LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/04 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjanwali 12
  • Wiiki Etandika Jjanwali 19
  • Wiiki Etandika Jjanwali 26
  • Wiiki Etandika Febwali 2
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 1/04 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjanwali 12

Oluyimba 52

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 4, laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Ddesemba 15, ne Awake! aka Ddesemba 22. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Oluvannyuma lwa buli kyakulabirako, yogera ku birungi ebikibaddemu.

Ddak. 15: “Amagezi Agava eri Katonda ga Muwendo Nnyo.”a Ng’ebiseera bwe bikusobozesa, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.

Ddak. 20: Ebitabo Ebippya bye Twasanyuka Okufuna! Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Twasanyuka nnyo okufuna ebitabo bisatu ebippya mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Muwe Katonda Ekitiibwa.” Akatabo ‘Laba Ensi Ennungi’ ka njawulo nnyo ku bitabo ebirala bye tulina. Buli lw’obikkula olupapula, olabamu ekintu ekikwataganyizibwa n’Ensi Ensuubize. Yogera ku nsonga ezimu eziri ku mmaapu ezitali zimu. Wa amagezi ku ngeri akatabo kano gye kayinza okukozesebwamu. Ekitabo Learn From the Great Teacher kijja kwongera okuyamba abaana baffe mu by’omwoyo. Yogera ku nsonga ezimu ezituukidde mu kiseera ekituufu era olage engeri abazadde n’abaana gye bayinza okuziganyulwamu. Nga twasanyuka nnyo okufuna Baibuli enzijuvu eya New World Translation of the Holy Scriptures mu Luswayiri mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti oluwedde! Ofiisi efunye amabaluwa mangi agooleka okusiima. Enzivuunula eno ejja kwongera okuyamba abantu aboogera Oluswayiri okutegeera obulungi Ebyawandiikibwa Ebitukuvu nga bwe beeyongera okusoma Baibuli buli lunaku. (Bik. 17:11) Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye bakozesaamu obulungi ebitabo bino ebippya.

Oluyimba 94 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 19

Oluyimba 15

Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.

Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kwogera kw’omukadde.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina. Yogera ne ku ebyo ebiri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Our Kingdom Ministry aka Ssebutemba 1979, lupapula 4, akalaga emiganyulo egiri mu kuwaayo lipoota zaffe obutayosa. Yogera ku ngeri ekibiina gye kikolamu mu kuwaayo lipoota obutayosa.

Ddak. 15: “Tuyinza Tutya Okuyamba Omu ku Bafumbo Atali Mujulirwa?”b Buuza ebibuuzo omuntu omu oba babiri abaatandika okuweereza Yakuwa olw’okuba bannaabwe mu bufumbo abaali baweereza Yakuwa baali babateereddewo ekyokulabirako ekirungi.

Oluyimba 45 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 26

Oluyimba 21

Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Jjanwali. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 4, laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Jjanwali 1 ne Awake! aka Jjanwali 8. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Mu kimu ku byokulabirako, laga engeri y’okugabira muliraanwa magazini.

Ddak. 15: Kozesa Ekigambo kya Katonda mu Bulamu Bwo Buli Lunaku. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo. Kubiriza bonna okukozesa obulungi akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku​—2004. Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu nnyanjula ku mpapula 3-4. Saba abawuliriza boogere ekiseera ekibasingira okubeera ekirungi okwekenneenya ekyawandiikibwa ekya buli lunaku. Kubaganya ebirowoozo n’ekibiina ku kyawandiikibwa eky’olunaku olwo n’ebigambo ebikyogerako. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye bayinza okukozesaamu ebyogeddwa. Bonna bakubirize okuwaayo akadde buli lunaku okulowooza ku ngeri gye bayinza okukozesaamu ekyawandiikibwa ekya buli lunaku.

Ddak. 18: Okukola Emikwano ne Bakkiriza Bannaffe. (Nge. 18:24; 27:9) Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Ddesemba 1, 2000, empapula 22-3. Ogumu ku miganyulo egiri mu kusinza okw’amazima, kwe kuba nti tusobola okufuna emikwano egya nnamaddala. Bannaffe be tubeera nabo mu nkuŋŋaana, mu buweereza bw’ennimiro ne mu biseera ebirala, batuzzaamu nnyo amaanyi. Tusobola tutya okukola emikwano mu kibiina? Yogera ku kasanduuko akalina omutwe “Ensonga Mukaaga Eziviirako Omukwano Okunywera,” era saba abawuliriza boogere ku ngeri buli emu ku nsonga ezo gy’eyinza okukozesebwamu nga tukolagana ne baganda baffe.

Oluyimba 79 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Febwali 2

Oluyimba 90

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku bitabo eby’okugaba mu Febwali. Yogera ku ngeri z’okugabamu akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2003, olupapula 3. Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 20: “Weegendereeze Engeri gy’Okozesaamu Ebiseera Byo.”c Saba abawuliriza boogere ku kye bakola obutaganya bintu ebitali bikulu okuyingirira enteekateeka zaabwe ez’eby’omwoyo. Yogera ku bintu ebitwala obudde mu kitundu kyammwe.

Ddak. 15: Mukoppe Pawulo nga Naye Bwe Yakoppa Kristo. (1 Kol. 11:1) Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Okufaananako Yesu, Pawulo yakozesanga buli kakisa ke yafuna okuwa obujulirwa ‘abo abaamusisinkananga.’ (Bik. 17:17) Mu ngeri ki gye tuyinza okukola kino mu kitundu kyaffe? Baani be ‘tusisinkana’ bwe tugenda okugula ebintu, nga tuli ku mulimu oba ku ssomero, oba nga tuli mu ntambula eza lukale? Baani be tuyinza okubuulira awaka? Saba abawuliriza boogere ku ebyo ebyaliwo bwe baabuulira abantu be baasanga nga bakola emirimu gyabwe egya bulijjo.

Oluyimba 64 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza