LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/01 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjanwali 8
  • Wiiki Etandika Jjanwali 15
  • Wiiki Etandika Jjanwali 22
  • Wiiki Etandika Jjanwali 29
  • Wiiki Etandika Febwali 5
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 1/01 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjanwali 8

Oluyimba 29

Ddak. 7: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

Ddak. 13: “Muleke Ekitangaala Kyammwe Kyakenga.”a Gattako ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjuuni 1, 1997, olupapula 28-29, obutundu 12-13. Kubiriza bonna okukozesa akakisa konna ke bafuna okubuulira.

Ddak. 25: Enteekateeka ey’Okwagala ey’Okulabirira Obulamu Bwaffe. Okwogera kw’omukadde alina ebisaanyizo, okwesigamiziddwa ku bbaluwa eya Ddesemba 1, 2000 n’endagiriro y’emboozi okuva ku Sosayate. Ggumiza nti obukuumi obusingirayo ddala obwesigamiziddwa ku mateeka eri obutateekebwamu musaayi bufunibwa ng’ojjuzizzaamu Ekiwandiiko ky’Enzijanjaba Ekiwa Obulagirizi era Ekiggyako Obuvunaanyizibwa. Ekiwandiiko kino kijja kuweebwa ababuulizi ababatize bonna oluvannyuma lw’olukuŋŋaana akawungeezi kano, naye TEKIRINA kujjuzibwamu kawungeezi kano. Ekibiina kirina okubeera n’ebiwandiiko ebimala eby’okugabibwa. Okuteekako omukono gwo, n’egy’abajulirwa, era n’okussa ennaku z’omwezi ku biwandiiko byonna kijja kukolebwa luvannyuma lw’olukuŋŋaana olw’Okusoma Ekitabo kw’Ekibiina olunaddako, n’obuyambi bw’oyo akubiriza okusoma ekitabo, bwe kiba kyetaagisa. Abo abateekako emikono ng’abajulirwa balina okulaba nnyini kiwandiiko ng’ateekako omukono gwe. Abakubiriza okusoma ekitabo balina okukakasa nti bonna abali mu kibinja kyabwe bafuna obuyambi bwe beetaaga okujjuza Ekiwandiiko eky’Enzijanjaba Ekiwa Obulagirizi era Ekiggyako Obuvunaanyizibwa. Abazadde bajja kuweebwa Kaadi Ezinnyonnyola ez’abaana oluvannyuma lw’olukuŋŋaana luno. Nga batuukaganya olulimi olukozeseddwa ku kiwandiiko kino n’embeera zaabwe era n’okukkiriza kwabwe, ababuulizi abatali babatize bayinza okwekolera ekiwandiiko kyabwe kye banaakozesa awamu n’abaana baabwe.

Oluyimba 1 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 15

Oluyimba 51

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina n’Akasanduuko k’Ebibuuzo.

Ddak. 20: Weekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku? Kwogera n’okubuuza ebibuuzo. Kozesa Watchtower aka Ddesemba 15, 1996, empapula 17-18, obutundu 12-14, ng’otangaaza ku magezi agali mu kukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa ekya buli lunaku ng’amaka. Buuzaayo ab’omu maka agamu, abajjukira okukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa eky’olunaku gye buvuddeko awo okwali okw’omuganyulo era bawe n’ensonga lwaki. Ggumiza nti kino kirina okuba ekitundu kya programu y’amaka ey’okusoma obutayosa ey’okunyweza amaka gaffe era n’okukubiriza amaka okubeera amanyiikivu mu buweereza.

Oluyimba 67 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 22

Oluyimba 90

Ddak. 7: Ebirango by’ekibiina.

Ddak. 18: Engeri y’Okutegekamu Ennyanjula. Kwogera n’okulaga eby’okulabirako. Mwekenneenye ensonga enkulu eziri mu katabo Reasoning olupapula 9. Laga engeri gye tuyinza okulondamu ennyanjula ezituukagana obulungi n’engeri zaffe, era n’ekitundu. Mwekenneenyeyo ennyanjula ezimu eziyinza okukozesebwa ne brocuwa Atwetaagisa, era lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri. (Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Apuli 1997, olupapula 8.) Bonna bakubirize okukozesa obulungi amagezi agaweebwa mu katabo Reasoning ne mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka nga bali mu mulimu gw’obuweereza obw’ennimiro.

Ddak. 20: “Beera Omuwuliriza Omulungi.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza. Mwekenneenye ensonga eziri mu School Guidebook, empapula 27-8, obutundu 15-17. Tuyinza okugezesa empisa zaffe ez’okuwuliriza n’obungi bw’ebintu bye tuyinza okujjukira. Saba abakuwuliriza okujjukirayo ensonga ezimu ezisingayo obukulu ezoogeddwako bonna abeenyigidde mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase akawungeezi kano.

Oluyimba 96 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 29

Oluyimba 139

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ababuulizi bonna bajjukize okuwaayo lipoota z’obuweereza bw’omu nnimiro eza Jjanwali. Bategeeze ekitabo eky’okugaba mu Febwali, yogera ku bitabo ekibiina bye kirina.

Ddak. 15: Essanyu mu Maka. Kwogera okwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Apuli 1, 1998, empapula 6-8, okuleetera omuntu okwesunga okusoma kw’ekibiina okw’ekitabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Kubiriza bonna okwenyigira mu kukubaganya ebirowoozo okwa buli wiiki mu kusoma ekitabo era yogera ku nteekateeka ey’okugobererwa.

Ddak. 20: “Abazadde​—Muyigirize Abaana Bammwe Empisa Ennungi.” Kwogera n’okubuuza abazadde ebibuuzo abalina abaana abakola obulungi mu by’omwoyo. Abazadde boogera ku bintu ebirungi bye bakoze okusobozesa abaana baabwe okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Ekiseera bwe kiba kikusobozesa, yogera ku magezi agali mu kitabo Essanyu mu Maka, empapula 55-9.

Oluyimba 149 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Febwali 5

Oluyimba 168

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 15:“Beera Omukozi Omusanyufu.”b Balage ekyongera ku ssanyu lyaffe mu buweereza bwa Katonda, nga bwe kiri mu kitabo Insight, Omuzingo 2, olupapula 120, obutundu 6-8.

Ddak. 20: Oyinza Okuzuula Okwesanyusaamu Okuzimba. Amaka gakubaganya ebirowoozo ku magezi agaaweebwa mu Awake! aka Maayi 22, 1997. Taata mweraliikirivu ku biruubirirwa by’ab’omu maka ge. Oluvannyuma lw’okukubanganya ebirowoozo ku mutwe ogugamba “What Has Happened to Entertainment?” (empapula 4-7) mu bufunze, essira balissa ku ngeri z’okwesanyusaamu eziyinza okubazimba era n’okubaganyula. Yogera ku biri mu katabo Our Ministry, empapula  131-2, wansi w’omutwe “Recreation,” n’empapula 135-6, wansi w’omutwe “Do All Things for God’s Glory.” Ggumiza ekifo ky’abazadde mu kutwala obukulembeze era n’obwetaavu bw’ab’omu maka okukolaganira awamu olw’okuganyula amaka gonna.

Oluyimba 190 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obwa wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza