Ebirimu
Noovemba 15, 2012
© 2012 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
Ogw’okusoma Mu Kibiina
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
DDESEMBA 24-30, 2012
‘Njigiriza Okukola by’Oyagala’
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 69, 120
DDESEMBA 31, 2012–JJANWALI 6, 2013
OLUPAPULA 10 • ENNYIMBA: 84, 82
JJANWALI 7-13, 2013
OLUPAPULA 15 • ENNYIMBA: 26, 68
JJANWALI 14-20, 2013
Oganyulwa Otya mu Kuba nti Yakuwa Asonyiwa?
OLUPAPULA 21 • ENNYIMBA: 67, 91
JJANWALI 21-27, 2013
OLUPAPULA 26 • ENNYIMBA: 77, 118
EKIGENDERERWA KY’EBITUNDU EBY’OKUSOMA
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 3-7
Kabaka Dawudi owa Isiraeri yali assa nnyo ekitiibwa mu linnya lya Yakuwa era yayagalanga nnyo okukola Katonda by’ayagala. Ate era yali ategeera bulungi emisingi egiri mu Mateeka ga Katonda era yasaba Katonda amuyigirize okukola by’ayagala. Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki kikulu nnyo okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 2, 3 OLUPAPULA 10-19
Abakristaayo ab’amazima basaanidde okuba abeetoowaze. Ekitundu eky’okubiri kiraga engeri Yesu gye yayolekamu obwetoowaze n’engeri gye tuyinza okumukoppa. Ekitundu eky’okusatu kiraga engeri gye tuyinza okukyoleka mu bulamu bwaffe nti twetwala okuba aba wansi.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 4, 5 OLUPAPULA 21-30
Ebitundu bino bijja kutuyamba okukiraba nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abantu ne bwe baba nga bakoze ebibi eby’amaanyi. Oluusi kiyinza okutuzibuwalira okusonyiwa abalala. Naye ebyo bye tusoma mu Bayibuli bisobola okutuyamba okuba abeetegefu okusonyiwa abalala.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
8 Bye Baawaayo Byakola ku Byetaago by’Abalala
KU DDIBA: Ow’oluganda ng’abuulira mu kabuga Albarracín akasangibwa mu masekkati ga Sipeyini. Ekibiina ky’e Teruel, ekirimu ababuulizi 78, kye kibuulira mu kabuga Albarracín ne mu bubuga obulala 188
SIPEYINI
ABANTU
47,042,900
ABABUULIZI
111,101
ABAALIWO KU KIJJUKIZO MU 2012
192,942