ETTEREKERO LYAFFE
“Tuliddamu Ddi Okufuna Olukuŋŋaana Olunene?”
OMWEZI gwali gwa Noovemba 1932, era wiiki ng’emu emabega ebitaala by’oku nguudo byali biteekeddwa ku nguudo z’ekibuga Mexico ekyalimu abantu abasukka mu kakadde. Naye kati bannamawulire baali tebakyayogera ku bitaala ebyo. Baali boogera ku kintu eky’enjawulo ekyali kigenda okubaayo wiiki eyo. Bannamawulire bangi baali bakuŋŋaanidde awasimba eggaali y’omukka nga beetegese bulungi ne kamera zaabwe nga balindirira omugenyi eyali anaatera okutuuka. Omugenyi oyo yali Joseph F. Rutherford, mu kiseera ekyo eyali pulezidenti wa Watch Tower Society. N’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kibuga ekyo nabo baaliwo nga bazze okwaniriza Ow’oluganda Rutherford, eyali agenda okuba omugenyi omukulu ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu.
Magazini ya Golden Age yagamba nti: “Tewali kubuusabuusa nti olukuŋŋaana luno lujja kujjukirwanga mu byafaayo era lulina kinene kye lugenda okukola ku ngeri amazima gye gagenda okusaasaanamu mu Mexico.” Naye kiki ekyafuula olukuŋŋaana olwo olwaliko abantu 150 bokka okuba olw’enjawulo?
Olukuŋŋaana olwo bwe lwali terunnabaawo omulimu gw’okubuulira mu Mexico gwali gutambula kasoobo. Okuva mu 1919, waali wabaddewo enkuŋŋaana ennene naye ng’omuwendo gw’ebibiina gugenda gukendeera. Ofiisi y’ettabi ey’omu Mexico bwe yaggulwawo mu 1929, kyasuubirwa nti kati omulimu gw’Obwakabaka gwali gugenda kudduka ku sipiidi. Naye waliwo ebizibu ebyajjawo. Ab’oluganda bwe baabagamba okulekera awo okutabika bizineesi n’omulimu gw’okubuulira, kolopoota omu yanyiiga n’atandikawo ekibiina ky’eddiini ekikye. Ate era mu kiseera ekyo ow’oluganda eyali alabirira ofiisi y’ettabi yakola ekibi eky’amaanyi n’aggibwako enkizo eyo n’eweebwa ow’oluganda omulala. Ab’oluganda abeesigwa abaali mu Mexico baali beetaga okuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo.
Ow’oluganda Rutherford bwe yakyala mu Mexico, yazzaamu ab’oluganda abo amaanyi bwe yawa emboozi bbiri ennungi ennyo ku lukuŋŋaana olunene era n’emboozi endala ttaano ku leediyo. Ogwo gwe mulundi ogwasooka leediyo z’omu Mexico okusaasaanya amawulire amalungi mu nsi eyo. Olukuŋŋaana bwe lwaggwa, ow’oluganda eyali yaakalondebwa okuba omulabirizi w’ettabi yateekateeka omulimu gw’okubuulira era ab’oluganda abeesigwa baakola n’obunyiikivu omulimu ogwo era Yakuwa yabawa emikisa.
Olukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga Mexico mu 1941
Omwaka ogwaddako, mu Mexico mwalimu enkuŋŋaana ennene bbiri, olumu lwali mu kibuga Veracruz ate olulala lwali mu kibuga Mexico. Obunyiikivu ab’oluganda bwe baateeka mu mulimu gw’okubuulira bwatandika okuvaamu ebibala. Mu 1931 waaliwo ababuulizi 82. Naye oluvannyuma lw’emyaka kkumi omuwendo gw’ababuulizi gwali gukubisaamu emirundi kkumi omuwendo ogwo! Era abantu nga 1,000 be baaliwo ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga Mexico mu 1941.
‘BEEYIYE KU NGUUDO’
Mu 1943 Abajulirwa ba Yakuwa baakola kaweefube ow’okuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene. Beetimba ebipande bibiri bibiri ng’ekimu kireebeetera mu kifuba ate ng’ekirala kireebeetera mu mugongo nga biranga olukuŋŋaana olwo olwalina omutwe, “Eggwanga ery’Eddembe” olwali mu bibuga bya Mexico 12.a Enkola eyo Abajulirwa ba Yakuwa baali bagikozesezza okuva mu 1936.
Magazini eyafulumizibwa mu 1944 yalaga ab’oluganda mu kibuga Mexico nga beetimbye ebipande ebiranga olukuŋŋaana olunene
Ng’eyogera ku byava mu kaweefube eyali mu kibuga Mexico, magazini eyitibwa La Nación yagamba nti: “Ku lunaku olwasooka olw’olukuŋŋaana Abajulirwa ba Yakuwa baagambibwa okwongera okuyita abantu. Ku lunaku olwaddako abantu baali bangi nnyo nga tebagya na mu kifo olukuŋŋaana we lwali.” Ekyo tekyasanyusa bakulu b’eddiini y’Ekikatuliki era baakola kaweefube okuziyiza Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga baayigganyizibwa, Abajulirwa ba Yakuwa beeyongera okweyiwa ku nguudo. Magazini eyo era yagamba nti: ‘Abantu bonna mu kibuga baalaba abasajja n’abakazi nga beetimbye ebipande.’ Magazini eyo era yalimu ekifaananyi ky’ab’oluganda nga bali ku nguudo z’ekibuga Mexico. Wansi w’ekifaananyi ekyo waaliwo ebigambo ebigamba nti: ‘Beeyiye ku nguudo.’
“ZAALI ZIGONDA ERA NGA ZIBUGUMA OKUSINGA SEMINTI.”
Mu myaka egyo, Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi baalinanga okwefiiriza ennyo okusobola okubaawo ku nkuŋŋaana ennene ezaabanga mu Mexico. Bangi ku bo baavanga mu byalo eby’ewala awaali watatuuka ggaali za mukka era awataali nguudo. Ekibiina ekimu kyagamba nti, “Ekintu kyokka ekiyita mu kitundu kyaffe ze layini za telegraph.” Bwe kityo, ab’oluganda bwe baabanga bagenda ku nkuŋŋaana ennene baatambuliranga ku nnyumbu oba baatambuzanga bigere okusobola okutuuka awaali wasimba eggaali y’omukka eyandibatutte mu kibuga awaabanga wagenda okubeera olukuŋŋaana olunene.
Ab’oluganda abasinga obungi baali baavu nga tebalina na ssente zibatwala ku lukuŋŋaana olunene. Bwe baatuukanga mu kibuga awaabanga olukuŋŋaana, bangi baasulanga mu maka g’ab’oluganda abaali babeera mu kibuga ekyo era ab’oluganda abo baabaanirizanga n’essanyu. Abalala baasulanga mu Bizimbe by’Obwakabaka. Ku lukuŋŋaana olumu ab’oluganda nga 90 baasula ku ofiisi y’ettabi, era beebaka ku bbookisi z’ebitabo. Akatabo Yearbook kaagamba nti ab’oluganda abo baasiima nnyo kubanga bbookisi ezo “zaali zigonda era nga zibuguma okusinga seminti.”
Ab’oluganda abo tebejjusa olw’okwefiiriza ebintu ebitali bimu okusobola okubaawo ku nkuŋŋaana ennene. Ne leero Abajulirwa ba Yakuwa kati abakunukkiriza akakadde akamu mu Mexico basiima nnyo enkizo ey’okubeera ku nkuŋŋaana ennene.b Lipoota y’ettabi ery’omu Mexico eyafulumizibwa mu 1949 yayogera bw’eti ku b’oluganda abo: “Embeera enzibu ab’oluganda gye bayitamu tebaleetedde kulekera awo kusiima nkizo ey’okubeerawo ku nkuŋŋaana ennene, kubanga buli luvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene ab’oluganda basigala balwogerako okumala ekiseera kiwanvu era baba babuuza nti, ‘Tuliddamu Ddi Okufuna Olukuŋŋaana Olunene?’ ” Ne leero ab’oluganda mu Mexico bwe batyo bwe bali.—Okuva mu tterekero lyaffe mu Amerika ow’omu masekkati.
a Akatabo Yearbook aka 1944, kaagamba nti olukuŋŋaana olwo “lwaleetera Abajulirwa ba Yakuwa okumanyibwa mu Mexico.”
b Abantu 2,262,646 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu Mexico, mu 2016.