LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w10 10/15 lup. 12-15
  • Ensonga Ze Twekwasa Yakuwa Azitwala Atya?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ensonga Ze Twekwasa Yakuwa Azitwala Atya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Ekyo Katonda ky’Atusuubira Okukola
  • Ensonga Katonda z’Atakkiriza
  • Bwe Tuba nga Kye Tusobola Okukola Kitono
  • Lwaki Okuweereza Yakuwa Kituleetera Essanyu?
  • Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Ekiruubirirwa Ekirungi mu Mwaka gw’Obuweereza Omupya
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Gezaako Okutunuulira Abalala nga Yakuwa bw’Abatunuulira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Yayiga Okuba Omusaasizi
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 10/15 lup. 12-15

Ensonga Ze Twekwasa Yakuwa Azitwala Atya?

OMUSAJJA yagamba nti: “Omukazi, gwe wampa okubeera nange, ye ampadde ku muti, ne ndya.” N’omukazi yagamba nti: “Omusota gunsenzesenze, ne ndya.” Ebigambo ebyo bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, bye baagamba Katonda, ye yali entandikwa y’abantu okwekwasa obusongasonga.​—Lub. 3:12, 13.

Yakuwa okusalira Adamu ne Kaawa omusango kyalaga nti ensonga ze baawa olw’okumujeemera teyazikkiriza. (Lub. 3:16-19) Ekyo kitegeeza nti ensonga zonna ze tuwa Yakuwa tazikkiriza? Oba waliwo z’akkiriza? Kati olwo tuyinza tutya okutegeera ensonga z’akkiriza n’ezo z’atakkiriza? Okusobola okufuna eky’okuddamu, ka tusooke twetegereze ebintu ebireetera abantu okuwa ensonga.

Abantu bawa ensonga nga waliwo ekintu kye bakoze, kye batakoze, oba kye batagenda kukola. Oluusi omuntu ayinza okuwa ensonga nga mu butuufu tasobodde busobozi kukola kintu, era nga bw’atyo yeetaaga okusonyiyibwa. Kyokka, nga bwe kyali ku Adamu ne Kaawa, oluusi omuntu asobola okuwa ensonga etaliimu ggumba ng’agezaako okubikkirira ekyo ky’aba akoze. Olw’okuba ensonga ezisinga obungi tezibaamu ggumba, ensonga eziweebwa zisaanidde okwekenneenyezebwa.

Bwe tubaako ensonga ze tuwa​—naddala ezo ezirina akakwate n’obuweereza bwaffe eri Katonda​—tusaanidde okwegendereza tuleme ‘kwerimbalimba na ndowooza nkyamu.’ (Yak. 1:22) Kati ka tulabeyo ebyokulabirako awamu n’emisingi okuva mu Baibuli ebinaatuyamba “okumanya ekyo ekikkirizibwa Mukama waffe.”​—Bef. 5:10.

Ekyo Katonda ky’Atusuubira Okukola

Ekigambo kya Katonda kirimu ebiragiro abaweereza ba Yakuwa bye tulina okukwata. Ng’ekyokulabirako, ekiragiro Kristo kye yawa ng’agamba nti “mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa” kikwata ne ku bagoberezi be bonna ab’amazima leero. (Mat. 28:19, 20) Mu butuufu okugondera ekiragiro ekyo kikulu nnyo ne kiba nti omutume Pawulo yatuuka n’okugamba nti: “Zinsanze bwe sirangirira mawulire malungi!”​—1 Kol. 9:16.

Kyokka abamu ku abo abamaze ebbanga nga bayiga naffe Baibuli batya okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Mat. 24:14) Ate abalala abaali beenyigira mu mulimu guno ogw’okubuulira kati baalekera awo. Nsonga ki abamu ku abo abateenyigira mu mulimu gw’okubuulira ze bawa? Yakuwa yakwatanga atya abantu abamu abaagaananga okukolera ku biragiro bye mu biseera by’edda?

Ensonga Katonda z’Atakkiriza

“Mulimu muzibu nnyo.” Omulimu gw’okubuulira guyinza okulabika ng’omuzibu ennyo naddala eri abo abalina ensonyi. Naye, lowooza ku ekyo kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yona. Yaweebwa omulimu ye gwe yalaba ng’omuzibu ennyo okukola​—Yakuwa yamugamba okulangirira omusango gwe yali asalidde ekibuga Nineeve. Kyangu okulaba ensonga lwaki Yona yakisanga nga kizibu okukola omulimu ogwo. Nineeve kye kyali ekibuga ekikulu ekya Bwasuli, era Abasuuli bali bamanyiddwa ng’abantu abakambwe ennyo. Yona ayinza okuba nga yeebuuza: ‘Abantu bano banampuliriza?’ ‘Banampisa batya?’ Bw’atyo yadduka n’agenda mu kifo ekirala. Kyokka ekyo Yona kye yasalawo okukola, Yakuwa teyakikkiriza. Mu kifo ky’ekyo Yakuwa yaddamu okumutuma okugenda okubuulira abantu b’e Nineeve. Ku mulundi guno, Yona yali mumalirivu okukola omulimu gwe, era Yakuwa yawa omukisa okufuba kwe.​—Yon. 1:1-3; 3:3, 4, 10.

Bw’oba ng’olowooza nti omulimu gw’okubuulira muzibu nnyo, osaanidde okukijjukira nti “eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” (Mak. 10:27) Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba okuba omuvumu bw’onoomusaba era nti ajja kukuwa emikisa bw’onoofuba okutuukiriza obuweereza bwo.​—Luk. 11:9-13.

“Saagala kugukola.” Kiki ky’oyinza okukola singa owulira nti toyagala kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira? Kijjukire nti Yakuwa asobola okukolera mu ggwe n’akuleetera okwagala okugukola. Pawulo yagamba nti: “Katonda y’akolera mu mmwe olw’ekyo ekimusanyusa, abaagazise okukola era mukole.” (Baf. 2:13) N’olwekyo, osobola okusaba Yakuwa akuyambe okukola by’ayagala. Ekyo kye nnyini Kabaka Dawudi kye yakola. Yeegayirira Yakuwa ng’agamba nti: ‘Onnuŋŋamye mu mazima go.’ (Zab. 25:4, 5) Naawe osobola okwegayirira Yakuwa akuyambe okwagala okukola ebimusanyusa.

Kyo kituufu nti bwe tuba tukooye oba nga tuweddemu amaanyi, oluusi kiyinza okutwetaagisa okwewaliriza okugenda mu nkuŋŋaana oba mu buweereza bw’ennimiro. Ekyo bwe kibaawo, olwo kiba kitegeeza nti tetwagala Yakuwa? Nedda. Abaweereza ba Katonda ab’omu biseera eby’edda nabo oluusi kyali kibeetaagisa okufuba okusobola okukola Katonda by’ayagala. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yeeyogerako ‘ng’eyakuba omubiri gwe,’ asobole okugondera ebiragiro bya Katonda. (1 Kol. 9:26, 27) N’olwekyo, ne bwe kiba nti oluusi tuba tulina okwewaliriza okugenda mu buweereza bw’ennimiro, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa gye. Lwaki? Kubanga twewaliriza okukola Katonda by’ayagala nga tulina ekigendererwa ekirungi​—okwagala kwe tulina eri Yakuwa. Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti Sitaani yali mulimba okugamba nti abaweereza ba Katonda bandimwegaanye bwe bandifunye ebizibu.​—Yob. 2:4.

“Nnina eby’okukola bingi.” Bw’oba nga teweenyigira mu mulimu gw’okubuulira ng’olowooza nti olina eby’okukola bingi, kikulu nnyo okwetegereza ebintu by’otwala ng’ebikulu mu bulamu. Yesu yagamba nti: “Musooke munoonyenga obwakabaka.” (Mat. 6:33) Okusobola okukolera ku musingi guno, kiyinza okukwetaagisa okweggyako ebintu ebikumalako ebiseera oba okukendeeza ku budde bw’omala nga weesanyusaamu kikusobozese okufuna ebiseera okubuulira. Kyo kituufu nti weetaaga okwesanyusaamu n’okubaako ebintu ebirala by’okola, naye ebyo tebisaanidde kukuleetera kulagajjalira buweereza bwo. Omuweereza wa Katonda ateekwa okussa Obwakabaka mu kifo ekisooka mu bulamu bwe.

“Sirina bisaanyizo.” Oyinza okulowooza nti tolina bisaanyizo kubuulira mawulire malungi. N’abamu ku baweereza ba Yakuwa mu biseera bya Baibuli baali balowooza nti tebalina bisaanyizo kukola mirimu gye yali abawadde. Lowooza ku kyokulabirako kya Musa. Yakuwa bwe yali amutuma, Musa yagamba nti: “Ai Mukama, nze siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi, newakubadde okuva lw’oyogedde n’omuddu wo: kubanga soogera mangu, n’olulimi lwange luzito.” Wadde nga Yakuwa yamugumya, Musa yagenda mu maaso ng’agamba nti: “Ai Mukama, tuma nno, nkwegayiridde, mu mukono gw’oyo gw’oyagala okutuma.” (Kuv. 4:10-13) Yakuwa yakola ki?

Yakuwa teyaggyako Musa mulimu ogwo, wabula yalonda Alooni okuyamba Musa okukola omulimu ogwo. (Kuv. 4:14-17) Yakuwa yeeyongera okuyamba Musa ng’amuwa byonna bye yali yeetaaga okusobola okutuukiriza omulimu gwe yali amuwadde. Naawe osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukozesa bakkiriza banno abalina obumanyirivu okukuyamba okutuukiriza obuweereza bwo. N’ekisinga obukulu, Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti Yakuwa ajja kutuyamba okufuna ebisaanyizo okusobola okutuukiriza omulimu gwe yatulagira okukola.​—2 Kol. 3:5; laba akasanduuko “Emyaka mwe Nnasinga Okufunira Essanyu mu Bulamu.”

“Waliwo eyanyiiza.” Abamu balekeraawo okubuulira oba okugenda mu nkuŋŋaana olw’okuba waliwo omuntu eyabanyiiza. Mu kukola ekyo baba balowooza nti Yakuwa ajja kukkiriza ensonga yaabwe eyo. Kituufu nti omuntu bw’atuyisa obubi, ekyo kiyinza okutuleetera okunyiiga. Naye eyo eba nsonga ntuufu eyandituleetedde okulekera awo okwenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo? Pawulo ne mukkiriza munne Balunabba bateekwa okuba nga buli omu yanyiigira munne oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya obwavaako “okuwakana okw’amaanyi wakati waabwe.” (Bik. 15:39) Naye kino kyabaleetera okulekera awo okubuulira? Nedda.

Mu ngeri y’emu, mukkiriza munno bw’akunyiiza, osaanidde okukijjukira nti omulabe wo si ye muganda wo oyo atatuukiridde wabula ye Sitaani, ayagala okukulya. Kyokka Omulyolyomi tajja kutuuka ku buwanguzi singa ofuba ‘okumuziyiza ng’oli munywevu mu kukkiriza.’ (1 Peet. 5:8, 9; Bag. 5:15) Bw’oba n’okukkiriza ng’okwo, ‘tojja kuswala.’​—Bar. 9:33.

Bwe Tuba nga Kye Tusobola Okukola Kitono

Ebyo bye tulabye, biraga bulungi nti okusinziira ku Byawandiikibwa tewali nsonga yonna gye tuyinza kwekwasa olw’obutagondera biragiro bya Yakuwa, nga mw’otwalidde n’eky’okubuulira amawulire amalungi. Wadde kiri kityo, oluusi wayinza okubaawo embeera ezitatusobozesa kwenyigira mu buweereza bwaffe nga bwe twandyagadde. Obuvunaanyizibwa obulala bwe tulina okutuukiriza okusinziira ku Byawandiikibwa buyinza okukendeeza ku biseera bye tumala mu mulimu gw’okubuulira. Ate oluusi tuyinza okuba abalwadde ennyo oba abakoowu ennyo ne tutasobola kukola ekyo kye twandyagadde kukola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. Kyokka Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti Yakuwa amanyi ekyo ekiri mu mutima gwaffe n’obusobozi bwaffe.​—Zab. 103:14; 2 Kol. 8:12.

N’olwekyo, tusaanidde okwewala okwesalira omusango oba okugusalira abalala bwe kituuka ku buweereza bwaffe. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ggwe ani asalira omuweereza w’omulala omusango? Mukama we y’asalawo obanga anaayimirira oba anaagwa.” (Bar. 14:4) Mu kifo ky’okwegeraageranya ku balala, tusaanidde okujjukira nti “buli omu ku ffe alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.” (Bar. 14:12; Bag. 6:4, 5) Bwe tutuukirira Yakuwa mu kusaba ne tumutegeeza ensonga lwaki tetukoze ekyo kye tubadde tugwanidde okukola, ffenna twandyagadde okumutuukirira nga tulina “omuntu ow’omunda omuyonjo.”​—Beb. 13:18.

Lwaki Okuweereza Yakuwa Kituleetera Essanyu?

Ffenna tusobola okufuna essanyu nga tuweereza Yakuwa kubanga ebyo by’atwetaagisa​—ka tube mu mbeera ki​—si bizibu era tusobola bulungi okubituukiriza. Lwaki tugamba bwe tutyo?

Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Tommanga birungi abo abagwanira, bwe kiri mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.” (Nge. 3:27) Kiki kye weetegerezza mu kyawandiikibwa ekyo? Yakuwa takulagira kuwaayo kyenkana n’ekyo ekiri mu mukono gwa muganda wo, wabula akugamba okumuweereza n’ekyo ‘ekiri mu buyinza bw’omukono gwo.’ Yee, buli omu ku ffe​—k’abeere n’amaanyi mangi oba matono mu mukono gwe​—asobola okuweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna.​—Luk. 10:27; Bak. 3:23.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

‘Emyaka mwe Nnasinga Okufunira Essanyu mu Bulamu’

Ne bwe tuba nga tuli balwadde nnyo oba nga waliwo ekitumazeemu amaanyi, tetusaanidde kulowooza nti ekyo kijja kutulemesa okwenyigira mu buweereza bwaffe mu bujjuvu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyatuuka ku w’oluganda Ernest, ow’omu Canada.

Ernest yali tasobola kwogera bulungi era ng’alina ensonyi. Oluvannyuma lw’okumenyeka omugongo, yalekera awo okukola omulimu gwe ogw’okuzimba. Embeera eno yamusobozesa okufuna ebiseera ebiwerako okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Ebyo ebyayogerwanga mu nkuŋŋaana ebikwata ku kuweereza nga bapayoniya abawagizi byamukwatako nnyo. Naye ye yali alowooza nti ekyo takisobola.

Okusobola okukakasa obanga ddala ekyo yali takisobola, yasaba okuweerezaako nga payoniya omuwagizi okumala omwezi gumu. Kyamwewuunyisa nnyo okulaba ng’ekyo yasobola okukikola. Muli yagamba nti, ‘Nkimanyi nti sisobola kuddamu kuweereza nga payoniya omuwagizi.’ Kino okusobola okukikakasa, yasabayo omwezi omulala​—ne ku mulundi guno yasobola okukikola.

Ernest yasobola okuweereza nga payoniya omuwagizi okumala omwaka mulamba, naye era n’agamba nti, “Nkimanyi nti sisobola kuweereza nga payoniya owa bulijjo.” Era ne kino okusobola okukikakasa, yasaba okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kyamwewuunyisa nnyo okulaba nga yasobola okumalako omwaka ogusooka ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo. Yasalawo okweyongera okuweereza nga payoniya owa bulijjo era ekyo yasobola okukikola okumala emyaka ebiri okutuusa lwe yafa. Kyokka nga tannafa, emirundi mingi ng’akulukusa ne ku maziga, yagambanga abagenyi abaagendanga okumulaba nti, “Emyaka egyo gye nnamala nga mpeereza Yakuwa nga payoniya mwe nnasinga okufunira essanyu mu bulamu.”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Tusobola okuvvuunuka ekizibu kyonna ekiyinza okutulemesa okwenyigira mu buweereza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Yakuwa asanyuka nnyo bwe tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna, okusinziira ku mbeera yaffe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza