Okugaba Ekitabo Learn From the Great Teacher
◼ “Olowooza ensi teyandibadde nnungi okusingawo singa abantu bassa mu nkola ebigambo bino? [Soma Matayo 7:12a. Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitabo kino kirimu bingi eby’okuyiga okuva eri omuyigiriza asinga obukulu eyali abaddewo ku nsi.” Mulage ebifaananyi n’obugambo obubyogerako mu ssuula 17.
◼ “Abazadde abasinga obungi leero bafuba okuyigiriza abaana baabwe empisa ennungi. Naye gwe olowooza kino kikulu? [Muleke abeeko ky’addamu. Soma Engero 22:6.] Weetegereze nti abazadde bakubirizibwa okutandikirawo okuyigiriza abaana baabwe nga bakyali bato. Ekitabo kino kyategekebwa okuyamba abazadde okukola kino.” Mulage ebifaananyi n’obugambo obubyogerako mu suula 15, 18, oba 32.
◼ “Emirundi mingi abazadde beewuunya ebibuuzo abaana baabwe bye bababuuza. Ebimu ku bibuuzo ebyo biyinza okuba ebizibu okuddamu, si bwe kiri? [Muleke abeeko ky’addamu. Soma 2 Timoseewo 3:14, 15.] Maama wa Timoseewo ne jjajjaawe baatandikirawo okumuyigiriza Ebyawandiikibwa ng’akyali muwere. Mu ngeri y’emu leero, ekitabo kino kiyinza okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe.” Mulageeyo ebimu ku bifaananyi n’obugambo obubyogerako mu ssuula 11, 12 oba 34 okutuuka ku 36.