Ebirimu
Noovemba 15, 2013
© 2013 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
DDESEMBA 30, 2013–JJANWALI 5, 2014
“Mubeere Bulindaala ku Bikwata ku Kusaba”
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 67, 81
JJANWALI 6-12, 2014
Tuyinza Tutya ‘Okulindirira Katonda’?
OLUPAPULA 10 • ENNYIMBA: 119, 32
JJANWALI 13-19, 2014
Abasumba Omusanvu, n’Abantu Omunaana ab’Ekitiibwa—Be Baani Leero?
OLUPAPULA 16 • ENNYIMBA: 43, 123
JJANWALI 20-26, 2014
Gondera Abasumba Yakuwa b’Alonze
OLUPAPULA 21 • ENNYIMBA: 125, 122
JJANWALI 27, 2014–FEBWALI 2, 2014
Abasumba, Mukoppe Abasumba Abasinga Obukulu
OLUPAPULA 26 • ENNYIMBA: 5, 84
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ “Mubeere Bulindaala ku Bikwata ku Kusaba”
Okuva bwe kiri nti ensi ya Sitaani enaatera okuzikirizibwa, kikulu nnyo ffenna okusigala nga tutunula mu by’omwoyo. Ekitundu kino kiraga engeri okusigala nga tuli bulindaala ku bikwata ku kusaba gye kiyinza okutuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo.
▪ Tuyinza Tutya ‘Okulindirira Katonda’?
Ekitundu kino kiraga ekyokulabirako ekirungi nnabbi Mikka kye yateekawo mu kwoleka obugumiikiriza. Era kyogera ku bintu ebinaalaga nti enkomerero y’ensi ya Sitaani etuuse. Ate era kiraga engeri gye tuyinza okulaga nti tusiima obugumiikiriza bwa Katonda.
▪ Abasumba Omusanvu, n’Abantu Omunaana ab’Ekitiibwa—Be Baani Leero?
Tulina ebintu bingi bye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku bulumbaganyi Sennakeribu bwe yakola ku Yerusaalemi mu kiseera kya Keezeekiya. Ekitundu kino kijja kuyamba nnyo abasumba mu kibiina.
▪ Gondera Abasumba Yakuwa b’Alonze
▪ Abasumba, Mukoppe Abasumba Abasinga Obukulu
Ekitundu ekisooka kiraga engeri Yakuwa ne Yesu gye balabiriramu ekisibo kyabwe leero. Era kiraga engeri endiga gye zisobola okulaga nti Yakuwa ne Yesu be Basumba baazo. Ekitundu eky’okubiri kiraga endowooza abakadde mu kibiina gye basaanidde okuba nayo nga balunda ekisibo.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
8 Engeri Gye Tuyinza Okukola ku Byetaago by’Abalala
KU DDIBA: Ababuulizi nga babuulira ku sitenseni y’eggaali y’omukka mu kibuga Tokyo. Abantu kumpi obukadde busatu be bagenda mu kibuga Tokyo buli lunaku. Ababuulizi bafuba okubuulira abantu be batatera kusanga waka nga babuulira nnyumba ku nnyumba
JAPAN
ABANTU:
126,536,000
ABABUULIZI:
216,692
BAPAYONIYA ABA BULIJJO
65,245