LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w11 11/15 lup. 15-16
  • “Ndi Mulema Kati Naye Sijja Kuba Mulema Mirembe Gyonna!”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Ndi Mulema Kati Naye Sijja Kuba Mulema Mirembe Gyonna!”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Njolekagana n’Ebizibu
  • Ekintu Ekyanneewuunyisa
  • Nfunye Essanyu Wadde nga Ndi Mulema
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Nnina Amaanyi Wadde nga Ndi Mulwadde
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 11/15 lup. 15-16

“Ndi Mulema Kati Naye Sijja Kuba Mulema Mirembe Gyonna!”

Byayogerwa Sara van der Monde

Abantu batera okuŋŋamba nti, “Sara, olina akamwenyumwenyu ku matama. Lwaki buli kiseera oba musanyufu?” Ntera okubagamba nti nnina essuubi ery’ekitalo, “Ndi mulema kati, naye sijja kuba mulema mirembe gyonna!”

NNAZAALIBWA mu 1974 mu kibuga Paris ekya Bufalansa. Nnafuna ekizibu nga nzaalibwa, era oluvannyuma baagenda okunkebera nga nnina obuzibu ku bwongo. Omubiri gwange gwali munafu nnyo, era nga ne bye njogera tebitegeerekeka bulungi. Nnalwala n’obulwadde bw’ensimbu era nnalwalalwalanga nnyo.

Bwe nnali wa myaka ebiri, bazadde bange baasengukira e Melbourne, Australia. Nga wayise emyaka ebiri, taata yatwabulira nze ne maama. Olwo lwe nnasooka okuwulira nga ndi kumpi nnyo ne Katonda. Maama, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, yantwalanga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa, gye nnayigira nti Katonda anjagala era anfaako. Ebyo bye nnayiga awamu n’omukwano maama gwe yandaga byandeetera okuwulira nga nnina obukuumi wadde ng’embeera yaffe yali ekyuse.

Maama era yanjigiriza okusaba Yakuwa. Mu butuufu, nkizudde nga kinnyanguyira okusaba okusinga okwogera. Bwe mba nsaba, seetaaga kulwana kwatula bigambo, naye mba “mpulira” ng’ebigambo bye ntegeeza Yakuwa byesengese bulungi mu birowoozo byange. Ate era olw’okuba ebigambo bye njogera tebitegeerekeka bulungi, kinsanyusa okukimanya nti Yakuwa ategeera ebintu byonna bye njogera, ka mbe nga mbyogedde mu kasirise oba nga mbyogedde ntamatama.​—Zab. 65:2.

Njolekagana n’Ebizibu

We nnawereza emyaka etaano, obulwadde bwange bwali bweyongedde nnyo ne kiba nti kyali kineetaagisa okukozesa ebyuma okusobola okutambula. Bwe nnatandika okutambuza ebyuma, nnatambulanga ntagala! We nnawereza emyaka 11, nnali sikyasobola na kutambula. Ekiseera kyatuuka ne mba nga sikyasobola kulinnya kitanda na kukivaako. Bwe kityo, nnalinanga okukozesa ekyuma ky’amasannyalaze okunsitula okuva ku kitanda ne kinteeka mu kagaali kange ak’abalema.

Ekituufu kiri nti olw’okuba ndi mulema, oluusi mpulira nga mpeddemu amaanyi. Naye ekyo bwe kintuukako, nzijukira ebigambo bino, nze ne maama bye tutambulizaako obulamu bwaffe: “Teweeraliikirira olw’ebintu by’otosobola kukola. Kola ebyo byokka by’osobola okukola.” Nsobola okuvuga embalaasi, okuvuga eryato, okugendako okulambula, n’okuvugavugamu ku mmotoka! Nsobola okusiiga ebifaananyi, okutunga ekyalaani, okuluka ebitambaala, okutonaatona engoye, n’okubumba ebibumbe.

Olw’okuba nnina obuzibu ku bwongo, abamu baali balowooza nti bye nnali nkola nga mpeereza Yakuwa nnali sibitegeera. Bwe nnali wa myaka 18, omusomesa wange ku ssomero yaŋŋamba okuva awaka nsobole “okuwona” eddiini ya maama. Yansuubiza n’okunfunira aw’okubeera. Naye nnamugamba nti ka kibe ki, nnali sisobola kuva mu nzikiriza yange ate era nnali sisobola kuva waka nga sinnatuuka kweyimirizaawo.

Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’ebyo ebyaliwo wakati wange n’omusomesa oyo, nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, nnapangisa ennyumba ne ntandika okubeera nzekka. Ndi musanyufu okuba nti nfuna obuyambi bwe nneetaaga era nsobola bulungi okweyimirizaawo.

Ekintu Ekyanneewuunyisa

Wabaddewo n’ebintu ebirala bingi ebigezesezza okukkiriza kwange. Lumu kyanneewuunyisa nnyo muyizi munnange​—nga naye yali mulema​—bwe yansaba okumufumbirwa. Mu kusooka nnasoberwa. Okufaananako abavubuka abawala abasinga obungi, nange njagala okufunayo omubeezi. Naye okuba nti mwembi muli balema, tekitegeeza nti mujja kuba n’obufumbo obw’essanyu. Ate era, omuvubuka oyo teyali wa nzikiriza yange. Ebyo bye tukkiriza, bye tukola, n’ebiruubirirwa byaffe byali bya njawulo nnyo. Kati olwo nnandisobodde ntya okufumbirwa omuntu ng’oyo? Nnali mmaliridde okugondera ekiragiro kya Katonda okufumbirwa mu Mukama waffe mwokka. (1 Kol. 7:39) N’olwekyo, nnagamba omuvubuka oyo nti nnali sisobola kumufumbirwa.

N’okutuusa leero, nkiraba nti nnasalawo mu ngeri ey’amagezi. Era sirina kubuusabuusa kwonna nti nja kuba musanyufu nnyo mu nsi empya Katonda gye yasuubiza. (Zab. 145:16; 2 Peet. 3:13) Nga bwe nnindirira ekiseera ekyo, ndi mumalirivu okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa n’okuba omumativu n’embeera yange.

Nneesunga nnyo olunaku lwe ndibuuka okuva mu kagaali k’abalema ne nziruka emisinde. Mu kiseera ekyo nja kugamba nti, “Nnali mulema, naye kati ndi mulamu bulungi ate nga ŋŋenda kuba mulamu emirembe gyonna!”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza