LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/03 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjuuni 9
  • Wiiki Etandika Jjuuni 16
  • Wiiki Etandika Jjuuni 23
  • Wiiki Etandika Jjuuni 30
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 7
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 6/03 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

WEETEGEREZE: Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kajja kubaamu enteekateeka y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza buli wiiki mu myezi enkuŋŋaana za disitulikiti we zinaabeererawo. Ebibiina biyinza okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okwetaba mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Muwe Katonda Ekitiibwa.” We kiba kisaanira, mukozese eddakiika 15 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olusembayo nga temunnagenda mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti, okuggumiza nate okubuulirira okuli ku lupapula olw’omunda olw’omwezi guno okutuukana n’ekibiina kyammwe. Mu mwezi gwa Okitobba, Olukuŋŋaana lw’Obuweereza lwonna lujja kukozesebwa okwejjukanya ebikulu ebyali mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Okusobola okweteekerateekera okwejjukanya okwo, ffenna tuyinza okubaako n’ensonga enkulu ze tuwandiika nga tuli mu lukuŋŋaana, nga mwe muli n’ezo ze twagala okuteeka mu nkola mu bulamu bwaffe, n’ez’okweyambisa mu buweereza bw’ennimiro. Oluvannyuma tuyinza okuzzaamu abalala amaanyi nga tunnyonnyola engeri gye tuzze tweyambisa amagezi agaatuweebwa mu lukuŋŋaana olwo.

Wiiki Etandika Jjuuni 9

Oluyimba 36

Ddak 12: Ebirango by’ekibiina. Ebirango Ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 8, lagayo ebyokulabirako bibiri eby’enjawulo ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Maayi 15 ne Awake! aka Maayi 22. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Somayo ekyawandiikibwa mu buli kyakulabirako.

Ddak. 15: “Obuweereza obw’Ekikristaayo​—Omulimu Gwaffe Ogusingayo Obukulu.”a Kubiriza abavubuka okulowooza ku mikisa gye bayinza okufuna bwe bayingira mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Yogera ne ku ebyo ebiri mu Watchtower aka Noovemba 1, 2000, empapula 19-20 wansi w’omutwe “Enono n’Omuntu ow’Omunda bwe Bikontana.”

Ddak. 18: “Okukuŋŋaana Awamu Okutendereza Yakuwa.”b Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Kubiriza bonna okubeerawo mu bitundu byonna, okuva ku Lwokutaano ku makya okutuukira ddala ku Ssande olweggulo. Ggumiza obukulu bw’okussa mu nkola bye tuyiga mu kifo ky’okuwulira obuwulizi. Yogera ku kitundu ekisooka waggulu ekikwata ku nteekateeka ekoleddwa ekwata ku Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu Okitobba, mwe tujja okwejjukanyiza ebikulu ebijja okuba mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Kubiriza bonna okubaako bye bawandiika.

Oluyimba 84 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 16

Oluyimba 45

Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’eby’embalirira. Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 18: “Ba Kyakulabirako mu Bikolwa Ebirungi.”c Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Ggumiza obwetaavu bw’okugoberera obulagirizi obukwata ku nteekateeka y’eby’ensula etutegekeddwa olw’okutuganyula. Nnyonnyola lwaki kikulu buli omu okubeera n’empisa ennungi.

Oluyimba 4 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 23

Oluyimba 32

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 8, lagayo ebyokulabirako bibiri eby’enjawulo ebiraga engeri y’okugaba Watchtower aka Jjuuni 1 ne Awake! aka Jjuuni 8. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Mu kimu ku byokulabirako, laga ng’omubuulizi abuulira ku luguudo.

Ddak. 20: Kiki Ekiyinza Okukolebwa Singa Oggwamu Amaanyi? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Noovemba 15, 1999, empapula 28-9, okutuuka ku mutwe omutono “Okubeera n’Endowooza Ennuŋŋamu.” Yogera ku magezi ag’omuganyulo awamu n’okubuulirira okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Kola enteekateeka nga bukyali omubuulizi omu oba babiri abakola obulungi bannyonnyole ekibayamba okusigala nga basanyufu mu buweereza.

Ddak. 15: “Okubuulira mu Nsi Egenda Ekyukakyuka.”d Nga mukubaganya ebirowoozo ku butundu 2-3, saba abawuliriza boogere ku bintu ebiriwo kati mu nsi ebiyinza okukozesebwa okutandika okunyumya n’abantu mu kitundu kyammwe. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, lagayo ekyokulabirako mu bufunze ng’okozesa emu ku nnyanjula ezoogeddwako.

Oluyimba 19 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 30

Oluyimba 1

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Jjuuni. Yogera ku bitabo eby’okugaba mu Jjulaayi ne Agusito. Yogera ku brocuwa bbiri eziriwo mu kibiina. Lagayo ekyokulabirako ekitegekeddwa obulungi ekiraga engeri y’okuzigabamu mu buweereza. Okusobola okufuna ennyanjula endala ez’okukozesa, laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi 1998 olupapula 8. Ennyanjula endala ziyinza okufunibwa mu Watch Tower Publications Index wansi w’omutwe “Ennyanjula” n’omutwe omutono “Olukalala lw’Ebitabo.”

Ddak. 15: “Baliko Obulema​—Kyokka Babala Ebibala.”e Baako ebirala by’oyogera ku ngeri abalala gye bayinza okuyambamu, ng’okozesa Awake! aka Agusito 22, 1990, empapula 22-3, wansi w’omutwe “Kiki Ekiyinza Okukolebwa?”

Ddak. 20: Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda Okubuulira Obwakabaka. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Tufuba nnyo okubuulira buli muntu gwe tusanga mu buweereza ebintu ebizimba ebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa nga bikwata ku Bwakabaka. Kyokka, twagala okukola ekisingawo ku kusoma obusomi Ekyawandiikibwa. Twagala okukinnyonnyola, okukiwaako ekyokulabirako n’okubalaga engeri gye kibakwatako. Laga engeri kino gye kiyinza okukolebwamu, ng’okozesa ebimu ku byawandiikibwa ebiri mu katabo Reasoning empapula 154-5, wansi w’omutwe omutono oguli mu italiki “Abafuzi tebawa bantu bintu bye beetaaga ennyo.” Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo, saba omubuulizi eyeetegese obulungi alage engeri y’okukozesaamu obulungi ekyawandiikibwa ng’ali mu kuddiŋŋana, ng’annyonnyola mu ngeri etuukira ddala ku nsonga, ng’awa ekyokulabirako ekyangu era ng’alaga nnyinimu engeri obufuzi bw’Obwakabaka gye bujja okumuganyula. Omubuulizi atandika okulaga ekyokulabirako ng’asoma ekyawandiikibwa. Oluvannyuma lw’ekyokulabirako, mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ekyawandiikibwa gye kinnyonnyoddwamu, engeri gye kiweereddwako ekyokulabirako era n’engeri gye kiteekeddwa mu nkola. Kubiriza bonna okukulaakulanya obusobozi bw’okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda.

Oluyimba 21 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 7

Oluyimba 15

Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.

Ddak. 17: “Engoye Ezisaanira Zooleka Okutya Katonda.”f Kya kukubirizibwa omukadde. Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Saba ow’oluganda asoma obulungi asome buli katundu.

Ddak. 23: “Okumanyisa Erinnya lya Katonda.”g Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, yogera ne ku ebyo ebiri mu kasanduuko “Okumanyisa Erinnya lya Katonda” akasangibwa ku lupapula 124 mu kitabo Proclaimers. Saba omubuulizi alina obumanyirivu alage ekyokulabirako ekiraga engeri y’okuddiŋŋanamu. Ng’okozesa ebyawandiikibwa bibiri oba bisatu okuva mu katabo Reasoning, empapula 196-7, laga engeri gye kiri ekikulu okukozesa erinnya lya Katonda.

Oluyimba 30 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

f By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

g By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza