LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/03 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjanwali 13
  • Wiiki Etandika Jjanwali 20
  • Wiiki Etandika Jjanwali 27
  • Wiiki Etandika Febwali 3
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 1/03 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjanwali 13

Oluyimba 64

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango Ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa amagezi agaweereddwa ku lupapula 4, laga ebyokulabirako bibiri ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Ddesemba 15 ne Awake! aka Ddesemba 22. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako.

Ddak. 15: Bawangulwa Awatali Kigambo. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Empisa ennungi ez’Ekikristaayo ziwa obujulirwa bwa maanyi nnyo. Zireetedde abamu mu bufumbo abataali bakkiriza okufuuka abasinza ba Yakuwa. (1 Peet. 3:1, 2) Yogera ku byokulabirako ebiri mu Watchtower aka Jjanwali 1,1999, olupapula 4; aka Okitobba 1, 1995, empapula 10-11; ne 1995 Yearbook, olupapula 46. Tegeka ng’ekyabulayo ekiseera ababuulizi babiri oba basatu boogere ku bintu ebirungi bye balabye ebiva mu kugoberera okubuulirira kwa Baibuli ku nsonga eno.

Ddak. 20: “Okutuukiriza Okwewaayo Kwaffe.”a Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, mu bufunze buuza ebibuuzo omuvubuka oba omutiini omubatize. Bigezo ki by’afunye okuva lwe yabatizibwa? Kiki ekyamuyamba okwaŋŋanga ebigezo ebyo? Aganyuddwa atya olw’okuwaayo obulamu bwe eri Yakuwa?

Oluyimba 6 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 20

Oluyimba 53

Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’eby’embalirira.

Ddak. 15: Weekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Bonna bakubirize okukozesa obulungi akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku​—2003. Akatabo bwe kabaawo, mukubaganye ebirowoozo ku nnyanjula eri ku lupapula 3-4. Bwe kaba nga tekannaba kufunika, mukubaganye ebirowoozo ku nnyanjula y’akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku​—2002. Bawe amagezi ku ngeri ab’omu maka gye basobola okukubaganyaamu ebirowoozo nga bakozesa akatabo kano. Okusobola okulaga emiganyulo egiri mu kwekenneenya ekyawandiikibwa buli lunaku, yogera ku byokulabirako bibiri oba bisatu eby’ekyawandiikibwa n’ebigambo ebibyogerako ebijja okwekenneenyezebwa omwezi ogujja. Laga ekyokulabirako nga omwami n’omukyala beekenneenya ekyawandiikibwa n’ebigambo ebikyogerako.

Ddak. 22: “Yigiriza Abalala Olulimi Olulongoofu.”b Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku katundu 6, saba omubuulizi alina obusobozi alage ekyokulabirako ku ngeri y’okutandika okukubaganya n’omuntu ebirowoozo ku Baibuli ng’ali ku mulyango gwe ng’azzeeyo okumukyalira ng’akozesa emu ku nnyanjula eziri ku lupapula olw’omunda oluli mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002, olupapula 4. Era bakubaganye ebirowoozo ku kamu ku butundu obuli mu brocuwa Atwetaagisa. Omubuulizi akomekkereze ng’abuuza ekibuuzo ekikwata ku katundu akanaddako era akole enteekateeka okukiddamu ng’amukyalidde omulundi omulala. Kubiriza bonna okwekenneenya obanga abo be baddiŋŋana bandyagadde okusoma Baibuli nga bagoberera enkola eno.

Oluyimba 29 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 27

Oluyimba 42

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro. Ng’okozesa amagezi agali ku lupapula 4, laga ebyokulabirako bibiri ebiraga engeri y’okugabamu Watchtower aka Jjanwali 1 ne Awake! aka Jjanwali 8. Mu buli kyakulabirako, omubuulizi akomekkereze ng’amuwa ka tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?​—eri oyo ayagala magazini n’oyo atagyagala. Mu bufunze nnyonnyola engeri gye tusobola okuddayo eri abo be twalekera magazini awamu ne tulakiti.​—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2002, empapula 4, 10.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 20: Yamba Abalala Okubeera n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Mu mwezi gwa Febwali tujja kugaba akatabo akappya. Mukubaganye ebirowoozo ku katundu akali ku lupapula 3, era yogera ku bintu ebimu ebiri mu katabo ako. Buli kitundu kyogera ku emu ku ngeri za Yakuwa ezisinga obukulu. Mulimu essuula eraga engeri Yesu gye yayolekamu engeri eyo, n’essuula eraga engeri naffe gye tusobola okugyolekamu. Mulimu empapula 17 eziriko ebifaananyi ebiraga ebintu ebyogerwako mu Baibuli. “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako” bituyamba okulowooza ku bintu ebirala ebikulu ebikwata ku ssuula eyo. Yogera ku kasanduuko “Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Akatabo Draw Close to Jehovah,” era saba omubuulizi alina obusobozi alage ekyokulabirako kimu.

Oluyimba 97 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Febwali 3

Oluyimba 11

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Yogera ku Kasanduuko k’Ebibuuzo. Kubiriza ababuulizi okukozesa foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) bwe basanga abantu aboogera olulimu olulala, nga bwe kyannyonnyolebwa mu bbaluwa eyaweerezebwa eri ebibiina byonna eya Okitobba 15, 1998. Foomu eno erina okukozesebwa okutuukiriza ekiruubirirwa kino wadde ng’omuntu talaze kwagala kwa maanyi eri obubaka bw’Obwakabaka.

Ddak. 12: Koppa Okukkiriza Kwabwe. Buuza ebibuuzo omukadde amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa. (Beb. 13:7) Yayiga atya amazima? Bizibu ki bye yalina okuvvuunuka okusobola okunywerera mu mazima? Nteekateeka ki ez’eby’omwoyo oba okuzibwamu amaanyi ebyamuyamba okukulaakulana? Kiki kye yakola okusobola okubeera omulabirizi mu kibiina? (1 Tim. 3:1) Kiki ekimuyambye okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu kibiina, obw’oku mulimu n’obw’amaka? (1 Tim. 5:8) Awulira atya ku nkizo ey’okuyamba abalala mu kibiina?

Ddak. 18: “Omulimu Ogwetaagisa Obuwombeefu.”c Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, saba abakuwuliriza bawe amagezi ku ngeri y’okwanukulamu omuntu gwe basanga mu kitundu kye tubuuliramu ageezaako okutuvuma, omukambwe oba omuyombi. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, yogera ku ebyo ebiri mu kitabo Insight, Omuzingo 1, olupapula 1160, akatundu 3 bwe kiba nga weekiri.

Oluyimba 55 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo n’abawuliriza.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo n’abawuliriza.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo n’abawuliriza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza