Ebirimu
Agusito 15, 2014
© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
SSEBUTEMBA 29, 2014–OKITOBBA 5, 2014
Ekifo ky’Abakazi mu Kigendererwa kya Yakuwa
OLUPAPULA 6 ENNYIMBA: 86, 104
OKITOBBA 6-12, 2014
Kozesa Ekigambo kya Katonda—Kubanga Kiramu!
OLUPAPULA 11 ENNYIMBA: 114, 101
OKITOBBA 13-19, 2014
Engeri Yakuwa gy’Atusembereramu
OLUPAPULA 16 ENNYIMBA: 51, 91
OKITOBBA 20-26, 2014
Wuliriza Eddoboozi lya Yakuwa Wonna w’Obeera
OLUPAPULA 21 ENNYIMBA: 26, 89
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Ekifo ky’Abakazi mu Kigendererwa kya Yakuwa
Laba engeri obujeemu obwaliwo mu lusuku Adeni gye bukutte ku basajja n’abakazi. Soma ku byokulabirako by’abamu ku bakazi abeesigwa abaaliwo mu biseera by’edda. Era laba ekifo abakazi kye balina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa.
▪ Kozesa Ekigambo kya Katonda—Kubanga Kiramu!
Buli mubuulizi w’Obwakabaka ayagala okukuguka mu mulimu gw’okubuulira. Laba engeri gye tuyinza okukozesa Bayibuli awamu ne tulakiti zaffe okukubaganya ebirowoozo n’abantu n’okulaba nti obubaka obuli mu Kigambo kya Yakuwa butuuka ku mitima gyabwe.
▪ Engeri Yakuwa gy’Atusembereramu
Buli omu ku ffe yeetaaga okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi waffe. Laba engeri ekinunulo n’Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, gye biraga nti Yakuwa ayagala tumusemberere.
▪ Wuliriza Eddoboozi lya Yakuwa Wonna w’Obeera
Okusobola okutambulira mu kkubo ery’amazima, tulina okuwuliriza ebyo Yakuwa by’atugamba. Laba engeri gye tuyinza okuwuliriza eddoboozi lya Katonda wadde nga Sitaani n’obutali butuukirivu bwaffe bigezaako okutulemesa. Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki kikulu nnyo okuba n’empuliziganya ennungi ne Katonda ow’amazima.
KU DDIBA: Bannyinaffe nga babuulira omukazi mu lulimi Olulasa mu Tel-Aviv okumpi n’ennyanja. Emabega waabwe waliyo enjazi z’e Jaffa, omwalo gwa Yoppa eky’edda
ISIRAERI
ABANTU
8,050,000
ENTIKKO Y’ABABUULIZI MU 2013
1,459
ABAALIWO KU KIJJUKIZO MU 2013
2,671