Ebirimu
Okitobba 15, 2011
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Noovemba 28, 2011–Ddesemba 4, 2011
Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?
OLUPAPULA 8
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 70, 74
Ddesemba 5-11, 2011
Amagezi Amalungi Agakwata ku Kuba Obwannamunigina ne ku Bufumbo
OLUPAPULA 13
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 85, 36
Ddesemba 12-18, 2011
Weesige Yakuwa, “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”
OLUPAPULA 23
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 75, 115
Ddesemba 19-25, 2011
“Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”
OLUPAPULA 27
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 68, 42
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 8-12
Ka tube nga tubeera wa, okukolera ku misingi gya Bayibuli kijja kutuyamba okulonda eby’okwesanyusaamu ebinaatuganyula. Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okumanya obanga eby’okwesanyusaamu bye tulondawo binaatuganyula.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 13-17
Omuntu bw’asalawo okusigala obwannamunigina oba okuwasa tekikwata ku bulamu bwe bwokka naye era kikwata ne ku nkolagana ye ne Yakuwa. Ekitundu kino kiraga engeri abaweereza ba Katonda, ka babe nga bali bwannamunigina oba nga bafumbo, gye basobola okukolera ku kubuulirira okuli mu 1 Abakkolinso essuula 7.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 3, 4 OLUPAPULA 23-31
Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, abaweereza ba Yakuwa awamu n’abantu abalala boolekagana n’embeera enzibu. Ezimu ku mbeera ezo ze ziruwa? Kiki ekiyinza okutubudaabuda? Ebitundu bino ebibiri biraga engeri Yakuwa awamu n’Abajulirwa be gye basobola okubudaabudamu abantu mu biseera bino ebizibu.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 ‘Okuba Obulindaala’—Lwaki Kikulu Nnyo?
18 Okuweereza Yakuwa Kindeetedde Essanyu Lingi
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 2]
Globe: Courtesy of Replogle Globes