Ebirimu
Ddesemba 15, 2011
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Jjanwali 30, 2012–Febwali 5, 2012
Kyakulabirako Kirungi gy’Oli oba Kulabula gy’Oli?
OLUPAPULA 8
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 61, 57
Febwali 6-12, 2012
Lwaki Twetaaga Okukulemberwa Omwoyo gwa Katonda?
OLUPAPULA 13
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 71, 63
Febwali 13-19, 2012
Abantu Abeesigwa ab’Edda—Baakulemberwa Omwoyo gwa Katonda
OLUPAPULA 18
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 81, 51
Febwali 20-26, 2012
Okukulemberwa Omwoyo gwa Katonda—mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
OLUPAPULA 22
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 69, 122
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 8-12
Abantu abamu aboogerwako mu Bayibuli baateekawo ekyokulabirako ekirungi kye tusaanidde okukoppa, naye era baateekawo n’ekyokulabirako ekibi kye tusaanidde okwewala. Sulemaani y’omu ku bo. Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba ekyo kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako kye.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 13-17
Waliwo amaanyi agasobola okutuwa obulagirizi ne tusobola okuyita obulungi mu nsi eno embi. Amaanyi ago ge galuwa? Lwaki tugeetaaga okutukulembera? Era kiki kye tulina okukola okusobola okukulemberwa amaanyi ago?
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 3, 4 OLUPAPULA 18-26
Abaweereza ba Katonda ab’edda baakulemberwa omwoyo omutukuvu. Omwoyo gwa Katonda gwabayamba gutya? Okwetegereza engeri gye gwabayambamu kijja kutuzzaamu nnyo amaanyi mu buweereza bwaffe eri Katonda.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Okukola Enkyukakyuka Kibadde kya Muganyulo Gye Ndi
27 Tokkiriza Bulwadde Kukumalako Ssanyu
31 Okyajjukira?
32 Olukalala lw’Emitwe Egibadde mu Omunaala gw’Omukuumi mu 2011