Ebirimu
Jjulaayi 15, 2010
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Agusito 30, 2010–Ssebutemba 5, 2010
Ebintu Ebijja Okwanikibwa ku Lunaku lwa Yakuwa
OLUPAPULA 3
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 133, 40
Ssebutemba 6-12, 2010
“Mube Bantu Abalina Empisa Entukuvu”
OLUPAPULA 7
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 61, 29
Ssebutemba 13-19, 2010
Weenyigire mu Bujjuvu mu Makungula ag’eby’Omwoyo
OLUPAPULA 16
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 103, 102
Ssebutemba 20-26, 2010
“Omwoyo Gunoonyereza mu . . . Bintu bya Katonda eby’Ebuziba”
OLUPAPULA 20
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 71, 117
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 1, 2 OLUPAPULA 3-11
Mu bbaluwa ye ey’okubiri, omutume Peetero yalaga nti yali afaayo nnyo ku Bakristaayo abandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma. Ebitundu bino ebibiri bijja kutuyamba okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe. Tujja kulaba ebintu bye tulina okwewala era n’ebyo bye tulina okukola okusobola okweteekerateekera olunaku lwa Yakuwa olukulu.
Ekitundu eky’Okusoma 3 OLUPAPULA 16-20
Tuli mu kiseera eky’amakungula ag’eby’omwoyo. Ngeri ki ze twetaaga okukulaakulanya okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira? Tuyinza tutya okugwenyigiramu mu bujjuvu nga tuli mu mbeera enzibu? Ekitundu kino kijja kutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.
Ekitundu eky’Okusoma 4 OLUPAPULA 20-24
Ekitundu kino kiraga ekyo buli omu ku ffe kye yeetaaga okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu ngeri omwoyo gwa Katonda gye gutuyambamu okutegeera Ekigambo kye.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
Yamba Abaana Bo Okwagala Okusoma n’Okwesomesa
Okuba Obulindaala Kivaamu Ebirungi