Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Maayi 12
Oluyimba 68
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 8, lagayo ebyokulabirako bibiri eby’enjawulo ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Apuli 15 ne Awake! aka Apuli 22. Mu byokulabirako byombi, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Tegeeza nnyinimu enteekateeka y’okubaako ky’awaayo.
Ddak. 20: Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okukulaakulana. Okwogera okuggumiza ensonga enkulu mu kitabo Ministry School, empapula 9-12 ne 21-38. Kubiriza abazadde okukozesa ebimu ku ebyo ebiri ku mpapula ezo mu kuyiga kwabwe okw’amaka, nga balina ekiruubirirwa eky’okutendeka abaana baabwe okukulaakulana mu buweereza. Nokolayo ensonga ezimu eziyinza okukozesebwa okuyamba abaana okufuna obumanyirivu obwetaagisa.
Ddak. 15: “Tutereseddwa Amawulire Amalungi.”a Tegeka nga bukyali omubuulizi omu oba babiri bannyonnyole engeri gye baasobola okukola enkyukakyuka mu mbeera zaabwe ne basobola okugaziya ku buweereza bwabwe.
Oluyimba 21 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 19
Oluyimba 29
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Mukubaganye ebirowoozo ku katundu “Omulimu gw’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Nsi Ezimu ez’Omu Bulaaya.” Bategeeze nti okuzimbibwa kw’Ebizimbe by’Obwakabaka mu nsi ezitali bulungi mu by’enfuna ne mu ttabi lyaffe, kuwagirwa na kuwaayo mu Nsawo y’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 15: “Tendereza Yakuwa ng’Obuulira Embagirawo.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, saba abawuliriza boogere ekiyinza okwogerwa okutandika okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli ku bino ebiddirira: (1) ng’ogenze mu katale okugula ebintu, (2) ng’okozesa entambula eya lukale, (3) ng’oyogera ne muliraanwa akola mu luggya lwe, (4) mukozi munno ku mulimu, (5) musomi munno ku ssomero. Tegeka nga bukyali ekyokulabirako ekyali mu kitundu kyammwe ekiraga engeri omubuulizi gye yasobola okubuulira embagirawo.
Oluyimba 56 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 26
Oluyimba 77
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Maayi. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 8, lagayo ebyokulabirako bibiri eby’enjawulo ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Maayi 1 ne Awake! aka Maayi 8. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Ku nkomerero y’ekyokulabirako ekimu, lekera omuntu atakkiriza kutwala magazini tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?
Ddak. 10: “Okulaga nti Tusiima Ebitabo Byaffe.” Kwogera.
Ddak. 25: “Ekigambo kya Katonda ge Mazima.”b Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Saba abawuliriza boogera ku ngeri gye baayambibwamu okuyiga amazima omubuulizi bwe yakozesa Baibuli okuddamu ebibuuzo byabwe. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, saba omubuulizi alina ebisaanyizo alage ekyokulabirako ku ngeri y’okukozesaamu Baibuli mu lukyala olusooka, ng’akozesa agamu ku magezi agaaweebwa mu kitundu “Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda.”—km 12/01 lup. 1 but. 3-4.
Oluyimba 86 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 2
Oluyimba 76
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku kirowoozo kimu oba bibiri ebiri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002 ebiraga engeri y’okugabamu brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya.
Ddak. 20: Obufumbo obw’Ekitiibwa—Katonda ky’Atwetaagisa. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Mu nsi nnyingi, kya bulijjo omusajja n’omukazi okubeera awamu nga tebafumbiriganiddwa mu mateeka. Abamu bagamba nti kino kirimu emiganyulo. Laga Baibuli ky’egamba ku nsonga eno, era kiggumize nti obufumbo bwatandikibwawo Katonda. (rs emp. 248-9) Okubeera awamu nga temufumbiriganiddwa buba bwenzi. (fy-LU lup. 17) Okwawukana ku ebyo abangi bye bakkiririza, okunoonyereza kulaga nti okubeera awamu nga temufumbiriganiddwa kuyinza okuviiramu obufumbo obutawangaala. (g02 3/8 lup. 29; g92 9/8 lup. 28; g91 5/8 lup. 28) Abakristaayo bassa ekitiibwa mu Yakuwa nga bagoberera emitindo gye. Bwe bakola bwe batyo, bafuna emiganyulo.—Is. 48:17, 18.
Ddak. 15: Oganyulwa Otya? Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kukubirizibwa omulabirizi w’essomero. Okutandika ne Jjanwali, twatandika okugoberera enkola empya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Mu bufunze, yogera ku bintu ebimu ebippya ebiri mu ssomero lino. Yogera ku bintu ebirungi ebivuddemu. Abalala bangi beewandiisiza mu ssomero? Bangi balaze nti baagala okulyenyigiramu? Abayizi baganyulwa batya mu nteekateeka emppya ez’okubawabula? Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baganyuddwamu kinnoomu era n’engeri programu eno empya gy’ejja okubayamba mu biseera eby’omu maaso.
Oluyimba 43 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.