LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/02 lup. 5
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 6/02 lup. 5

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjuuni: Katonda Atwetaagisa Ki?, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!, oba Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Abantu bwe baba ng’ebyo babirina, oyinza okubawa akatabo United in Worship of the Only True God. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda ku Nsi, Kiki Ekibaawo Bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo Gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War?, ziyinza okugabibwa we kisaana. Obutabo God’s Way Is Love, Is There A God Who Cares ne Emyoyo Egitalabika​—Gisobola Okutuyamba? Oba Gitulumya? nabwo buyinza okugabibwa. Ssebutemba: Life​—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation? oba Revelation​—Its Grand Climax At Hand!

◼ Enkyukakyuka zikoleddwa ku nnaku ezaali ez’okubeerako enkuŋŋaana za district mu Tanzania mu bifo bino ebiddirira: Sumbawanga ne Songea lujja kubaawo mu Agusito nga 2-4, 2002, so si mu Agusito nga 3, 4, 2002. Bukoba lujja kubaayo mu Agusito nga 23-25, 2002, so si mu Agusito nga 24, 25.

◼ Omukolo ogw’abo abaamaliriza emisomo gyabwe mu Ssomero Eritendeka Abaweereza ery’omulundi ogw’ekkumi n’ogumu gwaliwo mu Kenya, nga Noovemba 4, 2001. Essomero lino likyeyongera okutendeka ab’oluganda abaagala okukola ekisingawo mu mulimu gw’amakungula. (Mat. 9:36, 37) Abakadde n’abaweereza abali obwannamunigina, nga bali wakati w’emyaka 23-50, nga bamanyi Olungereza oba Olufalansa era nga baagala okugenda mu ssomero eryo, bayinza okubeerawo mu lukuŋŋaana lw’abo abaagala okugenda mu ssomero eryo olunaabaawo mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olunaddako.

◼ Foomu eziweerezebwa mu bibiina buli mwaka zijja kuweerezebwa nga zifunise. Obulagirizi obukwata ku ngeri y’okugabamu foomu ezo, bujja kubeera ku lukalala lw’ebitabo ebiweerezebwa mu kibiina. Bwe kiba nti mu Kizimbe ky’Obwakabaka mulimu ebibiina ebisukka mu kimu, omutabaganya ku nsonga ezikwata ku bitabo ajja kukakasa nti buli kibiina kifuna foomu zaakyo amangu ddala nga zaakafunibwa.

◼ Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala yenna gw’aba alonze, asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Jjuuni 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Nga kino kimaze okukolebwa, kisaanidde kirangibwe eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.

◼ Mu kifo ky’omulundi gumu buli mwezi, Awake! eziri mu lulimi Oluwudu zijja kutandika okufulumizibwa emirundi ena buli mwaka, okutandika n’eya Apuli-Jjuuni, 2002.

◼ Ebitabo Ebippya Ebiriwo:

Yakuwa​—Y’Ani? (Tulakiti Na. 23)​—Lutamili, Luwudu

Olina Omwoyo Ogutafa? (Tulakiti Na. 25)​—Lukamba, Lukikuyu

◼ Kassetti za Vidiyo Empya Eziriwo:

The Greatest Man Who Ever Lived​—On Videocassette, Omuzingo 8​—Olulimi lwa Bakiggala olw’Abamereka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza