Ebirimu
Maaki 15, 2014
© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
MAAYI 5-11, 2014
Engeri Gye Tuyinza Okwoleka Omwoyo ogw’Okwefiiriza
OLUPAPULA 7 • ENNYIMBA: 61, 25
MAAYI 12-18, 2014
Tuyinza Tutya Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu?
OLUPAPULA 12 • ENNYIMBA: 74, 119
MAAYI 19-25, 2014
Ossangamu Ekitiibwa Abo Abakaddiye
OLUPAPULA 20 • ENNYIMBA: 90, 135
MAAYI 26, 2014–JJUUNI 1, 2014
OLUPAPULA 25 • ENNYIMBA: 134, 29
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Engeri Gye Tuyinza Okwoleka Omwoyo ogw’Okwefiiriza
Tulina omulabe asobola okutulemesa okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Ekitundu kino kiraga omulabe oyo n’engeri gye tuyinza okumulwanyisa.
▪ Tuyinza Tutya Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu?
Okuba n’endowooza ennuŋŋamu kituyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Lwaki abantu abamu tebalina ndowooza nnuŋŋamu? Ekitundu kino kiraga engeri Bayibuli gy’esobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu.
▪ Ossangamu Ekitiibwa Abo Abakaddiye
▪ Okulabirira Abo Abakaddiye
Ebitundu bino biraga obuvunaanyizibwa buli Mukristaayo bw’alina n’obwo ekibiina bwe kirina bwe kituuka ku kulabirira bakkiriza bannaffe oba ab’eŋŋanda zaffe abakaddiye. Era biraga kye tuyinza okukola okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Fuba Okutuuka ku Mutima gw’Ab’Eŋŋanda Zo Abatali Bakkiriza
KU DDIBA: Abajulirwa ba Yakuwa abamu mu Australia batambula eŋŋendo empanvu okusobola okubuulira abantu abakola ku ffaamu
AUSTRALIA
ABANTU
23,192,500
ABABUULIZI
66,967