Ba wa Magezi Noonya “Obulagirizi Obutuufu”
Obulamu butera okugeraageranyizibwa ku kutambula olugendo oluwanvu ng’oyita ku mazzi. Kyokka amagezi g’abantu tegasobodde kuyamba bantu kumalirawo ddala bizibu bye boolekagana nabyo mu bulamu. Abantu bangi bafunye ebizibu bingi mu bulamu. (Zab. 107:23, 27) Lwaki obulamu butera okugeraageranyizibwa ku kutambulira ku mazzi?
Mu biseera by’edda, okutambulira ku mazzi tekyabanga kyangu era kyali kyetaagisa obumanyirivu. Omuntu bwe yabanga ayagala okuyiga okutambulira ku mazzi, abantu abaalina obumanyirivu mu kutambulira ku mazzi, gamba ng’abagoba b’amaato, baamutendekanga. (Bik. 27:9-11) Mu bifaananyi bingi eby’edda ebisiige, omugoba w’eryato yakubibwanga nga munene okusinga abantu abalala ababanga ku lyato okulaga nti yali wa mugaso nnyo. Abantu abaatambuliranga ku mazzi, baayiganga ebikwata ku mmunyeenye, ku mpewo, n’ebintu ebirala ebyali bisobola okubayamba nga batambulira ku mazzi. Bayibuli eyogera ku bagoba b’amaato abaali “abagezigezi.”—Ez. 27:8.
Ebizibu bye tufuna mu bulamu biyinza okugeraageranyizibwa ku bizibu abantu b’edda bye baafunanga nga batambulira ku mazzi. Kiki ekiyinza okutuyamba okuvvuunuka ebizibu ebyo?
TUYINZA TUTYA OKUFUNA “OBULAGIRIZI OBUTUUFU”?
Okuva bwe kiri nti obulamu buyinza okugeraageranyizibwa ku kutambulira ku mazzi, lowooza ku bigambo bya Bayibuli bino: “Omuntu ow’amagezi awuliriza ne yeeyongere okuyiga, era omuntu alina okutegeera afuna obulagirizi obutuufu.” (Nge. 1:5, 6, NW) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “obulagirizi obutuufu” kiyinza okuba nga kyali kikozesebwa ku kuvuga eryato. Kitegeeza okuba n’obusobozi bw’okumanya ekkubo ettuufu ery’okukwata n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
Bwe tufuba okufuna “obulagirizi obutuufu,” kijja kutuyamba okuvvuunuka ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu. Ekitabo ky’Engero kiraga nti twetaaga okwoleka “amagezi” ‘n’okutegeera.’ (Nge. 1:2-6; 2:1-9) Tusaanidde okunoonya obulagirizi obuva eri Katonda, ggwe ate oba n’ababi banoonya obulagirizi bwe baba baagala okukola ebintu ebikyamu.—Nge. 12:5.
N’olwekyo, tusaanidde okufuba okusoma Ekigambo kya Katonda. Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa ne Yesu Krsito, oyo eyamukoppa mu ngeri etuukiridde. (Yok. 14:9) Tusobola okufuna obulagirizi obulungi okuyitira mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu bakkiriza bannaffe nga mw’otwalidde ne bazadde baffe.—Nge. 23:22.
WEETEEKETEEKE
Bwe tuba mu mbeera enzibu, tuba ng’omuntu ali ku nnyanja etabanguse. Mu mbeera ng’eyo tuba twetaaga nnyo “obulagirizi obutuufu.” Singa tuba tetumanyi kya kukola nga tuli mu mbeera enzibu, ekyo kiyinza okutuviiramu ebizibu eby’amaanyi.—Yak. 1:5, 6.
Ekigambo ekyavvuunulwa “obulagirizi obutuufu” era kisobola n’okukozesebwa ku by’entalo. Bayibuli egamba nti: “Olirwana olutalo lwo n’okuteesa okw’amagezi [“n’obulagirizi obutuufu,” NW] era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.”—Nge. 20:18; 24:6.
Okufaananako omuntu ateekateeka olutalo, naffe tusaanidde okulowooza ku bintu ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda era ne tweteekateeka okubiziyiza. (Nge. 22:3) Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba nga weetaaga okusalawo obanga onokkiriza omulimu ogumu oba onokkiriza okukuzibwa ku mulimu. Oyinza okulowooza ku musaala gw’onoofuna, ebiseera by’onoomala ng’otambula ng’ogenda ku mulimu ogwo, n’ebintu ebirala. Naye waliwo ebibuuzo ebirala by’olina okwebuuza: Omulimu ogwo tegukontana na misingi gya Bayibuli? Okugukola tekiikulemese okwenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo?—Luk. 14:28-30.
Mwannyinaffe ayitibwa Loretta yalina omulimu omulungi mu kampuni emu. Kampuni eyo bwe baali bagisengula okugizza mu kitundu ekirala, Loretta baali baagala okumukuza ku mulimu. Abakulira kampuni eyo baamugamba nti yali afunye omukisa ogutasangikasangika era nti mu kitundu gye baali bagenda okudda waaliyo Ekizimbe ky’Obwakabaka. Naye Loretta yali ayagala okwongera ku biseera by’amala ng’aweereza Omutonzi we. Yakiraba nti okukola omulimu ogwo tekyandimusobozesezza kufuna budde bumala kwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Bwe kityo, yasalawo okugaana omulimu ogwo wadde nga mukama we yamugamba nti ye mukozi yekka gwe baali basazeewo okusigaza ku bakozi abakadde. Loretta kati amaze emyaka nga 20 ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo era mukakafu nti yasobola okusalawo obulungi olw’okuba yagoberera “obulagirizi obutuufu” obuli mu Kigambo kya Katonda. Enkolagana ye ne Yakuwa yeeyongera okunywera era ayambye abantu abawerako okuyiga amazima.
“Obulagirizi obutuufu” bwetaagibwa nnyo mu maka. Okukuza abaana kitwala emyaka mingi era ebyo abazadde bye basalawo mu maka bwe kituuka ku bintu eby’omwoyo n’eby’omubiri, bikwata ku biseera eby’omu maaso ebya buli omu mu maka. (Nge. 22:6) N’olwekyo, abazadde Abakristaayo basaanidde okwebuuza: ‘Ebyo bye twogera ne bye tukola biyamba abaana baffe okusemberera Yakuwa basobole okwolekagana n’ebizibu bye banaafuna nga bakuze? Engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe ebayamba okulaba obukulu bw’okuba abamativu n’ebintu bye balina n’okwemalira ku buweereza bwabwe eri Yakuwa?’—1 Tim. 6:6-10, 18, 19.
Okutuuka ku buwanguzi mu bulamu tekisinziira ku bya bugagga oba ku bintu abantu abali mu nsi bye baluubirira. Ekyo ne Kabaka Sulemaani yali akimanyi bulungi. Yagamba nti: “Abo abatya Katonda banaabanga bulungi.” (Mub. 8:12) Ekyo kiraga ensonga lwaki kikulu nnyo okunoonya “obulagirizi obutuufu” obwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda.—2 Tim. 3:16, 17.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Abagoba b’amaato baakubibwanga nga banene okusinga abalunnyanja abalala okulaga nti baali ba mugaso nnyo
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Su concessione del Ministero per i Beni e le Attività Culturali. It is forbidden to reproduce or duplicate this image in any way or by any means.