lisse ku kutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula 32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?; Gavumenti Eneereta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, When Someone You Love Dies.
◼ Nga Jjuuni 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka, Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala yenna gw’aba alonze, asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina okukakasa nti bituufu. Nga kino kimaze okukolebwa, mukirangirire eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ Abayizi b’omu Ssomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde ery’omulundi 15 eryali mu Kenya, baamaliriza emisomo gyabwe nga Jjanwali 25, 2004. Abayizi abo 24 baava mu Ethiopia, Kenya, Sudan, Tanzania ne Uganda. Programu yazzaamu nnyo abayizi amaanyi awamu n’abalala abaaliwo. Ab’oluganda abali obwannamunigina, nga bali wakati w’emyaka 23-50, era nga baagala okugenda mu ssomero eryo, bayinza okutegeezebwa ebisingawo mu lukuŋŋaana olunaakubirizibwa omulabirizi wa disitulikiti olunaabaawo mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olunaddako. Balina okuba nga bamaze emyaka egitakka wansi w’ebiri nga bakola ng’abaweereza oba abakadde.
◼ Essomero erisooka ery’Abalabirizi Abatambula lyaliwo e Kenya okuva nga 20 Febwali okutuuka nga Apuli 17, 2004. Enteekateeka zikolebwa okuba n’amasomero amalala abiri. Abalabirizi abatambula okuva mu Burundi, Ethiopia, Kenya, Rwanda, Sudan, Tanzania ne Uganda bajja kubaawo.
◼ Okutandika ne Jjuuni, foomu eziweerezebwa buli mwaka zijja kuweerezebwa bwe zinaaba nga weeziri. Obulagirizi obukwata ku nkozesa ya foomu ezo bujja kuteekebwa ku lukalala olulaga ebitabo ebiweerezeddwa mu kibiina. Singa mu Kizimbe ky’Obwakabaka mukuŋŋaaniramu ebibiina ebisukka mu kimu, omutabaganya w’ebibiina ku nsonga ezikwata ku bitabo asaanidde okulaba nti buli kibiina kifuna foomu zaakyo amangu ddala nga zaakafunibwa.
◼ Ng’oli mu Lukuŋŋaana Olunene Olwa “Tambula ne Katonda,” jjukira okubaako ne by’owandiika, osobole okwenyigira mu kwejjukanya okunnaabaawo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza oluvannyumako mu mwaka.