Ebirimu
Ddesemba 15, 2010
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Jjanwali 31, 2011–Febwali 6, 2011
Nyiikirira Okusinza okw’Amazima
OLUPAPULA 7 ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 101, 97
Febwali 7-13, 2011
“Kaakano Kye Kiseera eky’Okukkiririzibwamu”
OLUPAPULA 11 ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 96, 98
Febwali 14-20, 2011
Funa Emikisa Okuyitira mu Kabaka Akulemberwa Omwoyo gwa Katonda!
LUPAPULA 16 ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 99, 109
Febwali 21-27, 2011
OLUPAPULA 20 ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 75, 116
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 1, 2 OLUPAPULA 7-15
Mu bitundu bino, tujja kulaba engeri Yesu gye yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kulaga obunyiikivu. Naye lwaki kyetaagisa nnyo okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe leero? Lwaki kino kye kiseera eky’okukkiririzibwamu?
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3 OLUPAPULA 16-20
Tuli mu kiseera ng’obufuzi bw’abantu bulemereddwa okutuuka ku buwanguzi. Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki Yakuwa yalonda Yesu Kristo okufuga abantu era n’emikisa emingi gye tunaafuna bwe tunaagondera Kristo.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4 OLUPAPULA 20-24
Okusinziira ku Byawandiikibwa, lwaki ennyimba zirina ekifo kikulu nnyo mu kusinza kwaffe? Ekitundu kino kijja kutuwa eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo era kituyambe okulaba buli omu ku ffe ky’ayinza okukola okulaga nti ennyimba azitwala ng’ekintu ekikulu.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
Kiki Omwana Wo ky’Anaayogera? 3
Si Bakadde Nnyo Kuweereza Katonda 25
Ndabye Amaanyi Agali mu Mazima ga Baibuli 26
Olukalala lw’Emitwe Egibadde mu Omunaala Gw’Omukuumi mu 2010 32