Ebirimu
Jjanwali 15, 2013
© 2013 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
FEBWALI 25, 2013–MAAKI 3, 2013
Beera Muvumu—Yakuwa Ali Naawe!
OLUPAPULA 7 • ENNYIMBA: 60, 23
MAAKI 4-10, 2013
Tokkiriza Kintu Kyonna Kukwawukanya ne Yakuwa
OLUPAPULA 12 • ENNYIMBA: 106, 51
MAAKI 11-17, 2013
Weeyongere Okusemberera Yakuwa
OLUPAPULA 17 • ENNYIMBA: 52, 65
MAAKI 18-24, 2013
Okuweereza Katonda Awatali Kwejjusa
OLUPAPULA 22 • ENNYIMBA: 91, 39
MAAKI 25-31, 2013
Abakadde mu Kibiina—‘Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’
OLUPAPULA 27 • ENNYIMBA: 123, 53
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Beera Muvumu—Yakuwa Ali Naawe!
Ebyawandiikibwa byogera ku bantu bangi abaayoleka obuvumu n’okukkiriza. Okwekenneenya ebyokulabirako by’abamu ku bantu abo kijja kutuyamba okwoleka okukkiriza n’obuvumu nga tuweereza Yakuwa. Ekitundu kino kyogera ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2013.
▪ Tokkiriza Kintu Kyonna Kukwawukanya ne Yakuwa
▪ Weeyongere Okusemberera Yakuwa
Waliwo ebintu bingi mu bulamu bye tutasobola kwesalirawo ku lwaffe, nga muno mwe muli, bazadde baffe, baganda baffe, ne bannyinaffe. Kyokka bwe kituuka ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, ffe tulina okwesalirawo okuba nayo oba obutaba nayo. Ebitundu bino biraga ebintu musanvu bye tutasaanidde kukkiriza kutwawukanya ne Yakuwa.
▪ Okuweereza Katonda Awatali Kwejjusa
Ffenna twali tukoze ku bintu bye tuwulira nti singa twali tusobola okubikyusa twandibikyusizza. Kyokka tetusaanidde kukkiriza nsobi ze twakola emabega kutuleetera kuddirira mu buweereza bwaffe eri Katonda. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri ekyokulabirako kya Pawulo gye kiyinza okutuyamba okuweereza Katonda awatali kwejjusa.
▪ Abakadde mu Kibiina—‘Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’
Mu bbaluwa ey’okubiri gye yawandiikira Abakkolinso, Pawulo yakiraga nti ye awamu ne banne baali bakolera wamu okuyamba Abakkolinso okuba abasanyufu. (2 Kol. 1:24) Kiki abakadde mu kibiina kye bayigira ku Pawulo? Era buli omu ku ffe ayinza atya okuyamba abalala mu kibiina okuweereza Katonda nga basanyufu? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Beewaayo Kyeyagalire—Mu Norway
32 Okukola Enteekateeka Ennungi Kivaamu Ebibala
KU DDIBA: Ow’oluganda ne mukyala we abaawummula ku mulimu nga bali e Camp Perrin nga baliko gwe bayigiriza Bayibuli. Okufaananako ow’oluganda ono ne mukyala we, ab’oluganda abamu bannansi ba Haiti ababeera mu nsi endala basazzeewo okuddayo mu Haiti okuyambako mu mulimu gw’okubuulira
HAITI
BULI MUBUULIZI ALINA OKUBUULIRA ABANTU
557
ABABUULIZI
17,954
ABAYIZI BA BAYIBULI
35,735