Ebirimu
Noovemba 15, 2014
© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
DDESEMBA 29, 2014–JJANWALI 4, 2015
Okuzuukira kwa Yesu Kutuganyula Kutya?
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 5, 60
JJANWALI 5-11, 2015
Ensonga Lwaki Tulina Okuba Abatukuvu
OLUPAPULA 8 • ENNYIMBA: 119, 17
JJANWALI 12-18, 2015
Tulina Okuba Abatukuvu mu Nneeyisa Yaffe Yonna
OLUPAPULA 13 • ENNYIMBA: 65, 106
JJANWALI 19-25, 2015
“Abantu Abalina Yakuwa nga Ye Katonda Waabwe”
OLUPAPULA 18 • ENNYIMBA: 46, 63
JJANWALI 26, 2015–FEBWALI 1, 2015
“Kati Muli Ggwanga lya Katonda”
OLUPAPULA 23 • ENNYIMBA: 112, 101
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Okuzuukira kwa Yesu Kutuganyula Kutya?
Ekitundu kino kiwa obukakafu obulaga nti Yesu yazuukira era nti kati mulamu. Era kiraga engeri okuzuukira kwa Kristo gye kutuganyulamu n’engeri gye kukwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira.
▪ Ensonga Lwaki Tulina Okuba Abatukuvu
▪ Tulina Okuba Abatukuvu mu Nneeyisa Yaffe Yonna
Ebitundu bino, okusingira ddala ebyesigamiziddwa ku kitabo ky’Eby’Abaleevi, biraga ensonga lwaki Yakuwa ayagala abantu be okuba abatukuvu n’engeri gye tuyinza okuba abatukuvu. Era biraga engeri gye tuyinza okukyoleka mu nneeyisa yaffe nti tuli batukuvu.
▪ “Abantu Abalina Yakuwa nga Ye Katonda Waabwe”
▪ “Kati Muli Ggwanga lya Katonda”
Abantu abamu be tuyigiriza Bayibuli kibazibuwalira okutegeera nti Yakuwa alina ekibiina kimu kyokka eky’abaweereza be ku nsi. Balowooza nti omuntu yenna omwesimbu aba asiimibwa mu maaso ga Katonda, k’abe mu ddiini ki. Ebitundu bino biraga ensonga lwaki kikulu okumanya abantu ba Katonda n’ensonga lwaki kikulu nnyo okubeegattako mu kusinza Yakuwa.
KU DDIBA: Ababuulizi nga babuulira mu Santiago de Cuba, ekibuga ekikwata eky’okubiri mu bunene mu ggwanga eryo erimanyiddwa ennyo olw’ennyimba n’amazina ag’ekinnansi
CUBA
ABANTU
11,163,934
ABABUULIZI
96,206
BAPAYONIYA ABA BULIJJO
9,040