Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Febwali 11
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Vidiyo gye ziri, kubiriza buli omu okusoma Olubereberye 6:1 okutuuka ku 9:19 n’oluvannyuma balabe vidiyo eyitibwa Noah—He Walked With God okusobola okwetegekera okukubaganya ebirowoozo okunaabaawo mu lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki etandika nga Febwali 25.
Ddak. 20: “Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu.”a (Obutundu 1-13) Kya kukubirizibwa omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde. Okukubaganya ebirowoozo okw’ebbugumu okukwata ku ebyo bye twagala okutuukiriza mu mwezi gwa Maaki n’okweyongerayo. Buli omu asaanidde okweyambisa kalenda eri ku lupapula olw’omunda okusobola okukola enteekateeka eneemusobozesa okwenyigira n’amaanyi mu kubuulira mu Maaki. Kubiriza bonna abasobola bakole nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 7 ne 8, saba abaakola nga bapayoniya mu kiseera ky’Ekijjukizo omwaka ogwayita boogere ku mikisa gye baafuna. Langa nti foomu okusabirwa okukola nga payoniya omuwagizi zisobola okufunibwa oluvannyuma lw’olukuŋŋaana luno.
Ddak. 13: “Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini.” Saba ababuulizi boogere ku ngeri ekitundu kino eky’omu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka gye kibayambyemu nga beeteekerateekera okwogera ku biseera ebizibu bye tulimu leero. Bibala ki abamu bye bafunye nga bagezaako okubudaabuda abantu n’okubayamba okuzuula eby’okuddamu okuva mu Baibuli ebikwata ku bibuuzo ebibobbya abantu emitwe? Laga mu bufunze ebyokulabirako bibiri, ekimu nga kikwata ku kugaba Watchtower aka Febwali 1 n’ekirala ku kugaba Awake! aka Febwali 8.
Oluyimba 34 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Febwali 18
Oluyimba 71
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Embalirira.
Ddak. 12: “Abantu Abasingayo Okuba Abasanyufu mu Nsi.”b Mu bufunze yogera ku: “Mitendera Egiyitibwamu Okufuna Essanyu,” okuva mu Watchtower aka Okitobba 15, 1997, olupapula 6.
Ddak. 25: “Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu.”c (Obutundu 14-23) Kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Yogera ku nteekateeka ez’enjawulo ezikoleddwa okwongera amaanyi mu buweereza mu mwezi gwa Maaki. Tujja kufuba okuyamba abo ababadde tebakyabuulira baddemu amaanyi okubuulira era tuyambe n’abaana baffe awamu n’abayizi ba Baibuli okusobola okufuuka ababuulizi abatali babatize. Langa amannya gaabo abeewandiisizza okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki era okubirize n’abalala bakiteeke mu kusaba kwabwe basobole okubeegattako.
Oluyimba 60 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Febwali 25
Oluyimba 77
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Laga mu bufunze ebyokulabirako bibiri ebikwata ku kugaba magazini; ekimu nga kikwata ku Watchtower aka Febwali 15, ate ekirala Awake! aka Febwali 22. Saba omuvubuka omu alage ekimu ku byo. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Febwali.
Ddak. 15: Kirage nti oyagala Katonda. Kyesigamiziddwa ku brocuwa Mukwano gwa Katonda empapula 26-27 oba vidiyo gye ziri, yogera ku kitundu “Ebirungi Ebiva mu Vidiyo Eziwa Obujulirwa.” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Kati twakeekenneenya vidiyo munaana mu Nkuŋŋaana zaffe ez’Obuweereza. Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ku byokulabirako ebiri mu kitundu kino, saba ababuulizi boogere ku bibala bye bafunye mu kulaga abalala vidiyo zino.
Ddak. 15: “Olina Omutima Omuwulize” nga Nuuwa? Laba The Watchtower aka Jjulaayi 1998, empapula 29-31, oba vidiyo gye ziri, yogera ku kitundu “Buli Muntu Asobola Okubaako ky’Ayiga Okuva mu Vidiyo Noah—He Walked With God.” Tandikirawo okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza ku vidiyo ekwata ku Nuuwa ng’okozesa ebibuuzo ebyo byokka ebiri mu kasanduuko akali ku lupapula luno. Mu Apuli tujja kwekenneenya vidiyo Young People Ask—How Can I Make Real Friends?
Oluyimba 96 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maaki 4
Oluyimba 91
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 12: “Yamba Abalala Okufuuka Mikwano gya Katonda.”d Lagayo ekyokulabirako ekiraga engeri y’okutandikamu okuyigiriza omuntu Baibuli nga weeyambisa brocuwa eno.
Ddak. 12: Tandika Okuyigiriza Abantu Baibuli ng’Okozesa Akatabo Okumanya. Mu Maaki twagala okukola kaweefube ow’okufuna abantu abalala be tuyigiriza Baibuli. Mu bufunze yogera ku ebyo ebyaliwo ebyogerwako mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 1998 olupapula 4, akatundu 8. Bwe wabaawo atandise okuyigiriza omuntu Baibuli gye buvuddeko awo ng’akozesa akatabo Okumanya, alage engeri gye yakikolamu. Bonna bajjukize ekitundu “Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Akatabo Okumanya” ekiri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002. Ng’okozesa akatabo ako, lagayo engeri emu ey’okukagabamu ku ezo eziri ku lupapula 6 wansi w’omutwe “Ennyanjula Etuuka Obutereevu ku Nsonga.”
Ddak. 16: “Lwaki Twandyeyongedde Okubuulira?”e Bw’oba ofundikira, buuza ebibuuzo ababuulizi babiri ababuulidde okumala emyaka mingi. Basabe boogere ku nsonga lwaki banyiikiridde omulimu guno n’engeri gye baguganyuddwamu.
Oluyimba 48 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu nga mukozesa ebibuuzo.