Ebirimu
Jjuuni 15, 2011
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Agusito 1-7, 2011
Waliwo Amawulire Amalungi Abantu Bonna Ge Beetaaga Okuwulira
OLUPAPULA 7
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 47, 101
Agusito 8-14, 2011
OLUPAPULA 11
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 18, 91
Agusito 15-21, 2011
“Mulundenga Ekisibo kya Katonda Ekyabakwasibwa”
OLUPAPULA 20
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 42, 84
Agusito 22-28, 2011
‘Musse Ekitiibwa mu Abo Abakola Ennyo mu Mmwe’
OLUPAPULA 24
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 123, 53
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 1, 2 OLUPAPULA 7-15▴
Mu kitabo ky’Abaruumi, omutume Pawulo yayogera ku kintu ekiri mu ‘mawulire amalungi’ ekikulu ennyo eri abantu aboonoonyi. Kintu ki ekyo, era kiyinza kukuganyula kitya? Ebitundu bino ebibiri bijja kukuyamba okwongera okutegeera n’okusiima ssaddaaka ya Yesu n’okwagala Katonda kwe yayoleka okuyitira mu ssaddaaka eyo.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 3, 4 OLUPAPULA 20-28
Ebitundu bino biraga engeri abakadde gye bayinza okwongera okusiima enkizo gye balina ey’okulunda ekisibo. Era biraga engeri abo abali mu kibiina gye bayinza okulaga nti bassa ekitiibwa mu bakadde.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Abavubuka Basaanidde Okubatizibwa?
16 Ddala Ibulayimu Yalina Eŋŋamira?
18 ‘Ndeetera Emizingo Naddala egy’Amaliba’
29 Oyinza otya ‘Okutuuka ku Buwanguzi’?