Ebirimu
Noovemba 15, 2011
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Ddesemba 26, 2011–Jjanwali 1, 2012
“Teweesigamanga ku Kutegeera Kwo Ggwe”
OLUPAPULA 6
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 133, 23
Jjanwali 2-8, 2012
Goberera Omwoyo Osobole Okufuna Obulamu n’Emirembe
OLUPAPULA 10
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 83, 120
Jjanwali 9-15, 2012
“Batuuze ab’Akaseera Obuseera” mu Nsi Embi
OLUPAPULA 16
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 40, 85
Jjanwali 16-22, 2012
Yamba Abasajja Okukulaakulana mu by’Omwoyo
OLUPAPULA 24
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 123, 95
Jjanwali 23-29, 2012
Mutendeke ab’Oluganda Okuweereza mu Kibiina
OLUPAPULA 28
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 45, 10
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 6-10
Oganyulwa mu kirabo eky’omuwendo Katonda ky’atuwadde eky’okusaba? Ekitundu kino kiraga engeri okusaba gye kusobola okukuyamba nga waliwo ebikweraliikiriza, ng’olina ebintu ebikulu by’osalawo, oba ng’oziyiza ebikemo.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 10-14
Omutume Pawulo yabuulira Abakristaayo abaali mu Rooma ekyo kye baalina okuteekako ebirowoozo byabwe okusobola okufuna obulamu n’emirembe. Ekitundu kino kiraga ekyo kye tuyiga okuva mu bigambo bye eri Abakristaayo abo.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3 OLUPAPULA 16-20
Nga bwe kiragibwa mu kitundu kino, abasajja abeesigwa ab’edda beeyisanga ‘ng’abatuuze ab’akaseera obuseera.’ N’abagoberezi ba Yesu abaasooka bwe batyo bwe baakola. Ate kiri kitya eri Abakristaayo ab’amazima leero? Ekitundu kino kiraga kye kitegeeza okweyisa ng’abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi eno embi.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 4, 5 OLUPAPULA 24-32
Waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’abasajja okuweereza mu kibiina. Yesu yayamba abasajja bangi okukkiriza amawulire amalungi era n’abatendeka okugenda mu maaso n’omulimu gwe yali atandisewo. Naffe tusobola okumukoppa. Ebitundu bino biraga engeri gye tusobola okuyambamu abasajja be tusanga nga tubuulira awamu n’ab’oluganda ababatize okusobola okuweereza mu kibiina.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima
15 “ Ndi Mulema Kati Naye Sijja Kuba Mulema Mirembe Gyonna!”
22 Ofuna Essanyu Eriva mu Kugaba?