Ebirimu
WIIKI YA SSEBUTEMBA 25, 2017–OKITOBBA 1, 2017
3 Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?
WIIKI YA OKITOBBA 2-8, 2017
8 ‘Emirembe gya Katonda Gisingira Wala Okutegeera Kwonna’
Ekitundu ekisooka kiraga ensonga lwaki tusaanidde okulindirira Yakuwa. Era kiraga bye tuyigira ku baweereza ba Yakuwa ab’edda abaamulindirira. Ekitundu eky’okubiri kiraga nti Yakuwa asobola okutuyamba mu ngeri gye tutasuubira. Okwekenneenya ekitundu ekyo kijja kutuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa n’okumulindirira n’obugumiikiriza okutuyamba.
13 Ebyafaayo—Okugumira Ebizibu Kinviiriddemu Emikisa Mingi
WIIKI YA OKITOBBA 9-15, 2017
17 Engeri Gye Tweyambulako Omuntu ow’Edda era ne Tumwewala
WIIKI YA OKITOBBA 16-22, 2017
22 Engeri Gye Twambala Omuntu Omuggya era ne Tumukuuma
Ekitundu ekisooka kiraga engeri gye tuyinza okweyambulako omuntu ow’edda n’ensonga lwaki tulina okumweyambulako mu bwangu. Era kiraga ebyo bye tusobola okukola okwewala omuntu ow’edda. Ekitundu eky’okubiri kiraga engeri ezitali zimu ezizingirwa mu kwambala omuntu omuggya era kiraga n’engeri gye tuyinza okuzoolekamu mu bulamu bwaffe ne mu buweereza bwaffe.