Ebirimu
Apuli 15, 2014
© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
JJUUNI 2-8, 2014
Yoleka Okukkiriza ng’Okwa Musa
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 33, 133
JJUUNI 9-15, 2014
OLUPAPULA 8 • ENNYIMBA: 81, 132
JJUUNI 16-22, 2014
Tewali n’Omu Asobola Kuba Muddu wa Baami Babiri
OLUPAPULA 17 • ENNYIMBA: 62, 106
JJUUNI 23-29, 2014
Beera Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo!
OLUPAPULA 22 • ENNYIMBA: 22, 95
JJUUNI 30, 2014–JJULAAYI 6, 2014
Eky’Okuba nti Yakuwa Atwetegereza Okitwala Otya?
OLUPAPULA 27 • ENNYIMBA: 69, 120
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Yoleka Okukkiriza ng’Okwa Musa
▪ Olaba “Oyo Atalabika”?
Okukkiriza kwayamba Musa okulaba “Oyo atalabika.” Ebitundu bino biraga engeri gye tusobola okuba n’okukkiriza ng’okwa Musa, kituyambe ‘okweyongera okuba abanywevu nga tulinga abalaba Oyo atalabika.’—Beb. 11:27.
▪ Tewali n’Omu Asobola Kuba Muddu wa Baami Babiri
▪ Beera Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo!
Abantu bangi okwetooloola ensi basalawo okugenda okukolera mu nsi endala. Bangi ku bo batuuka n’okulekawo bannaabwe mu bufumbo n’abaana baabwe. Ebitundu bino ebibiri biraga engeri Yakuwa gy’ayagala tutuukirizeemu obuvunaanyizibwa bwaffe mu maka n’engeri gy’atuyambamu okubutuukiriza.
▪ Eky’Okuba nti Yakuwa Atwetegereza Okitwala Otya?
Abantu abamu bwe bamanya nti ‘amaaso ga Yakuwa gaba mu buli kifo,’ bayinza okutandika okutya nga balowooza nti abatunuulira ng’ayagala kubanoonyaamu nsobi. (Nge. 15:3) Naye ekitundu kino kiraga engeri ttaano gye tuyinza okuganyulwa mu ky’okuba nti Yakuwa atwetegereza.
KU DDIBA: Omubuulizi mu Istanbul ng’akozesa brocuwa Amawulire Amalungi okubuulira omusajja eyali amusala enviiri
BUTULUUKI
ABANTU
75,627,384
ABABUULIZI
2,312
ABAYIZI BA BAYIBULI
1,632
BULI MUBUULIZI ALINA OKUBUULIRA ABANTU 32,711
Okuva mu 2004 bapayoniya aba bulijjo beeyongedde ebitundu 165%