Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Jjuuni 10
Oluyimba 28
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Mu bibiina vidiyo gye ziri, kubiriza buli omu okulaba vidiyo Our Whole Association of Brothers okusobola okweteekerateekera okukubaganya ebirowoozo okunaabaawo mu wiiki etandika nga Jjuuni 24. Mu bibiina vidiyo gye zitali, muyinza okukubaganya ebirowoozo ku ssuula 17 mu katabo United in Worship of the Only True God, erina omutwe “Mwagalanenga Nnyo Mmwekka na Mmwekka” akatundu 1-5 ne 14-17. Ng’okozesa amagezi agaweereddwa ku lupapula 6, laga ebyokulabirako bibiri eby’enjawulo, ekimu nga bagaba Watchtower aka Maayi 15, ekirala nga bagaba Awake! aka Maayi 22. Mu buli kyakulabirako, laga engeri ey’enjawulo ey’okwanukulamu omuntu agezaako okuziyiza okwogera naye ng’agamba nti “Nze eby’eddiini tebinnyumira.”—Laba ebiri ku mpapula 16-17 mu katabo Reasoning.
Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Soma ekitundu kyonna n’ebyawandiikibwa ebiweereddwa. Bw’omala yongerako ensonga endala eziri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 1998.
Ddak. 20: “Okusiga Ennyingi Kireeta Emikisa Mingi.”a Yogera ku bintu ebimu ebiri mu Watchtower aka Ddesemba 1, 1992, empapula 15-16, obutundu 14-17.
Oluyimba 98 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 17
Oluyimba 57
Ddak. 7: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.
Ddak. 20: “Tulina Eky’Okukozesa Ekippya Ekinaatuyamba Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli!” Kukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Tulakiti bwe zibeerawo, saba abaweereza bagabire buli omu ali mu lukuŋŋaana tulakiti emu empya Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? Laga ebyokulabirako ebitegekeddwa obulungi nga weeyambisa amagezi agaweereddwa mu kasanduuko “Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini.” Omubuulizi omu alage engeri y’okugaba Watchtower aka Maayi 15 n’omulala Awake! aka Maayi 22. Mu buli kyakulabirako, omubuulizi afundikire ng’awaayo tulakiti Okumanya Baibuli eri oyo gw’asanze awaka—eri oyo atakkirizza magazini, n’eri oyo azikkirizza. Kubiriza buli omu okugaba tulakiti eno eri buli muntu gw’asisinkana ng’abuulira.
Ddak. 18: “Beera Mumativu n’Ebyo by’Olina.”b Kkaatiriza Ebyawandiikibwa ebyesigamiziddwako okubuulirira kuno, ng’osoma era ng’onnyonnyola bingi ku byawandiikibwa ebiweereddwa ng’obudde bwe bunaakusobozesa.
Oluyimba 31 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 24
Oluyimba 49
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Abafumbo ababuulira bombi, balaga engeri y’okukozesaamu amagezi agali ku lupapula 6 ag’okugabamu magazini eza Jjuuni 1 ne 8. Omukyala agaba Watchtower, ate omwami agaba Awake!
Ddak. 12: Yogera oba laga ebyokulabirako ebikwata ku bintu ebyaliwo ddala ng’ababuulizi b’omu kibiina (1) babuulira abantu be bakola nabo oba be basoma nabo (2) babuulira mu ngeri endala etali ya nnyumba ku nnyumba oba ku nguudo. Okusobola okweteekerateekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki eddako, kubiriza buli omu okulondayo ekyo ky’ayinza okwogera ng’agaba brocuwa ezinaagabibwa mu Jjulaayi ne Agusito.—Laba akasanduuko “Ebitabo Ebirala” akali ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002.
Ddak. 25: Mu bibiina vidiyo gye zitali, mukubaganye ebirowoozo ku biri mu katabo United in Worship essuula 17, wansi w’omutwe “Mwagalanenga Nnyo Mmwekka na Mmwekka,” obutundu 1-5 ne 14-17. Mu nsi eno egenda nga yeeyongera okweyawulayawula, kikkaatirize nti Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa olw’okwagalana ennyo era nga tebaganya kintu kyonna kubaawulayawula gamba ng’enjawulo mu bika, amawanga, langi, oba olulimi. Vidiyo gye ziri, yogera ku kitundu, “Ensonga Lwaki Twagala Oluganda Lwaffe olw’Ensi Yonna.” Tandikirawo okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza ku vidiyo Whole Association, ng’okozesa ebibuuzo ebiweereddwa.
Oluyimba 23 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjulaayi 1
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota z’obuweereza bw’ennimiro eza Jjuuni. Buuza ababuulizi brocuwa ki gye bateeseteese okugaba mu Jjulaayi era n’engeri gye banaagigabamu.
Ddak. 15: Osobola Okuba Mukwano gwa Katonda! Kwogera na kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Yogera ku bintu ebiri mu brocuwa eno ebigifuula okuba ennungi ennyo mu kuyigiriza abaana wamu n’abantu abalala abatalina buyigirize oba abatamanyi kusoma basobole okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Yogera ku ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi, brocuwa gy’ennyonnyolamu ebintu. (Laba amasomo 2, 8, ne 12.) Laga engeri ebifaananyi gye biyinza okukozesebwamu obulungi okusobola okutuuka ku mutima gw’omuyizi. Waayo engeri ennungi, brocuwa eno gy’eyinza okweyambisibwamu. Abazadde basaanidde okugisoma n’abaana baabwe abato. Kubiriza buli omu okugigaba buli lwe kiba kisaanira.
Ddak. 15: “‘Oyagala’ Okuyamba Abalala?”c Kubiriza buli omu okubeera n’omwoyo ogw’okuyamba.
Oluyimba 67 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.