Ndabye Amaanyi Agali mu Mazima ga Baibuli
Byayogerwa Vito Fraese
WANDIBA nga towulirangako ku Trentinara. Kano kabuga akali mu bukiika ddyo bw’ekibuga Naples, ekya Italy. Bazadde bange ne muganda wange omukulu, Angelo, baazaalibwa eyo. Oluvannyuma lw’okuzaala Angelo, bazadde bange baasenguka ne bagenda mu Amerika ne basenga mu Rochester, New York, gye baanzaalira mu 1926. Taata yali yasisinkanako Abayizi ba Baibuli, ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali bayitibwa mu kiseera ekyo, mu 1922. Waayita akaseera katono ye ne Maama ne bafuuka Abayizi ba Baibuli.
Taata yali musajja mukkakkamu, ng’afumiitiriza nnyo ku bintu, naye nga tayagala butali bwenkanya. Yayisibwanga bubi okulaba abakulembeze b’amadiini nga bakuumira abantu mu butamanya, bw’atyo yafubanga okubuulira abalala amazima ga Baibuli. Oluvannyuma lw’okuwummula ku mulimu, yayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna bwe yalimu okutuusa, ku myaka 74, obulwadde n’obutiti obw’amaanyi lwe byamulemesa okweyongera mu maaso. Ne mu mbeera eyo, yasobola okubuuliranga essaawa eziri wakati wa 40 ne 60 buli mwezi okutuusa ng’ali mu myaka 90. Ekyokulabirako kya Taata kyankwatako nnyo. Wadde nga yateranga okusaaga, yali musajja anywerera ku kituufu. Yateranga okugamba nti, “Amazima galina okutwalibwa ng’ekintu ekikulu ennyo.”
Taata ne Maama baafuba nnyo okutuyigiriza, ffenna abaana baabwe abataano, Ekigambo kya Katonda. Nze nnabatizibwa nga Agusito 23, 1943, era ne nfuuka payoniya mu Jjuuni 1944. Mwannyinaze Carmela yali aweereza nga payoniya mu Geneva, New York, awamu ne munne Fern. Tekyantwalira bbanga ddene kukiraba nti Fern ye muwala gwe nnali njagala okubeera naye obulamu bwange bwonna. Era bwe kityo twafumbiriganwa mu Agusito 1946.
Okuweereza ng’Abaminsani
Twasooka kuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Geneva ne Norwich, New York. Mu Agusito 1948, twafuna enkizo okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 12. Oluvannyuma twasindikibwa okuweereza mu Naples, Italy, wamu ne Carl Ridgeway ne mukyala we Joanne. Mu kiseera ekyo, ekibuga Naples kyali kyakava mu lutalo olwakikosa ennyo. Kyatuzibuwalira okufuna ennyumba, bwe kityo okumala emyezi mitonotono, twasulanga mu kayumba ka bisenge bibiri.
Bazadde bange baayogeranga olulimi Oluyitale, n’olwekyo wadde nga nnali sirutereeza bulungi, abantu baategeeranga ebyo bye nnayogeranga. Naye Fern tekyamwanguyira kuyiga lulimi olwo. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera yali alukuba budinda ng’ansinga n’okunsinga.
Abantu abaasooka okwagala okuyiga amazima mu Naples, baali abantu bana nga bonna ba mu maka gamu. Baali batunda sigala mu nkukutu. Buli lunaku, waliwo omuwala omu mu maka gano ayitibwa Teresa, eyakyukanga mu ngeri eyeewuunyisa. Buli ku makya, yalabikanga ng’omunene olw’okuba yabanga apakidde pakiti za sigala mu nsawo za sikaati ye. Naye bwe bwatuukiranga akawungeezi, nga yenna atoniye ng’alinga oluti. Amazima gaakyusiza ddala abantu b’omu maka gano. Oluvannyuma lw’ekiseera, abantu 16 okuva mu maka gano baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Kati mu kibuga Naples, mulimu Abajulirwa nga 3,700.
Omulimu Gwaffe Guziyizibwa
Bwe twali twakamala emyezi mwenda gyokka mu Naples, ab’obuyinza baatuwaliriza ffenna abana okuva mu kibuga ekyo. Twagenda e Switzerland ne tumalayo omwezi nga gumu, oluvannyuma ne tukomawo e Italy ng’abalambuzi. Nze ne Fern twasindikibwa okuweereza e Turin. Mu kusooka, twapangisa omuzigo ku mukyala omu, era twalina okukozesa ekiyigo kye n’efumbiro lye. Naye Ridgeway ne mukyala we bwe bajja e Turin, twapangisa wamu nabo ennyumba ennene. Oluvannyuma lw’ekiseera, twawera emigogo egy’abaminsani etaano abaali basula mu nnyumba eyo.
Mu 1955, ab’obuyinza we baatugobera mu Turin, ebibiina bina byali bimaze okutandikibwawo. Mu kiseera ekyo, waaliwo ab’oluganda abaali basobola okulabirira obulungi ebibiina ebyo. Ab’obuyinza baatugamba nti, “Tuli bakakafu nti mwe Abamerika bwe munaamala okugenda, ebintu byonna bye mukoze bijja kufaafaagana.” Naye okweyongerayongera okwaliwo oluvannyuma, kwalaga nti omulimu gwe tukola gwa Katonda. Leero, mu Turin waliyo Abajulirwa abasukka mu 4,600 n’ebibiina 56.
Florence—Ekibuga Ekirungi
Bwe twagobebwa e Turin, twasindikibwa okuweereza e Florence. Twateranga okuwulira ku kibuga kino, okuva bwe kiri nti mwannyinaze Carmela ne bba, Merlin Hartzler baali eyo nga baweereza ng’abaminsani. Ebifo nga Piazza della Signoria, Ponte Vecchio, Piazzale Michelangelo, Palazzo Pitti, byafuula ekibuga ekyo ekifo ekirungi! Kyatusanyusa nnyo okulaba ng’abantu abamu mu kibuga Florence bakkiriza amawulire amalungi.
Waliwo ab’omu maka agamu be twasoma nabo Baibuli, era omwami ne mukyala we ne babatizibwa. Kyokka omwami yali munywi wa sigala. Mu 1973, Watchtower yalaga nti okunywa sigala kikyamu era n’ekubiriza abasomi baayo okulekera awo okumunywa. Abaana be abakulu baamwegayirira alekere awo okunywa sigala. Yasuubiza okulekera awo, naye teyakikola. Lumu akawungeezi mukyala we yagamba abaana baabwe abalongo ab’emyaka omwenda okugenda okwebaka nga tasoose kusaba nabo. Oluvannyuma yawulira bubi era n’agenda mu kisenge kyabwe. Yasanga bamaze okwesabira. Yababuuza nti, “Musabye ki?” Tusabye nti, “Yakuwa, yamba taata alekere awo okunywa sigala.” Omukyala yagamba omwami we nti, “Jjangu owulire abaana bo kye basabye.” Oluvannyuma lw’omwami okukiwulira, yatulika n’akaaba amaziga n’agamba nti, “Sikyaddamu kukomba ku sigala!” Yakolera ku kye yagamba, era kati abantu abasukka mu 15 mu maka ago Bajulirwa ba Yakuwa.
Okuweereza mu Afirika
Mu 1959, twasindikibwa awamu n’abaminsani abalala, Arturo Leveris ne muganda wange Angelo, okuweereza mu kibuga Mogadishu ekya Somalia. We twatuukirayo, embeera y’eby’obufuzi teyali nnungi. Gavumenti ya Italy yalina okuwa Somalia obwetwaze okusinziira ku kiragiro ky’ekibiina ky’Amawanga Amagatte, naye embeera yali yeeyongera kwonooneka. Abayitale abamu be twasoma nabo Baibuli baava mu nsi eyo, era tekyali kyangu kutandikayo kibiina.
Mu kiseera ekyo, omulabirizi wa zooni yansaba okukola ng’omuyambi we. Bwe kityo twatandika okukyalira ensi eziriranyeewo. Abamu ku bantu be twasoma nabo Baibuli baakulaakulana, naye baalina okuva mu nsi zaabwe olw’okuyigganyizibwa. Abalala baasigala mu nsi zaabwe naye nga baalina okugumira okuyigganyizibwa.a Buli lwe tulowooza ku kwagala ab’oluganda abo kwe baalina eri Yakuwa n’ebigezo bye baagumira okusobola okusigala nga beesigwa kituleetera okuyunguka amaziga.
Somalia ne Eritrea ebiseera ebisinga zaabangamu ebbugumu lingi nnyo. Emmere emu gye baatugabulanga yabangamu kaamulali mungi. Ku mulundi gwe twasooka okulya ekijjulo eky’engeri eyo nga tuli ew’omuyizi waffe owa Baibuli, mu ngeri ey’olusaago mukyala wange yagamba nti emmere eno ereetedde amatu gange okwaka ng’ebitaala ebimyufu!
Angelo ne Arturo bwe baasindikibwa okugenda okuweereza awalala, twasigala ffekka. Tekyali kyangu kusigala ffekka nga tewali muntu atuzzaamu maanyi. Kyokka embeera eyo yatuyamba okwongera okusemberera Yakuwa n’okumwesiga. Okukyalira ensi omulimu gwaffe gye gwali guwereddwa kyatuzzangamu nnyo amaanyi.
Twayolekagana n’ebizibu bingi nga tuli mu Somalia. Tetwalina firiiji, bwe kityo eby’okulya twagulanga bya lunaku, ka bibe byennyanja oba bibala, gamba ng’emiyembe, amapaapaali, ebinazi, oba amenvu. Walingawo obuwuka obwatumalangako emirembe. Oluusi bwatugwangako nga tusomesa abayizi baffe aba Baibuli. Ekirungi kiri nti twalina ka pikipiki, n’olwekyo tetwatambulanga ŋŋendo mpanvu mu kasana akeememula.
Tuddayo e Italy
Twebaza nnyo mikwano gyaffe abaatuyamba okufuna eryato eryatwalanga amatooke ne litutwala e Italy ku lukuŋŋaana olw’ensi yonna olwali e Turin mu 1961. Nga tuli eyo, twategeezebwa nti twali tugenda kukyusibwa. Mu Ssebutemba 1962, twaddayo e Italy, ne ntandika okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Twagulayo akamotoka, ke twakozesa okumala emyaka etaano nga tukyalira ebibiina ebiri mu kitundu kyaffe.
Oluvannyuma lw’okuva mu bbugumu eryali ku lukalu lwa Afirika, kati twalina okudda mu bunnyogovu. Mu kiseera ky’obutiti ekyasooka, bwe twali tukyalidde ekibiina ekiri okumpi n’Olusozi Alps, twasula mu kisenge omwali obunyoggovu obw’amaanyi. Kyali kinnyogovu nnyo ne kiba nti twasula mu bikooti byaffe. Ekiro ekyo, enkoko nnya ne mbwa biri ku muliraano byafa olw’obunnyogovu!
Oluvannyuma, nnaweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti. Mu kiseera ekyo, twatambulanga mu bitundu bya Italy byonna. Emirundi mingi, twagendanga mu bitundu nga Calabria ne Sicily. Twakubirizanga abavubuka okukulaakulana basobole okuweereza ng’abakadde mu bibiina, abalabirizi abatambula, oba Ababeseri.
Tulina bingi bye tuyigidde ku mikwano gyaffe abeesigwa abaweerezza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Tukwatiddwako nnyo engeri zaabwe ennungi, gamba ng’obwesigwa bwabwe eri Yakuwa, omwoyo omugabi, okwagala kwe balina eri ab’oluganda, n’omwoyo gw’okwefiiriza. Tufunye omukisa okulaba abagole nga bagattibwa mu Bizimbe by’Obwakabaka ng’ab’oluganda abaaweebwa gavumenti obuyinza be babagatta, ekintu ekyali kitasuubirwa kubaawo mu nsi eyo. Enkuŋŋaana tezikyabeera mu mafumbiro ga ba luganda era kati ab’oluganda tebakyatuula ku bibaawo, nga bwe kyali e Turin. Ebibiina bingi kati birina Ebizimbe by’Obwakabaka ebirabika obulungi ebiweesa Yakuwa ekitiibwa. Enkuŋŋaana ennene kati ziba mu Bizimbe by’Enkuŋŋaana Ennene ebirabika obulungi ennyo. Era kya ssanyu nnyo okulaba nga kati ababuulizi basukka mu 243,000. We twatuukira e Italy, ababuulizi baali 490 bokka.
Twasalawo Bulungi
Tufunye ebizibu bingi, omuli ekiwuubaalo olw’okubeera ewala n’ab’eŋŋanda zaffe n’obulwadde. Fern yateranga okufuna ekiwuubaalo buli lwe yatunulanga ku nnyanja. Era yaakalongoosebwa emirundi esatu miramba. Lumu, bwe yali agenda ew’omuyizi we owa Baibuli, omuntu eyali tayagala Bajulirwa yamufumita oluuma. Era n’ekyo kyamutuusa mu ddwaliro.
Wadde ng’emirundi egimu tufunye ebintu ebitumalamu amaanyi, ng’Okukungubaga 3:24 bwe walaga, ‘essuubi lyaffe libaddenga mu Yakuwa.’ Ye Katonda ow’okubudaabuda. Lumu bwe twali nga tuweddemu amaanyi, Fern yafuna ebbaluwa okuva eri Ow’oluganda Nathan Knorr. Yagamba nti—okuva bwe kiri nti yazaalibwa kumpi ne Besirekemu, Pennsylvania, Fern gye yatandikira okuweereza nga payoniya—yali amaanyi bulungi nti abakyala nga Fern abasibuka ebuvanjuba wa Pennsylvania baba ba maanyi era nga bakozi nnyo. Yali mutuufu. Ekiseera kye tumaze nga tuweereza, ab’oluganda bangi batuzizzaamu amaanyi mu ngeri ezitali zimu.
Wadde nga tufunye ebizibu, tufubye okusigala nga tuli banyiikivu mu buweereza bwaffe. Ng’ageraageranya obunyiikivu ku mwenge ogw’omu Italy oguyitibwa Lambrusco ogutemagana, Fern mu ngeri ey’olusaago agamba nti, “Tetusaanidde kukkiriza bunyiikivu bwaffe kulekera awo kutemagana.” Oluvannyuma lw’emyaka egisukka mu 40 nga tuli mu mulimu gw’okukyalira ebibiina, twafuna enkizo endala okukyalira era n’okutandikawo ebibiina ebitayogera Luyitale. Ebibiina ng’ebyo bibuulira abantu abava mu Bangladesh, China, Eritrea, Ethiopia, Ghana, India, Nigeria, Philippines, Sri Lanka, n’ensi endala. Tetusobola kunnyonnyola mu bujjuvu ekyo kye tulabyeko n’agaffe ng’amaanyi agali mu Kigambo kya Katonda gakyusa obulamu bw’abo abalozezza ku kisa kya Yakuwa.—Mi. 7:18, 19.
Tusaba Yakuwa bulijjo yeeyongere okutuwa amaanyi ageetaagisa okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe. Essanyu lya Mukama ge maanyi gaffe. Essanyu lye tufunye litulaze nti tetwakola nsobi kusalawo kubunyisa mazima ga Baibuli.—Bef. 3:7; Bak. 1:29.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba akatabo 1992 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, olupapula 95-184.
[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27-29]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Bazadde bange mu Rochester, NY
1948
Nga ndi e South Lansing mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 12
1949
Nze ne Fern nga tetunnagenda Italy
Capri, Italy
1952
Nga tuli e Turin ne Naples wamu n’abaminsani abalala
1963
Fern ng’ali wamu n’abamu ku bayizi be aba Baibuli
“Tetusaanidde kukkiriza bunyiikivu bwaffe kulekera awo kutemagana”