LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/00 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Ddesemba 11
  • Wiiki Etandika Ddesemba 18
  • Wiiki Etandika Ddesemba 25
  • Wiiki Etandika Jjanwali 1
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 12/00 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

WEETEGEREZE: Ebibiina si bya kukyusa Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki eya Jjanwali 1 okulussa ku lunaku olw’emabega okuggyako ng’omulabirizi wa circuit agenda kubakyalira. Mu buli kibiina akapapula ak’omunda akakwata ku lukuŋŋaana olunene kalina okwekenneenyezebwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza nga bwe kitegekeddwa. Bwe kiba nti wajja kubaawo olukuŋŋaana lwa circuit wiiki eyo, abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina balina okulanga ekifo olukuŋŋaana olunene gye lunaabeera n’olunaku lw’omwezi gye basomera ekitabo.

Wiiki Etandika Ddesemba 11

Oluyimba 50

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ekibiina bwe kiba nga kirina kopi z’ekitabo Greatest Man oba Great Teacher, laga engeri gye biyinza okukozesebwa obulungi mu buweereza mu biseera by’ennaku enkulu. Kubiriza buli omu okulaba vidiyo The Bible​—Accurate History, Reliable Prophecy nga beetegekera okukubaganya ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki ya Ddesemba 25. Abo abalina vidiyo bayinza okugyazika abalala abatagirina, oba okugirabira awamu nabo. Vidiyo gyezitali, ebyetaago by’ekibiina bijja kwogerwako.

Ddak. 15: “Tya Yakuwa Olunaku Lwonna.”a Gattako okunnyonnyola okukwata ku kutya Katonda okwaweebwa ku lupapula 26 mu Awake! aka Jjanwali 8, 1998. Ggumiza emiganyulo egiri mu kutya Yakuwa.

Ddak. 20: “Okupikirizibwa n’Enkizo Yo ey’Okubuulira.” Kwogera n’okubuuza ebibuuzo. Saba abantu abaapikirizibwako bannaabwe boogere ku ngeri gye baasobola okweyongera okubuulira wadde nga waaliwo okupikirizibwa okwo.

Oluyimba 78 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Ddesemba 18

Oluyimba 94

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Yogera ku nteekateeka ez’enjawulo ez’obuweereza bw’ennimiro eza Ddesemba 25 ne Jjanwali  1. Ddamu ekibuuzo: Waliwo ekikyamu kyonna mu kwenyigira mu kujaguza okutali kwa Kikristaayo kasita kuba nga tekwesigamiziddwa ku ddiini?​—Laba akatabo Reasoning olupapula 178-80.

Ddak. 12: “Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase mu 2001.” Kwogera kw’omukubiriza w’essomero. Bonna bakubirize okugoberera okusoma Baibuli okwa buli wiiki era n’okutuukiriza ebiba bibaweereddwa mu ssomero.

Ddak. 18: “Obuulira n’Obuvumu?”b Yogera ku byawandiikibwa ebiri mu kitundu. Ng’okozesa ekitabo Our Ministry, olupapula 86, laga engeri gye tuyinza okufunamu obuvumu obusingawo era ne tubeera ababuulizi abalungi mu buweereza bw’ennimiro.

Oluyimba 124 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Ddesemba 25

Oluyimba 126

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Saba abawuliriza boogere ku byokulabirako bye baakafuna mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Yogera ku bitabo eby’okugaba mu Jjanwali.

Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo.

Ddak. 25: “Okuyigira ku Vidiyo The Bible​—Accurate History, Reliable Prophecy.” Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Wa amagezi ku ngeri vidiyo eno gy’eyinza okukozesebwamu okukubiriza abalala okubaako kye bakola. (1999 Yearbook, empapula 51-2) Mu Febwali tujja kwekenneenya vidiyo ey’okubiri ku zino, The Bible​—Mankind’s Oldest Modern Book. Vidiyo bwetabaawo, mwogere ku byetaago by’ekibiina kyammwe.

Oluyimba 151 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 1

Oluyimba 171

Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Bwe kiba nti ekibiina kyammwe kijja kukyusa ebiseera by’enkuŋŋaana mu mwaka omuppya, kubiriza buli omu okweyongera okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa mu biseera ebyo ebippya. Mutegeeze abayizi ba Baibuli n’abalala abaagala amazima ku nkyukakyuka yonna eba ekoleddwa, era mutandike okukozesa obupapula obulaga ebiseera by’enkuŋŋaana obuliko enteekateeka empya. Yogera ku lipoota y’obuweereza bw’ennimiro eya Agusito ey’ensi yammwe n’ey’ekibiina kyammwe. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Ddesemba.

Ddak. 17: Engeri y’Okweteekerateekera Okuddiŋŋana. Taata akubaganya ebirowoozo n’ab’omu maka ge ku ngeri gye bayinza okweyongera okukolamu obulungi mu buweereza bwabwe. Aggumiza ensonga z’omu Byawandiikibwa ez’okukola okuddiŋŋana ku abo bonna abaagala okumanya ebisingawo. Nga bakozesa amagezi agaaweebwa mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 1999, olupapula 22, akatundu 18, bateekateeka okukola okuddiŋŋana. Bonna bakkiriza nti baasanga abantu abalina okukyalirwa nate. Buli omu ayogera ku kwanukula kwe yafuna omulundi ogwasooka, ate abalala ne bawa amagezi n’ekyawandiikibwa eky’okukozesa mu kuddiŋŋana. Bafuna ensonga mu brocuwa Atwetaagisa eziyinza okukozesebwa mu ngeri ematiza. Abazadde basaba omu ku baana bwabwe okwegezaamu ky’anaayogera ng’azzeeyo. Bateekateeka ekiseera ekikakafu kye banaakolerako okuddiŋŋana wiiki ejja.

Ddak. 20: “Olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa District mu 2001 Olwa ‘Abayigiriza Ekigambo kya Katonda.’” Omuwandiisi akulembera ekitundu kino ekiri ku lupapula olw’omunda ng’akozesa ebibuuzo n’okuddamu. Kozesa ebyawandiikibwa ebiragiddwa okulaga ensonga lwaki ffenna tusaanidde okugoberera ennyo obulagirizi bwa Sosayate. Ggumiza obukulu bw’okuteekateeka okusaba olukusa okuva ku mulimu amangu ddala nga bwe kisoboka okusobola okubeerawo ennaku zonna esatu ez’olukuŋŋaana olunene, nga n’Olw’Okutaano olutwaliddemu. Bonna beebaze olw’okugoberera enteekateeka ya Sosayate.

Oluyimba 212 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obwa wansi]

a Kozesa ennyanjula etasukka ddakiika, n’oluvannyuma mukozese ebibuuzo n’okuddamu.

b Kozesa ennyanjula etasukka ddakiika, n’oluvannyuma mukozese ebibuuzo n’okuddamu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza