Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Apuli 8
Ddak. 13: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Vidiyo gye ziri, kubiriza bonna okulaba vidiyo Young People Ask—How Can I Make Real Friends? (Abavubuka Babuuza—Nsobola Ntya Okukola Emikwano Egya Nnamaddala?) nga beeteekerateekera okukubaganya ebirowoozo okunaabaawo mu lukuŋŋaana lw’obuweereza olwa wiiki etandika nga Apuli 22. Vidiyo gye zitali, muteeketeeke essuula 8 okuva mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work omutwe ogugamba nti: “How Can I Make Real Friends?” (Nsobola Ntya Okukola Emikwano Egya Nnamaddala?). Ng’okozesa amagezi agaweereddwa ku lupapula 8, laga ebyokulabirako bibiri eby’enjawulo ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Maaki 15 ne Awake! aka Maaki 22. Mu buli kyakulabirako, laga engeri ey’enjawulo ey’okwanukulamu omuntu agezaako okukuziyiza okwogera naye ng’agamba nti: “Nze nnina eddiini yange.”—Laba mu katabo Reasoning empapula 18-19.
Ddak. 12: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Tubakolenga Obulungi Bonna.”a Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ng’okozesa ebibuuzo, buuza omubuulizi omu oba babiri engeri gye baagaziyaamu obuweereza bwabwe.
Oluyimba 68 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 15
Oluyimba 34
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.
Ddak. 15: Bapayoniya Mweyongere Okuyamba Abalala. Omulabirizi w’obuweereza akubaganya ebirowoozo n’akubiriza Okusoma Ekitabo, payoniya, wamu n’omubuulizi. Omulabirizi w’obuweereza ayogera ku nteekateeka ya bapayoniya okuyamba abalala nga bw’eragibwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 1998 olupapula 4. Oluvannyuma akubaganya ebirowoozo na buli omu ku bantu abo ku buvunaanyizibwa bwe balina mu nteekateeka eyo. Kiki ekikoleddwa okulaba nti ekigendererwa ky’enteekateeka eno kituukirizibwa? Omulabirizi w’obuweereza asaba ababuulizi bonna bamutegeeze obanga baagala okufuna obuyambi mu buweereza. N’abo abaayambibwako mu biseera eby’emabega bayinza okwongera okuyambibwa mu ngeri endala ey’obuweereza.
Ddak. 20: “Essanyu Eriri mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna.”b Kubiriza abavubuka okusaba baweereze nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’oluwummula.
Oluyimba 53 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 22
Oluyimba 75
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa amagezi agaweereddwa ku lupapula 8, saba omuweereza mu kibiina alage engeri y’okugabamu Watchtower aka Apuli 1 era ne mwannyinaffe omu alage engeri y’okugaba Awake! aka Apuli 8. Oluvannyuma lwa buli kyakulabirako, ddamu oyogere ebigambo ebyakozeseddwa mu ntandikwa okusobola okusikiriza nnyinimu.
Ddak. 10: Kuuma Obudde! Kwogera. Ebintu byonna ebikwatagana n’okusinza kwaffe n’obuweereza bwaffe bikulu nnyo, era birina okukolebwa mu ‘kiseera kyabyo.’ (Mub. 3:1) Twagala okufuna emiganyulo egisingayo okuva mu nteekateeka ez’okuweereza Katonda. Enkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ez’okugenda mu nnimiro zirina okutandika mu budde bwennyini obwaziteekerwateekerwa. Yakuwa takeerewa mu kukola emirimu gye. (Kaab. 2:3) Waliwo we twetaaga okulongoosamu mu kino? Ebiseera ebimu, olw’ensonga eziteebereka abamu bayinza okukeerewa. Naye bwe tuba n’enteekateeka ennungi, tetujja kugufuula muze okutuukanga ekikeerezi, ne tusanga ng’oluyimba n’okusaba ebiggulawo enkuŋŋaana oba enteekateeka z’okugenda mu nnimiro nga biwedde. Nnyonnyola engeri eziyinza okutuyamba okukuuma obudde mu buli nteekateeka y’eby’omwoyo.—Laba Watchtower aka Jjuuni 15, 1990, olupapula 29.
Ddak. 25: Vidiyo gye zitali, mukubaganye ebirowoozo ku mutwe “How Can I Make Real Friends?” (Nsobola Ntya Okukola Emikwano Egya Nnamaddala?) okuva mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work essuula 8. Vidiyo gye ziri, yogera ku kitundu “Okusiima okw’Amaanyi!”c Mu katundu 1, saba ab’oluganda boogere mu bufunze ku vidiyo Young People Ask—How Can I Make Real Friends? Oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza ku buli kibuuzo ekiri mu butundu 2-7. Mu Jjuuni tujja kwejjukanya ebiri mu vidiyo Our Whole Association of Brothers.
Oluyimba 85 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 29
Oluyimba 70
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota z’obuweereza bw’ennimiro ez’omwezi gwa Apuli.
Ddak. 15: “Okubuulira Amawulire g’Obwakabaka Kuwonya Obulamu!”d Saba abakuwuliriza babeeko kye boogera ku ngeri ebyawandiikibwa gye bikwataganamu n’ensonga eyogerwako.
Ddak. 20: Noonyereza ng’Okozesa Akatabo Reasoning. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Ebibuuzo bitera okutubuuzibwa mu nnimiro naye nga tebiri mu “Mitwe Emikulu” egiri mu katabo Reasoning (empapula 5-6). “Index” eyinza okutuyamba okuzuula ebyawandiikibwa okwesigamiziddwa ebyo bye tukkiririzaamu, (empapula 439-45). Saba abakuwuliriza okwenyigira mu kunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo ebiddirira nga bakebera mu index awali ekigambo ekiri mu lukono mu bigambo ebiddirira wammanga: Endowooza y’Ekikristaayo eri ennyimba z’amawanga ne bbendera y’eruwa? Lwaki katonda akkiriza obutyabaga? Oyinza otya okunnyonnyola Baibuli ky’eyogera ku kugattululwa mu bufumbo? Ddi bannyinaffe lwe kibeetaagisa okwambala akatambaala ku mutwe, era lwaki? Tumanya tutya nti omuwendo gw’abantu 144,000 gwa ddala? Olugero lwa Lazaalo n’omusajja omugagga lutegeeza ki? Kubiriza buli omu okukozesa akatabo Reasoning mu buweereza.
Oluyimba 43 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 6
Oluyimba 64
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. “Weeyongere Okuganyulwa mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!” Kukubaganya birowoozo.
Ddak. 10: Okweteekerateekera Oluwummula. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Yogera ku ebyo ebitera okukolebwa mu biseera eby’oluwummula: okubeerawo ennaku zonna ez’olukuŋŋaana lwa district, okukola nga payoniya omuwagizi okumala omwezi gumu oba egisingawo, okulongoosa awaka, oboolyawo n’okwesanyusaamu. Sabayo abamu boogere ku kye bateeseteese okukola mu luwummula n’engeri gye batajja kulagajjalira nkuŋŋaana za kibiina, okusoma kw’amaka, n’obuweereza bw’ennimiro, ka babe nga bajja kubaako gye bagenda. Ekibiina bwe kiba n’ekitundu ekitatera kubuulirwamu, langa enteekateeka ezikoleddwa okubuulira mu bujjuvu mu kitundu ekyo mu kiseera ky’okukola kaweefube ow’okubuulira mu bifo ebiri ewala. Jjukiza bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eri Akubiriza Okusoma Ekitabo kw’Ekibiina, ka babe nga banaabaawo awaka waabwe oba nga batambuddemu.
Ddak. 25: “Amaka Gayinza Gatya Okubeera Amanywevu mu by’Omwoyo?”e Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku kitundu kino, yogera ku byokulabirako ebiri mu Watchtower aka Febwali 15, 1999, empapula 10-12.
Oluyimba 77 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.