Tulina Eky’Okukozesa Ekippya Ekinaatuyamba Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli!
1 Omukyala omu Omumerika yali Mukatuliki omukuukuutivu. Yawolerezanga nnyo enjigiriza z’eddiini ye ng’asanze abo abaziwakanya. Era yalamagako n’e Vatikaani. Kyokka, Omujulirwa wa Yakuwa omu bwe yamukyalira mu maka ge, omukyala ono yakkiriza okuyigirizibwa Baibuli. Lwaki? Kubanga yali ayagala okumanya Baibuli ky’egamba naye ate ng’eddiini ye, teyigiriza bantu Baibuli mu maka gaabwe. Ekyaliwo ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti tetuyinza kumanya muntu ki ayinza okukkiriza okuyigirizibwa Baibuli.—Mub. 11:6.
2 Wali olemereddwako okugamba abantu nti twagala okuyiga Baibuli na buli yenna aba ayagala? Buli muntu mu kitundu kyo akimanyi nti tuyigiriza abantu Baibuli ku bwereere? Tuyinza tutya okubamanyisa? Nga tweyambisa eky’okukozesa ekippya! Ye tulakiti ennungi, ey’emiko omukaaga erina omutwe ogugamba nti, Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? Ka twekenneenye ebiri mu tulakiti eno nga twetegereza buli mutwe omutono.
3 Lwaki Wandisomye Baibuli? Tulakiti eno ewa ensonga ennungi lwaki twandisomye Baibuli. Ennyonnyola nti Baibuli erimu ‘obulagirizi obw’okwagala obuva eri Katonda,’ era etulaga engeri y’okumutuukiriramu nga tuyita mu kusaba awamu n’engeri gye tuyinza okufunamu ekirabo kye eky’obulamu obutaggwaawo. (1 Bas. 2:13) Eyogera ku “mazima agawa okutegeera,” gamba nga ekitutuukako bwe tufa, n’ensonga lwaki waliwo ebizibu bingi nnyo mu nsi. Ennyonnyola “emisingi gya Katonda egy’omu Baibuli” egireeta essanyu, essuubi, n’engeri endala nnyingi ennungi eri oyo agitambulirako. Era ewa n’ensonga endala lwaki twandisomye Baibuli, ng’ensonga eno bwe bunnabbi bwa Baibuli obutulaga ekyo ekijja mu maaso awo.—Kub. 21:3, 4.
4 “Ekinaatuyamba Okutegeera Baibuli”: Tulakiti egamba nti “Ffenna twetaaga obuyambi okusobola okutegeera Ekigambo kya Katonda.” Awo n’eryoka ennyonnyola enkola gye tweyambisa okuyigiriza Baibuli: “Bulijjo kiba kirungi okuyiga Baibuli mu mitendera; ng’otandikira ku njigiriza ezisooka.” Wadde nga tulakiti eyogera kaati nti “Baibuli ye yeesigamizibwako buli kintu,” egattako nti, brocuwa Atwetaagisa ejja kuyamba omuyizi ‘okutegeera Ebyawandiikibwa ebikwata ku nsonga ezitali zimu.’ Omutwe omutono oguddako gulimu ekibuuzo ekikulu.
5 “Oli mwetegefu Okuwaayo Ekiseera Buli Wiiki Okutegeera Baibuli?” Tulakiti ennyonnyola nti omuntu ayinza okuyigirizibwa Baibuli mu kiseera n’ekifo ebimwanguyira, gamba nga mu maka ge oba okuyitira ku ssimu. Baani abayinza okwenyigira mu kuyiga Baibuli? Tulakiti eddamu nti: “Ab’omu maka go bonna. Ne mikwano gyo nabo basobola okwenyigiramu. Oba bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okuyigirizibwa wekka.” Omuntu asobola okuyiga kumala bbanga ki? Tulakiti egamba: “Bangi bawaayo essaawa emu buli wiiki okuyiga Baibuli. Bw’oba ng’osobola okuwaayo ekiseera ekisukka mu ssaawa buli wiiki oba n’obutawera, mu buli ngeri, Abajulirwa bajja kubeera beetegefu okukuyamba.” Eyo ye nsonga enkulu! Tuli beeteefuteefu okutuukana n’embeera za buli muyizi.
6 “Oyanirizibwa Okuyiga”: Ku tulakiti eno kuliko akasanduuko omuntu aba agifunye wayinza okuwandiika n’asaba brocuwa Atwetaagisa oba okukyalirwa asobole okunnyonnyolwa enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Baibuli ku bwereere. Ekifaananyi kya brocuwa Atwetaagisa kiragiddwa. Tolaba ensonga lwaki tulakiti eno ejja kukubiriza abantu bangi abeesimbu okukkiriza obuyambi bwaffe? Kati tuyinza tutya okweyambisa tulakiti eno?
7 Baani b’Oyinza Okuwa Tulakiti Eno? Tulakiti eno eyinza okukwasibwa abantu butereevu oba okulekebwa awaka we tutasanze bantu. Eyinza okugabibwa nnyumba ku nnyumba, ku nguudo, oba mu bitundu omukolebwa eby’obusuubuzi. Giwe abantu ka babe nga bakkiriza ebitabo byaffe oba nedda. Giteeke mu magazini oba mu bitabo ebirala ebiba bigabibwa. Bw’oba olina gw’owandiikira ebbaluwa, giteekemu. Tegeeza abantu b’oyogera nabo ku ssimu nti osobola okugibaweereza. Buli kiseera beera nazo bw’oba ogenze okugula ebintu, ng’otambulira mu takisi, era ne bw’oba ng’obuulira mbagirawo. Giwe buli muntu ajja ewuwo. Giwe ab’eŋŋanda zo, baliraanwa, b’okola nabo, b’osoma nabo, n’abalala. Fuba okugigabira buli gw’osisinkana! Kati olwo kiki ekinaddirira?
8 Omuntu bw’Akkiririzaawo Okuyigirizibwa Baibuli: Abamu bajja kukkiririzaawo okuyigirizibwa Baibuli. N’olwekyo, buli lw’obeera mu buweereza bw’ennimiro, kakasa nti olina brocuwa Atwetaagisa bbiri, emu ya muyizi endala yiyo. Omuntu bw’aba ayagala, tandikirawo butereevu okumuyigiriza. Bikkula olupapula olw’okungulu era osome omutwe “Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Eno.” Oluvannyuma genda butereevu ku ssomo 1, era omulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Baibuli. Ekyo si kyangu nnyo?
9 Akuwuliriza Bw’Aba Yeetaaga Obudde Okukirowoozaako: Fuba okuddamu okumulaba nga tewannayitawo bbanga ddene. Bw’oddayo, kakasa nti olina brocuwa Atwetaagisa. Mulage olukalala lw’ebirimu. Musabe alonde essomo ly’asinga okwagala. Bikkula ku ssomo ly’alonze era otandike okumuyigiriza.
10 Okuddayo Gye Twagaba Magazini: Bw’oba nga walekera omuntu tulakiti wamu ne magazini, oyinza okwogera bw’oti ng’ozzeeyo: “Lwe nnali wano omulundi ogwayita, nnakulekera magazini Omunaala gw’Omukuumi. Oboolyawo weetegereza nti omutwe gwa magazini eyo guggwayo nti Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa. Leero nnandyagadde okukunnyonnyola Obwakabaka obwo kye buli era ne kye bunaakukolera, awamu n’ab’omu maka go.” Awo n’olyoka obikkula ku ssomo 6 mu brocuwa Atwetaagisa. Musome era mukubaganye ebirowoozo nga mutandikira ku katundu akasooka okusinziira ku budde omuntu oyo bw’aba alina. Oluvannyuma kola enteekateeka okukomawo olunaku olulala okusobola okumalayo essomo eryo.
11 Butulakiti Buleme Kukuggwaako: Omulabirizi w’obuweereza n’ab’oluganda abakola ku bitabo beetaaga okukakasa nti waliwo tulakiti Okumanya Baibuli ezimala buli kiseera mu kibiina. Beera ne tulakiti zino mu nsawo yo, mu mmotoka yo, ku mulimu gwo, ku ssomero, okumpi n’omulyango gw’enju yo—wonna wonna awakwanguyira. Kya lwatu nti, olina okubeera nazo mu nsawo gy’ogenda nayo mu kubuulira, osobole okuwa buli gw’onoonyumya naye ebikwata ku Baibuli.
12 Yakuwa k’Awe Omukisa Okufuba Kwaffe: Ekiruubirirwa kya buli Mukristaayo, kwe kuyigiriza abalala amazima. (Mat. 28:19, 20) Olina omuntu gw’oyigiriza Baibuli? Bw’oba omulina, oyinza okwongerako omulala mu nteekateeka yo eya buli wiiki? Bw’oba nga tolina gw’oyigiriza, awatali kubuusabuusa wandyagadde okumufuna. Saba Yakuwa akuyambe okufuna gw’oyigiriza Baibuli. Era kolera ku kusaba kwo.—1 Yok. 5:14, 15.
13 Tulina eky’okukozesa ekippya ekinaatuyamba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli! Manya ebikirimu. Kisaasaanye eri abantu. Kola kyonna ky’osobola ‘okukolanga obulungi, okubeeranga omugagga mu bikolwa ebirungi, okubeeranga omugabi’ w’ebyo by’oyize mu Kigambo kya Katonda.—1 Tim. 6:18.
[Akasanduuko ekiri ku lupapula 4]
DDI LW’OYINZA OKUGABA TULAKITI ENO
◼ Bw’oba ng’onyumya n’abalala
◼ Omuntu bw’akkiriza okutwala ebitabo byaffe
◼ Bwe tutasanga muntu waka
◼ Bwe tuba tuzzeeyo ew’oyo aba alaze nti ayagala okuyiga naffe
◼ Bwe tusanga omuntu mu kubuulira okw’oku nguudo
◼ Bwe tuba tubuulira mu bitundu ebikolebwamu obusuubuzi
◼ Bwe tuba tubuulira embagirawo
◼ Bwe tuba tuwandiika amabaluwa
◼ Bwe tubeera mu takisi
◼ Omuntu bw’ajja awaka waffe
◼ Bwe tuba twogera n’ab’eŋŋanda zaffe, baliraanwa, be tukola nabo, be tusoma nabo, n’abantu abalala