LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 10/1 lup. 13-18
  • Emikisa gya Yakuwa Gitugaggawaza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Emikisa gya Yakuwa Gitugaggawaza
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Ekigambo kya Katonda​—Kirabo eky’Omuwendo
  • Tusiima Ekirabo ky’Omwoyo Omutukuvu
  • Okwagala kw’Ekikristaayo​—Kirabo Kye Tusiima
  • “Ebirabo mu Bantu”
  • Ekirabo ky’Obuweereza bw’Ennimiro
  • Obulamu bw’Amaka obw’Essanyu​—Kirabo Kirungi Nnyo
  • Lwaki Ekirabo Ekyo kya Muwendo Nnyo?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • “Anaabeera Mukwano Gwo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Essanyu Eriva mu Kutambulira mu Bugolokofu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Okunoonya Ekirabo Ekisinga Obulungi
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 10/1 lup. 13-18

Emikisa gya Yakuwa Gitugaggawaza

“Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”​—ENGERO 10:22.

1, 2. Lwaki essanyu terikwataganyizibwa na bya bugagga?

LEERO, okunoonya eby’obugagga kye kintu ekifuga obulamu bw’obukadde n’obukadde bw’abantu. Naye eby’obugagga bibaleetera essanyu? Olupapula lw’amawulire The Australian Women’s Weekly lugamba: “Tewabangawo kiseera abantu lwe bataali bamativu nga kati.” Era lwongerezaako: “Kino kyewuunyisa. Tugambibwa nti Australia eri mu mbeera nnungi nnyo mu by’enfuna, era nti obulamu tebubangako bulungi okusinga bwe buli kati. . . . Wadde kiri kityo, abantu tebasuubira bingi mu ggwanga. Abasajja n’abakazi balaba nti waliwo ekibulako mu bulamu bwabwe naye tebayinza kukinnyonnyola.” Ng’Ebyawandiikibwa biba bituufu bwe bigamba nti essanyu n’obulamu tebisibuka mu bintu bye tuba nabyo!​—Omubuulizi 5:10; Lukka 12:15.

2 Baibuli eyigiriza nti essanyu erisingiridde liva mu mikisa gya Katonda. Ku nsonga eno, Engero 10:22, wagamba: “Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.” Obulumi bujjawo olw’okuluubirira eby’obugagga. Nga kituukirawo, omutume Pawulo yalabula: “[Abo] abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira. Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.”​—1 Timoseewo 6:9, 10.

3. Lwaki abaweereza ba Katonda bafuna ebigezo?

3 Ku luuyi olulala, abo bonna ‘abeeyongera okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa’ bafuna emikisa awatali buyinike.’ (Ekyamateeka 28:2) Kyokka, abamu bayinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nti emikisa gya Yakuwa tegigattibwako buyinike, lwaki abaweereza ba Katonda bangi babonaabona?’ Baibuli ekiraga nti okugezesebwa kwe tufuna, Katonda y’akukkiriza okututuukako, naye nga kusibuka eri Setaani, omulembe gwe omubi n’obutali butuukirivu bwaffe. (Olubereberye 6:5; Ekyamateeka 32:4, 5; Yokaana 15:19; Yakobo 1:14, 15) Yakuwa y’ensibuko ya ‘buli kirabo ekirungi, na buli kitone kituukirivu.’ (Yakobo 1:17) N’olwekyo, emikisa gye tegireeta buyinike. Bwe kityo nno, ka twekenneenye ebimu ku birabo bya Katonda eby’omuwendo.

Ekigambo kya Katonda​—Kirabo eky’Omuwendo

4. Mukisa ki n’ekirabo eky’omuwendo abantu ba Yakuwa bye bafunye mu ‘kiseera kino eky’enkomerero’?

4 Ku bikwata ku ‘kiseera eky’enkomerero,’ obunnabbi bwa Danyeri bugamba: “Okumanya [okutuufu] kulyeyongera.” Kyokka, ebigambo ebyo byakwataganyizibwa ne bino: “So ku babi tekuliba abalitegeera: naye abo abalina amagezi balitegeera.” (Danyeri 12:4, 10) Kirowoozeeko ekyo! Ekigambo kya Katonda, naddala obunnabbi, bwaluŋŋamizibwa Katonda ne kiba nti ababi tebasobola kubutegeera ng’ate bo abantu ba Yakuwa basobola. Omwana wa Katonda yasaba: “Nkwebaza, Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n’abakabakaba, n’obibikkulira abaana abato.” (Lukka 10:21) Nga mukisa gwa maanyi okuba n’ekirabo eky’omuwendo eky’Ekigambo kya Katonda, Baibuli, ekiri mu buwandiike, era n’okuba mu abo Yakuwa b’awadde okutegeera okw’eby’omwoyo!​—1 Abakkolinso 1:21, 27, 28; 2:14, 15.

5. Amagezi kye ki, era tusobola tutya okugafuna?

5 Tetwandibadde na kutegeera kwonna okw’eby’omwoyo singa tetwafuna ‘magezi agava waggulu.’ (Yakobo 3:17) Amagezi bwe busobozi bw’okukozesa okumanya n’okutegeera okugonjoola ebizibu, okwewala akabi, okutuuka ku biruubirirwa oba okubuulira mu ngeri ezimba. Tufuna tutya amagezi agava eri Katonda? Engero 2:6, wagamba: “Kubanga Mukama awa amagezi; mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n’okutegeera.” Yee, Yakuwa ajja kutuwa amagezi singa tunyiikirira okugamusaba, nga bwe yawa Kabaka Sulemaani “omutima omugezigezi era omutegeevu.” (1 Bassekabaka 3:11, 12; Yakobo 1:5-8) Era, okufuna amagezi tuteekwa okuwulirizanga Yakuwa obutayosa nga tuyiga Ekigambo kye awamu n’okukikolerako.

6. Lwaki kya magezi okuteeka mu nkola amateeka n’emisingi gya Katonda?

6 Ebyokulabirako ebisingayo obulungi ebikwata ku magezi agava eri Katonda, bisangibwa mu mateeka n’emisingi gya Baibuli. Bino bituganyula mu ngeri nnyingi. Bituganyula mu mubiri, mu ndowooza, mu nneewulira, era ne mu by’omwoyo. Nga kituukirawo, omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi. Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima: ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso. Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna: emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala. Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n’ezaabu ennyingi ennungi.”​—Zabbuli 19:7-10; 119:72.

7. Kiki ekiva mu kwesamba emisingi gya Katonda egy’obutuukirivu?

7 Ku luuyi olulala, abo abeesamba emisingi gya Katonda egy’obutuukirivu tebafuna ssanyu n’eddembe bye baba banoonya. Oluvannyuma bakizuula nti Katonda tasekererwa, kubanga omuntu akungula ekyo kye yasiga. (Abaggalatiya 6:7) Obukadde n’obukadde bw’abo abeesamba emisingi gya Baibuli bakungula ebintu ng’okufuna embuto ze bataagala, endwadde, oba emize emirala. Okuggyako nga beenenya ne bakyusa amakubo gaabwe, ebikolwa byabwe bijja kubatuusa ku kufa oboolyawo ne Katonda okubazikiriza.​—Matayo 7:13, 14.

8. Lwaki abaagala Ekigambo kya Katonda basanyufu?

8 Kyokka, abo abaagala Ekigambo kya Katonda era ne bakikolerako, bajja kufuna emikisa mingi kati ne mu biseera eby’omu maaso. Bawulira nga banunuddwa amateeka ga Katonda, basanyufu ddala, era balindirira n’essanyu ekiseera lwe balisumululwa okuva mu kibi n’eby’akabi bye kireeta. (Abaruumi 8:20, 21; Yakobo 1:25) Essuubi lino kkakafu kubanga lyesigamiziddwa ku kirabo kya Katonda eky’okwagala eri olulyo lw’omuntu, nga kye kinunulo ky’Omwana we omu yekka, Yesu Kristo. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16; Abaruumi 6:23) Ekirabo ekyo ekitenkanika kyoleka okwagala kwa Katonda eri olulyo lw’omuntu, era ne kikakasa abo bonna abeeyongera okuwuliriza Yakuwa nti bajja kufuna emikisa egy’olubeerera.​—Abaruumi 8:32.

Tusiima Ekirabo ky’Omwoyo Omutukuvu

9, 10. Tuganyulwa tutya mu kirabo kya Yakuwa eky’omwoyo omutukuvu? Waayo ekyokulabirako.

9 Ekirabo kya Katonda ekirala eky’okwagala kye twandisiimye gwe mwoyo gwe omutukuvu. Ku lunaku lwa Pentekooti 33 C.E., omutume Peetero yakubiriza ekibinja ky’abantu abaaliwo mu Yerusaalemi: “Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe [m] woyo [o] mutukuvu.” (Ebikolwa 2:38) Leero, Yakuwa awa omwoyo omutukuvu abaweereza be abagusaba era abaagala okukola ky’ayagala. (Lukka 11:9-13) Mu biseera eby’edda, omwoyo gwa Katonda omutukuvu, oba amaanyi agakola, gaawa amaanyi abasajja n’abakazi ab’okukkiriza nga mw’otwalidde n’Abakristaayo abaasooka. (Zekkaliya 4:6; Ebikolwa 4:31) Naffe gasobola okutukolera kye kimu, wadde nga tuyinza okwolekagana n’obuzibu obw’amaanyi ng’abantu ba Yakuwa.​—Yoweeri 2:28, 29.

10 Lowooza ku kyokulabirako kya Laurel, eyalemala era n’amala emyaka 37 ng’abeera mu kyuma ekyamuyambanga okussa.a Wadde nga yali mu mbeera nzibu nnyo, yaweereza Katonda n’obunyiikivu okutuusa bwe yafa. Mu myaka egyo, Laurel yafuna emikisa gya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, yasobola okuyamba abantu 17 okufuna okumanya okutuufu okwa Baibuli, wadde nga yabeeranga mu kifo kimu mu kyuma ekyo ekyamuyambangako okussa. Embeera ye etujjukiza ebigambo by’omutume Pawulo: “Bwe mba omunafu, lwe mba ow’amaanyi.” (2 Abakkolinso 12:10) Yee, obuwanguzi bwonna bwe tuyinza okutuukako mu kubuulira amawulire amalungi, tebuva mu busobozi bwaffe n’amaanyi, naye buyambi bwa Katonda okuyitira mu mwoyo omutukuvu, gw’awa abo abeeyongera okuwuliriza eddoboozi lye.​—Isaaya 40:29-31.

11. Bibala ki omwoyo gwa Katonda bye gusobozesa abo ‘abambala omuntu omuggya’ okwoleka?

11 Bwe tuwuliriza n’obuwombeefu eddoboozi lya Katonda, omwoyo gwe gutusobozesa okwoleka ebibala ng’okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, n’okwegendereza. (Abaggalatiya 5:22, 23) ‘Ebibala ebyo eby’omwoyo,’ kitundu ‘ky’omuntu omuggya’ Abakristaayo gwe bambala, mu kifo ky’empisa embi ze bayinza okuba nga baalina. (Abaefeso 4:20-24; Isaaya 11:6-9) Mu bibala ebyo, ekisinga obukulu kwe kwagala, ‘engeri egatta awamu.’​—Abakkolosaayi 3:14, NW.

Okwagala kw’Ekikristaayo​—Kirabo Kye Tusiima

12. Tabbiisa n’Abakristaayo abalala ab’omu kyasa ekyasooka, baalaga batya okwagala?

12 Okwagala kw’Ekikristaayo, kirabo ekirala kye tusiima okuva eri Yakuwa. Okwagala kuno kwesigamiziddwa ku misingi, era kugatta wamu abakkiriza okusinga n’oluganda olw’omubiri. (Yokaana 15:12, 13; 1 Peetero 1:22) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Tabbiisa, omukyala Omukristaayo omulungi ow’omu kyasa ekyasooka. ‘Yakolanga ebirungi era n’agabanga ebirabo,’ naddala eri bannamwandu mu kibiina. (Ebikolwa 9:36) Abakyala abo bateekwa okuba nga baalina ab’eŋŋanda zaabwe ab’omubiri, naye Tabbiisa yayagala okukola kyonna ky’asobola okubazzaamu amaanyi. (1 Yokaana 3:18) Nga kyakulabirako kirungi nnyo Tabbiisa kye yateekawo! Okwagala kw’ab’oluganda kwakubiriza Pulisika ne Akwira ‘okuteeka obulamu bwabwe’ mu kabi ku lwa Pawulo. Okwagala era kwakubiriza Epafula, Lukka, Onesifolo n’abalala okuyamba Pawulo nga musibe mu Rooma. (Abaruumi 16:3, 4; 2 Timoseewo 1:16; 4:11; Firemooni 23, 24) Leero, Abakristaayo ng’abo, ‘baagalana bokka na bokka,’ era ekirabo ekyo ekiva eri Katonda, kibaawulawo ng’abayigirizwa ba Yesu ab’amazima.​—Yokaana 13:34, 35.

13. Tuyinza tutya okulaga nti tusiimira ddala oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo?

13 Osiima okwagala okuliwo mu kibiina Ekikristaayo? Osanyukira oluganda lwaffe olw’eby’omwoyo oluliwo okwetooloola ensi yonna? Ebyo nabyo birabo okuva eri Yakuwa ebitugaggawaza. Tuyinza tutya okulaga nti tubitwala nga bya muwendo? Nga tuwa Katonda obuweereza obutukuvu, nga twenyigira mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, era nga twoleka okwagala n’ebibala ebirala eby’omwoyo gwa Katonda.​—Abafiripi 1:9; Abaebbulaniya 10:24, 25.

“Ebirabo mu Bantu”

14. Kiki ekyetaagisa Omukristaayo bw’aba ow’okufuuka omukadde oba omuweereza mu kibiina?

14 Abakristaayo abasajja abaagala okuweereza basinza bannaabwe ng’abakadde oba ng’abaweereza, balina ekiruubirirwa ekirungi. (1 Timoseewo 3:1, 8) Okusobola okufuna enkizo ezo, ow’oluganda ateekwa okuba omuntu ayettanira eby’omwoyo, ng’amanyi Ebyawandiikibwa, era nga munyiikivu mu buweereza bw’ennimiro. (Ebikolwa 18:24; 1 Timoseewo 4:15; 2 Timoseewo 4:5) Ateekwa okulaga obuwombeefu, obwetoowaze, n’obugumiikiriza, kubanga abo abeetulinkiriza, ab’amalala, n’abeenoonyeza ebyabwe ku bwabwe, tebafuna mikisa gya Katonda. (Engero 11:2; Abaebbulaniya 6:15; 3 Yokaana 9, 10) Bw’aba nga mufumbo, ateekwa okuba ssemaka omulungi ng’asobola okulabirira ab’omu maka ge mu ngeri ennungi. (1 Timoseewo 3:4, 5, 12) Olw’okuba omuntu ng’oyo asiima eby’obugagga eby’omwoyo, aba asobola okufuna emikisa gya Yakuwa.​—Matayo 6:19-21.

15, 16. Baani abeeraga okuba “ebirabo mu bantu”? Waayo ebyokulabirako.

15 Abo abaweereza ng’abakadde mu kibiina bwe banyiikirira okubuulira, bwe batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’abasumba oba ng’abayigiriza, batuwa ensonga ennungi okusiima “ebirabo mu bantu.” (Abaefeso 4:8, 11, NW) Abo abaganyulwa mu buweereza bwabwe obw’okwagala bayinza obutabasiima bulijjo, naye Yakuwa alaba abakadde abo abeesigwa bye bakola. Tajja kwerabira kwagala kwe balaga erinnya lye nga baweereza abantu be.​—1 Timoseewo 5:17; Abaebbulaniya 6:10.

16 Lowooza ku mukadde omu akola ennyo eyakyalira omuwala Omukristaayo eyali anaatera okulongoosebwa obwongo. Mukwano gw’ab’omu maka ago yagamba: “Yali wa kisa, ng’afaayo era ng’abudaabuda. Yasaba olukusa okusaba Yakuwa wamu naffe. Ng’asaba, taata w’omwana [atali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa] yakaaba, era ne bonna abaali mu kasenge k’eddwaliro baakulukusa amaziga. Ng’okusaba kw’omukadde oyo kwali kubudaabuda. Era nga Yakuwa yalaga okwagala okumusindika mu kiseera kyennyini ekituufu!” Omujulirwa omulala omulwadde yayogera bw’ati ku bakadde abaamukyalira: “Bwe baasemberera ekitanda kyange mu kasenge awalabirirwa abayi, nnamanya nti ka kibe ki ekyandintuuseeko, nnadisobodde okukyaŋŋanga. Nnafuna amaanyi n’emirembe mu mutima.” Waliwo asobola okugula okufaayo ng’okwo? Tekisoboka! Kirabo okuva eri Katonda ekifunika okuyitira mu kibiina Ekikristaayo.​—Isaaya 32:1, 2.

Ekirabo ky’Obuweereza bw’Ennimiro

17, 18. (a) Nkizo ki Yakuwa gy’ateereddewo abantu be bonna? (b) Buyambi ki Katonda bw’ataddewo tusobole okutuukiriza obuweereza bwaffe?

17 Tewali nkizo eyinza kuweebwa muntu yenna esinga ey’okuweereza Yakuwa, oyo Ali Waggulu Ennyo. (Isaaya 43:10; 2 Abakkolinso 4:7; 1 Peetero 2:9) Kyokka, enkizo ey’okwenyigira mu buweereza eri abantu bonna, egguddwawo eri bonna ka babe bato oba bakulu, basajja oba bakazi, abaagalira ddala okuweereza Katonda. Okozesa ekirabo kino eky’omuwendo? Abamu bayinza obuteenyigira mu buweereza olw’okuba balowooza nti tebalina busobozi. Naye jjukira nti Yakuwa awa omwoyo omutukuvu abo abamuweereza, era gwe gutusobozesa okufuna ekyo kye tuba tubulwako.​—Yeremiya 1:6-8; 20:11.

18 Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka Yakuwa agukwasizza baweereza be abawombeefu, so si bantu ab’amalala era abeesigama ku busobozi bwabwe. (1 Abakkolinso 1:20, 26-29) Abantu abawombeefu bamanyi obusobozi bwabwe we bukoma, era beesigama ku buyambi bwa Katonda nga beenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Era basiima obuyambi obw’eby’omwoyo bw’awa okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’​—Lukka 12:42-44; Engero 22:4.

Obulamu bw’Amaka obw’Essanyu​—Kirabo Kirungi Nnyo

19. Bintu ki ebisobozesa okutuuka ku buwanguzi mu kukuza abaana?

19 Obufumbo n’obulamu bw’amaka obw’essanyu, birabo ebiva eri Katonda. (Luusi 1:9; Abaefeso 3:14, 15) Abaana nabo ‘busika obw’omuwendo obuva eri Yakuwa,’ obuleetera essanyu abazadde abafuba okubayigiriza engeri za Katonda. (Zabbuli 127:3) Bw’oba ng’oli muzadde, weeyongere okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa ng’okuza abaana bo okusinziira ku Kigambo kye. Abo abakola bwe batyo, bakakafu nti bajja kufuna obuwagizi bwa Yakuwa n’emikisa mingi.​—Engero 3:5, 6; 22:6; Abaefeso 6:1-4.

20. Kiki ekiyinza okuyamba abazadde abalina abaana abavudde mu kusinza okw’amazima?

20 Wadde ng’abazadde abatya Katonda bayinza okufuba ennyo okuyigiriza abaana baabwe, abaana abamu bayinza okusalawo okuva mu kusinza okw’amazima nga bakuze. (Olubereberye 26:34, 35) Kino kiyinza okunakuwaza ennyo abazadde. (Engero 17:21, 25) Kyokka, mu kifo ky’okuggweramu ddala essuubi, kiyinza okubaganyula singa bajjukira olugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya. Wadde ng’omwana oyo yava awaka n’agoberera ekkubo ery’obujeemu, oluvannyuma yakomawo ewa kitaawe, era kitaawe yamwaniriza n’essanyu era mu ngeri ey’okwagala. (Lukka 15:11-32) Ka kibe ki ekiyinza okubaawo, abazadde Abakristaayo abeesigwa bayinza okuba abakakafu nti Yakuwa ategeera embeera yaabwe, abafaako, era nti tajja kulemererwa kubawa buwagizi.​—Zabbuli 145:14.

21. Ani gwe twandiwulirizza, era lwaki?

21 Ka buli omu ku ffe afumiitirize ku kisinga obukulu mu bulamu bwe. Tuluubirira kufuna bya bugagga, ebiyinza okutuleetera obulumi ffe kennyini n’ab’omu maka gaffe? Oba tunoonya ‘birabo ebirungi n’ebitone ebituukirivu’ ebiva eri “Kitaffe ow’ebyaka”? (Yakobo 1:17) Setaani, ‘kitaawe w’obulimba,’ ayagala tukolerere eby’obugagga eby’ensi, bwe kityo tufiirwe essanyu n’obulamu. (Yokaana 8:44; Lukka 12:15) Kyokka, Yakuwa atufaako era ayagala tufune ekyo ekisingayo obulungi. (Isaaya 48:17, 18) N’olwekyo, ka tweyongere okuwuliriza Kitaffe ow’omu ggulu era ‘tumusanyukirenga.’ (Zabbuli 37:4) Bwe tunaakola bwe tutyo, ebirabo bya Yakuwa eby’omuwendo n’emikisa gye emingi, bijja kutugaggawaza awatali buyinike bwonna.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Awake! aka Jjanwali 22, 1993, empapula 18-21.

Ojjukira?

• Essanyu erisingiridde liyinza kusangibwa wa?

• Ebimu ku birabo Yakuwa by’awa abantu be bye biruwa?

• Lwaki obuweereza bw’ennimiro kirabo?

• Abazadde balina kukola ki nga bakuza abaana baabwe okusobola okufuna emikisa gya Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Osiima Baibuli, ekirabo ekiva eri Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Wadde nga yali mu mbeera nzibu nnyo, Laurel Nisbet yaweereza Katonda n’obunyiikivu

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]

Okufaananako Tabbiisa, Abakristaayo ab’omu kiseera kino bamanyiddwa olw’ebikolwa byabwe eby’okwagala

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Abakadde Abakristaayo bafaayo nnyo ku bakkiriza bannaabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza