Nnali Ntya Okufa—Naye Kati Nnindirira Okufuna ‘Obulamu mu Bujjuvu’
Byayogerwa Piero Gatti
O KUBWATUKA okwatandika empolampola kwagenda kweyongerayongera ne kutabuka. Emmotoka za poliisi zaatandika okwetawula nga balabula abantu okwekweka. Waayita mbale, bbomu zirwasa mayinja ne zitandika okubwatuka.
Embeera bw’etyo bwe yali mu kibuga Milan, ekya Italy, mu 1943 ne 1944. Mu kiseera ekyo nnali mujaasi muto era baandagiranga okusika abantu abaabanga bafudde okuva mu bifunfugu by’ebizimbe ebyabanga bikubiddwa bbomu era ng’ebiseera ebisinga tekyabanga kyangu kutegeera bantu abo kubanga baabanga babetenteddwa nnyo. Ng’oggyeko okukuŋŋaanya emirambo, nange ebiseera ebimu nnawoneranga watono okuttibwa. Buli lwe nnasimattukanga okuttibwa, nnasabanga Katonda era ne mmusuubiza nti singa amponya, nja kukola by’ayagala.
Okutya Okufa Kunzigwamu
Nnakulira ku kyalo ekyesudde mayiro mukaaga okuva mu kibuga Como, Italy, ekisangibwa okumpi n’ensalo ya Switzerland. Bwe nnali nkyali muto, nnalaba ennaku ey’amaanyi eyandeetera okutandika okutya okufa. Obulwadde bwa Sseseeba bwatta bannyinaze babiri. Mu 1930, nga ndi wa myaka mukaaga gyokka, maama wange, Luigia, naye yafa. Nnakulira mu maka Amakatoliki, era nnafubanga okukwata amateeka g’eddiini n’okugenda mu misa buli wiiki. Naye nga wayise emyaka mingi, okutya okufa kwanzigweramu mu saaluuni, so si mu kkereziya.
Mu 1944, Ssematalo II yali anyiinyiitidde. Nnali omu ku basirikale ba Italy enkumi n’enkumi abaali badduse mu ddwaniro ne baddukira e Switzerland ekitundu omutaali lutalo. Bwe twatuukayo, baatutwala mu nkambi z’abanoonyi b’obubudamo. Nnasindikibwa mu nkambi eyali okumpi n’e Steinach, mu bukiika kkono bwa Switzerland. Nga tuli eyo twaweebwa eddembe essaamusaamu. Waliwo omusazi w’enviiri mu Steinach eyali yeetaaga omuntu okumuyambako mu saaluuni ye. Nnabeera naye era ne nkolera wamu naye okumala omwezi gumu gwokka, naye ekiseera ekyo kye nnamala naye kyannyamba okuyiga ebintu ebyakyusa obulamu bwange.
Omu ku bantu be yasalanga enviiri yali Adolfo Tellini, omusajja Omuyitale eyali abeera mu Switzerland. Yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nnali ssiwulirangako ku Bajulirwa ba Yakuwa, era ng’ekyo kyali tekyewuunyisa kubanga mu kiseera ekyo Abajulirwa ba Yakuwa mu Italy yonna baali tebawera na 150. Adolfo yambuulira ku kisuubizo kya Katonda eky’okuleeta emirembe n’okuwa abantu ‘obulamu mu bujjuvu.’ (Yok. 10:10; Kub. 21:3, 4) Okukimanya nti mu biseera eby’omu maaso Katonda ajja kuggyawo entalo n’okufa kyankwatako nnyo. Waliwo omuvubuka ayitibwa Giuseppe Tubini gwe twali naye mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamo nga naye nzaalwa ya Italy gwe nnabuulirako obubaka obwo era naye n’akwatibwako nnyo. Adolfo n’Abajulirwa abalala baateranga okutukyalira mu nkambi.
Adolfo yantwala mu kibuga Arbon, ekyesudde mayiro mukaaga okuva mu kibuga Steinach, awaali ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’olulimi Oluyitale. Bye nnawulira ku olwo byansanyusa nnyo ne nsalawo okuddayo wiiki eyaddako. Oluvannyuma, nnagenda mu lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu kibuga Zurich. Nnakwatibwako nnyo firimu eyalaga engeri abantu gye battibwamu mu nkambi. Ku olwo nnakimanya nti waaliwo n’Abajulirwa bangi mu Bugirimaani abattibwa olw’okukkiriza kwabwe. Ku lukuŋŋaana olwo, nnasisinkana Maria Pizzato. Yali yasibibwako okumala emyaka 11 olw’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira.
Olutalo bwe lwaggwa, nnaddayo e Italy ne nneegatta ku kibiina ekyali mu Como. Nnali sirina nteekateeka ya nkalakkalira ey’okuyigirizibwa Bayibuli, naye enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako nnali nzitegeera bulungi. Maria Pizzato naye yali mu kibiina ekyo. Yambuulira ku bukulu bw’okubatizibwa era n’ansaba ŋŋende ndabe Marcello Martinelli, eyali abeera mu Castione Andevenno, mu saza ly’e Sondrio. Marcello yali omu ku b’oluganda abaafukibwako amafuta era nga yali yasibibwako okumala emyaka 11 mu biseera by’obufuzi bwa bannaakyemalira. Nnalina okusotta akagaali mayiro 50 okutuuka gye yali abeera.
Marcello yakozesa Bayibuli n’andaga ebisaanyizo by’okubatizibwa, oluvannyuma ne tusaba era ne tugenda ku mugga Adda, ne mbatizibwa. Ekyo kyaliwo mu Ssebutemba 1946. Olunaku olwo sigenda kulwerabira! Nnali musanyufu nnyo okuba nti nnali nsazeewo okuweereza Yakuwa n’okuba nti nnali nfunye essuubi erya nnamaddala ery’ebiseera eby’omu maaso ne kiba nti obudde we bwazibira ssaakirowoozanako nti nnali nvuze eggaali mayiro 100 kiramba!
Mu Maayi 1947, twafuna olukuŋŋaana olunene olwasooka oluvannyuma lw’olutalo mu Milan, Italy. Abantu nga 700 be baaliwo, nga bangi ku bo baali bayigganyiziddwako mu bufuzi bwa bannakyemalira. Waliwo ekintu ekitali kya bulijjo ekyaliwo ku lukuŋŋaana olwo. Giuseppe Tubini, gwe nnali nnabuulirako mu nkambi, ye yawa emboozi ey’okubatizibwa—kyokka oluvannyuma naye n’abatizibwa!
Ku lukuŋŋaana olwo, nnafuna omukisa okusisinkana Ow’oluganda Nathan Knorr, eyali avudde mu maka ga Beseri e Brooklyn. Yatukubiriza, nze ne Giuseppe, okukozesa obulamu bwaffe bwonna okuweereza Katonda. Nnasalawo nti mu mwezi gumu gwokka nnandibadde mmaze okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Bwe nnatuuka eka, nnabuulirako ab’eka ku ekyo kye nnali nsazeewo okukola, naye ekyo tekyabasanyusa. Wadde kyali kityo, nnali mmaliridde okukolera ku ekyo kye nnali nsazeewo. Bwe kityo oluvannyuma lw’omwezi gumu, nnatandika okuweereza ku Beseri mu Milan. Abaminsani bana nabo baali baweereza ku Beseri: Giuseppe (Joseph) Romano ne mukyala we, Angelina; Carlo Benanti ne mukyala we, Costanza. Omulala eyaliyo ow’okutaano yali Giuseppe Tubini, eyali yakagendayo, era nze nnali ow’omukaaga.
Bwe nnali nnaakamala omwezi gumu ku Beseri, nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu—omulabirizi w’ekitundu enzaalwa ya Italy eyasooka. Ow’oluganda George Fredianelli, omuminsani eyasooka okujja e Italy okuva mu Amerika 1946, yali yatandika dda okuweereza ng’omulabirizi atambula. Yantendeka okumala wiiki ntonotono, oluvannyuma ne ntandika okugendanga nzekka. Faenza, kye kibiina kye nnasooka okukyalira. Kirowoozeeko! Nnali siwangako mboozi mu kibiina! Wadde kyali kityo, nnafuba okukubiriza abo bonna abaaliwo, nga mw’otwalidde n’abaana bangi, okulowooza ku ky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Oluvannyuma lw’emyaka, abamu ku baana abo baaweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu bibiina mu Italy.
Okuweereza ng’omulabirizi atambula kwali kunyumira nnyo. Mwalimu ebintu ebyewuunyisa, enkyukakyuka nnyingi ze nnalina okukola, okusoomoozebwa okutali kumu, ebintu ebyandeeteranga essanyu, era ne baganda bange bangi ne bannyinaze baandaganga okwagala.
Eddiini mu Italy Oluvannyuma lw’Olutalo
Ka mbabuulire ku mbeera amadiini gye gaalimu oluvannyuma lw’olutalo. Eddiini y’Obukatoliki ye yali esingayo okuba ey’amaanyi mu Italy. Wadde nga ssemateeka omuggya yateekebwawo mu 1948, amateeka agaali gakugira Abajulirwa ba Yakuwa okubuulira kyere tegaggibwawo okutuusiza ddala mu 1956. Abakulembeze b’eddiini baatabulatabulanga enkuŋŋaana zaffe ennene naye ebiseera ebimu baalemererwanga. Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu 1948 ku lukuŋŋaana olumu olwali e Sulmona, akabuga akatono akali mu masekkati ga Italy.
Olukuŋŋaana olwo lwali mu kizimbe ekimu omuzannyirwa emizannyo. Ku Ssande ku makya, nze nnali ssentebe, era Giuseppe Romano ye yawa emboozi ya bonna. Abantu abaaliwo baali bangi ddala. Wadde ng’ababuulizi mu ggwanga lyonna mu kiseera ekyo baali tebawera na 500, abantu abaaliwo ku lukuŋŋaana baalinga 2,000. Oluvannyuma lw’emboozi ya bonna, omuvubuka omu eyali asindikiddwa abasaseredooti babiri abaali batudde mu bantu, yajja ku siteegi. Ng’alina ekigendererwa eky’okutabulatabula olukuŋŋaana, yatandika okuleekaanira waggulu. Amangu ago nnamugamba nti, “Bw’oba olina by’oyagala okwogera, genda opangise ekizimbe kyo obyogerere eyo.” Ekyo omuvubuka oyo kye yakola tekyasanyusa bantu era baamulemesa okubaako ekintu kyonna ky’ayogera. Bw’atyo omuvubuka yava ku siteegi ne yeemulula n’abulawo.
Entambula mu kiseera ekyo yali nzibu. Ebiseera ebimu nnatambuzanga bigere okuva mu kibiina ekimu okugenda mu kirala, oluusi nnasottanga akagaali, nnalinyanga bbaasi ezaabanga zitisse ennyo, oba nnalinyanga eggaali y’omukka. Ebiseera ebimu nnasulanga mu biyumba bya mbalaasi oba mu sitoowa. Okuva bwe kiri nti olutalo lwali lwakaggwa, abantu abasinga obungi mu Italy baali baavu. Ab’oluganda baali batono, ate nga baavu nnyo. Wadde kyali kityo, okuweereza Yakuwa kyandeeteranga essanyu.
Ntendekebwa mu Ssomero lya Gireyaadi
Mu 1950, nze ne Giuseppe Tubini twayitibwa mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 16. Okuviira ddala ku ntandikwa, nnakiraba nti tekyandimbeeredde kyangu kuyiga Lungereza. Nnakola kyonna ekisoboka okuluyiga, naye tekyali kyangu. Twali tulina okusoma Bayibuli yonna mu Lungereza. Oluusi nneefiirizanga n’eky’emisana okusobola okwegezaamu okusoma. Kya ddaaki ekiseera kyatuuka nga nze nnina okuwa emboozi. Siyinza kwerabira bigambo ow’oluganda eyali akubiriza essomero bye yaŋŋamba. Yaŋŋamba nti, “Okozesezza bulungi ebitundu byo eby’omubiri, naye bambi Olungereza lwo terutegeerekeka!” Wadde ng’Olungereza lwali luntawanya nnyo, nnasobola okumalako emisomo gyange. Oluvannyuma, nze ne Giuseppe twasindikibwa okuddayo e Italy. Okutendekebwa okwo kwatusobozesa okuweereza obulungi baganda baffe.
Mu 1955, nnawasa Lidia, era nze nnali nnawa emboozi ey’okubatizibwa bwe yali abatizibwa emyaka musanvu emabega. Taata we, Domenico, yali wa luganda mulungi nnyo eyasobola okuyamba abaana be bonna omusanvu okuyiga amazima wadde nga yayigganyizibwa nnyo mu bufuzi bwa bannakyemalira era n’awaŋŋangusibwa okumala emyaka essatu. Lidia naye yali ayagala nnyo amazima era yagalwaniriranga. Yali yatwalibwako mu kkooti emirundi essatu olw’okubuulira mu kiseera eddembe lyaffe ery’okubuulira nnyumba ku nnyumba we lyali nga lituggiddwako. Oluvannyuma lw’okumala emyaka mukaaga mu bufumbo bwaffe, twazaala mutabani waffe eyasooka, Beniamino. Mu 1972 twazaalayo omwana omulala ow’obulenzi, Marco. Ndi musanyufu nti abaana bange bombi awamu n’ab’omu maka gaabwe bakyaweereza Yakuwa n’obunyiikivu.
Nneeyongera Okuweereza Yakuwa n’Obunyiikivu
Mu kiseera kyonna kye mazze mu buweereza bwange, nfunye ebintu bingi ebindeetedde essanyu. Ng’ekyokulabirako, ng’emyaka gya 1980 gyakatandika, ssezaala wange yawandiikira pulezidenti wa Italy, Sandro Pertini, ebbaluwa. Mu kiseera ky’obufuzi bwa bannakyemalira, bombi baatwalibwako mu buwaŋŋanguse ku kizinga ky’e Ventotene, gye baasibiranga abantu abaatwalibwanga okuba abalabe ba gavumenti. Ssezaala wange yasaba okusisinkana pulezidenti ng’alina ekigendererwa eky’okumuwa obujulirwa. Okusaba kwe bwe kwakkirizibwa, nnagenda naye era pulezidenti n’atwaniriza n’essanyu—ekintu ekitaali kya bulijjo. Pulezidenti yasanyuka nnyo okulaba ssezaala wange n’amugwa ne mu kifuba. Oluvannyuma twamubuulira ku nzikiriza yaffe era ne tumulekera n’ebitabo eby’okusoma.
Mu 1991, oluvannyuma lw’emyaka 44 nga mpeereza ng’omulabirizi atambula, nnalekera awo okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Mu kiseera ekyo nnali ntuuse mu buli kanyomero ka Italy. Mu myaka ena egyaddirira, nnaweebwa obuvunaanyizibwa okuddukanya Ekizimbe ky’Enkuŋŋaana Ennene naye obulwadde bwange bwe bweyongera nnasalawo okukendeeza ku buvunaanyizibwa bwe nnalina. Naye nneebaza nnyo Yakuwa okuba nti ansobozesezza okusigala mu buweereza obw’ekiseera kyonna n’okutuusa leero. Nfuba okukola kyonna kye nsobola okubuulira amawulire amalungi, era nninayo n’abantu be njigiriza Bayibuli. Ab’oluganda batera okuŋŋamba nti nkyalina “ebbugumu” lye nnalina edda bwe mba mpa emboozi. Nneebaza nnyo Yakuwa okuba nti okukaddiwa tekunnemesezza kumuweereza na bunyiikivu.
Bwe nnali nkyali muvubuka, nnali ntya nnyo okufa, naye okuyiga amazima agali mu Bayibuli kinnyambye okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo—Yesu bwe yayita ‘obulamu obujjuvu.’ (Yok. 10:10) Obwo bwe bulamu bwe nneesunga—obujja okubaamu emirembe, obutebenkevu, essanyu, n’emikisa mingi okuva eri Yakuwa. Ka ettendo n’ekitiibwa bidde eri Omutonzi waffe ow’okwagala, atuwadde enkizo okulangirira erinnya lye.—Zab. 83:18.
[Mmaapu eri ku lupapula 22, 23]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
SWITZERLAND
BERN
Zurich
Arbon
Steinach
ITALY
ROOMA
Como
Milan
Omugga Adda
Castione Andevenno
Faenza
Sulmona
Ventotene
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Nga tugenda mu Gireyaadi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Nga ndi ne Giuseppe mu ssomero lya Gireyaadi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Ku lunaku lw’embaga yaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Mukyala wange ampagidde nnyo okumala emyaka egisukka mu 55