LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w10 6/15 lup. 6-10
  • Funa Obukuumi mu Bantu ba Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Funa Obukuumi mu Bantu ba Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • ‘Ebigere Byange Byali Kumpi Okuseerera’
  • Londa Mikwano Gyo n’Amagezi
  • “Munaaziddwa”
  • Dina Agwa mu Mitawaana
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ekibiina ka Kitendereze Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • “Mudduke Ebikolwa Eby’Obugwenyufu!”
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Ekifo Kyo mu Kibiina Kitwale nga Kikulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 6/15 lup. 6-10

Funa Obukuumi mu Bantu ba Katonda

“Ndikwebaliza mu kibiina ekinene.”​—ZAB. 35:18.

1-3. (a) Kiki ekiyinza okuviirako Abakristaayo abamu okweteeka mu kabi ak’amaanyi mu by’omwoyo? (b) Abantu ba Katonda basobola kufunira wa obukuumi?

BWE baali bagenze okuwummulako, Joe ne mukyala we baasalawo okugenda okuwugako. We baali bawugira waaliwo amayinja agalabika obulungi n’ebyennyanja ebya buli kika, era beeyongerayo wansi basobole okwetegereza obulungi amayinja ago. Bwe beeyongera okukka wansi mu mazzi amawanvu, mukyala wa Joe yamugamba nti, “Nze ndowooza tugenze waIa nnyo.” Joe yaddamu nti, “Teweeraliikirira, kye nkola nkimanyi.” Joe ajjukira nti waayita akaseera katono ne yeebuuza ebyennyanja byonna gye byali biraze. Yatya nnyo bwe yategeera ensonga lwaki baali tebakyabiraba. Yalengera lukwata ng’ejja gy’ali era yali takyalina kya kukola. Kyokka lukwata eyo bwe yali ebuzaayo mita ng’emu okumutuukako, yakyuka n’egenda.

2 Omukristaayo ayinza okutwalirizibwa ebintu ebisikiriza ebiri mu nsi ya Sitaani, gamba ng’eby’amasanyu, omulimu, n’eby’obugagga, ne yeesanga nga ali mu kabi ak’amaanyi. Joe, omukadde Omukristaayo, agamba nti, “Ebyantuukako byandeetera okulowooza ennyo ku bantu ba ngeri ki be tusaanidde okufuula mikwano gyaffe. Wugira mu kifo awali obukuumi​—mu kibiina!” Towugira mu mazzi mawanvu, ekiyinza okukuviirako okweyawula ku kibiina era ne weeteeka mu kabi ak’amaanyi mu by’omwoyo. Bwe weesanga ng’ogenze mu mazzi amawanvu, kola kyonna ekisoboka mu bwangu odde mu ‘mazzi awali obukuumi.’ Bw’otokola ekyo, oyinza okutuukibwako akabi ak’amaanyi mu by’omwoyo.

3 Leero, embeera eri mu nsi ya kabi nnyo eri Abakristaayo. (2 Tim. 3:1-5) Sitaani amanyi nti asigazza akaseera katono, era anoonya okulya abo bonna abatali bulindaala. (1 Peet. 5:8; Kub. 12:12, 17) Kyokka ffe tulina obukuumi. Yakuwa awadde abantu be ekifo mwe basobola okufunira obukuumi mu by’omwoyo, nga kino kye kibiina Ekikristaayo.

4, 5. Abantu bangi bawulira batya ku bikwata ku biseera byabwe eby’omu maaso, era lwaki?

4 Obukuumi ensi eno bw’ewa bwa kigero. Abantu bangi bawulira nti tebalina bukuumi olw’ettemu erisusse, olw’obumenyi bw’amateeka, olw’okugootaana kw’embeera y’eby’enfuna, n’olw’okwonooneka kw’embeera y’obutonde. Abantu bonna balwala era ekiseera kituuka ne bakaddiwa. Ate n’abo abalina emirimu, amaka, n’essente, era nga tebatera kulwalalwala tebamanyidde ddala obanga embeera yaabwe eneesigala nga bw’eri kati.

5 Olw’embeera gye balimu, abantu bangi bawulira nga si basanyufu. Eky’ennaku, bangi abaali basuubira okufuna emirembe n’essanyu nga bayingidde obufumbo era nga bazadde abaana beesanze nga kye baali basuubira tebakifunye. Bwe kituuka ku bukuumi obw’eby’omwoyo, bangi abettanira eby’eddiini nabo basobeddwa, era babuusabuusa obanga obulagirizi obubaweebwa butuufu. Kino kiri bwe kityo olw’okuba abakulembeze baabwe ab’eddiini beenyigira mu bikolwa ebikyamu era bayigiriza ebintu ebikontana n’Ebyawandiikibwa. N’olw’ensonga eyo, abantu bangi kati essuubi lyabwe liri mu sayansi, mu bantu ab’ekisa oba abo abalumirirwa abalala. Tekyewuunyisa nti abantu bangi bawulira nti tebakyalina bukuumi bwa nnamaddala, era nga tebakyayagala na kulowooza ku biseera byabwe eby’omu maaso.

6, 7. (a) Lwaki waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’abo abaweereza Yakuwa n’abo abatamuweereza bwe kituuka ku ngeri gye batunuuliramu ebintu? (b) Kiki kye tugenda okwetegereza?

6 Nga waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’abo abali mu kibiina Ekikristaayo n’abo abali ebweru waakyo bwe kituuka ku ngeri gye batunuuliramu ebintu! Wadde nga naffe abaweereza ba Yakuwa tufuna ebizibu bye bimu ng’abalala bonna bye bafuna, engeri gye tweyisaamu ya njawulo. (Soma Isaaya 65:13, 14; Malaki 3:18.) Lwaki? Kubanga Baibuli etuyamba okutegeera ensonga lwaki waliwo ebizibu bingi nnyo mu nsi leero, era etuyamba okuba abeetegefu okwaŋŋanga ebizibu byonna bye twolekagana nabyo mu bulamu. Ekyo kituyamba obuteeraliikirira nnyo ku bikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso. Okuba abaweereza ba Yakuwa kituyamba okwewala endowooza ezikontana n’Ebyawandiikibwa, ebikolwa eby’obugwenyufu, era n’ebizibu ebiyinza okuva mu bintu ng’ebyo. Abo abali mu kibiina Ekikristaayo bawulira obukuumi abo abatakiriimu bwe batayinza kutegeera.​—Is. 48:17, 18; Baf. 4:6, 7.

7 Waliwo ebyokulabirako ebisobola okutuyamba okutegeera nti abaweereza ba Yakuwa balina obukuumi abo abatamuweereza bwe batalina. Ebyokulabirako bino bijja kutuyamba okulaba obanga bye tulowooza n’ebyo bye tukola bituukagana bulungi n’emisingi Katonda gy’atuteereddewo okutukuuma.​—Is. 30:21.

‘Ebigere Byange Byali Kumpi Okuseerera’

8. Kiki abaweereza ba Yakuwa kye babadde bafuba okukola?

8 Okuva edda n’edda, abantu abazze basalawo okuweereza Yakuwa n’okumugondera babadde bafuba okwewala okuba n’enkolagana ey’okulusegere n’abo abatamuweereza. Mu butuufu, Yakuwa yakiraga nti wandibaddewo obulabe wakati w’abaweereza be n’abo abandigoberedde Sitaani. (Lub. 3:15) Olw’okuba abantu ba Katonda bazze banywerera ku misingi egiri mu Byawandiikibwa, enneeyisa yaabwe ebadde ya njawulo nnyo ku y’abantu abalala. (Yok. 17:15, 16; 1 Yok. 2:15-17) Kyokka okunywerera ku misingi egyo tekibadde kyangu. Mu butuufu, n’abamu ku baweereza ba Yakuwa oluusi batuuse n’okwebuuza obanga ddala kya magezi okutambulira mu bulamu obw’okwefiiriza.

9. Ndowooza ki omuwandiisi wa Zabbuli 73 gye yalina?

9 Omu ku baweereza ba Yakuwa eyali abuusabuusa obanga yali asazeewo mu ngeri ey’amagezi ye muwandiisi wa Zabbuli 73, nga kirabika yali omu ku bazzukulu ba Asafu. Omuwandiisi wa Zabbuli ono yeebuuza ensonga lwaki ababi balabika ng’abasanyufu era ng’ebintu birabika ng’ebibagendera obulungi, so ng’ate abamu ku abo abafuba okuweereza Katonda bafuna ebizibu bingi.​—Soma Zabbuli 73:1-13.

10. Lwaki weetaaga okwetegereza ensonga omuwandiisi wa Zabbuli gye yayogerako?

10 Wali obaddeko n’endowooza ng’eyo omuwandiisi wa Zabbuli gye yalina? Bwe kiba kityo, tosaanidde kulowooza nti okukkiriza kwo kukendedde. Mu butuufu, abaweereza ba Yakuwa bangi, nga mw’otwalidde n’abamu ku abo Yakuwa be yakozesa okuwandiika Baibuli, baali babaddeko n’endowooza ng’eyo. (Yob. 21:7-13; Zab. 37:1; Yer. 12:1; Kaab. 1:1-4, 13) Abo bonna abaagala okuweereza Yakuwa balina okufumiitiriza ennyo era n’okutegeera obulungi eky’okuddamu mu kibuuzo kino: Ddala okuweereza Katonda n’okumugondera kye kintu ekisingayo obulungi okukola? Eky’okuddamu mu kibuuzo kino kirina akakwate n’ensonga enkulu ekwata ku bufuzi bwa Katonda obw’obutonde bwonna Sitaani gye yaleetawo mu lusuku Adeni. (Lub. 3:4, 5) N’olwekyo, ffenna twetaaga okwetegereza ensonga omuwandiisi wa Zabbuli gye yayogerako. Twandikwatiddwa obuggya bwe tulaba abantu ababi nga balabika ng’abali mu bulamu obweyagaza? Twandikkiriza ‘okuseerera’ ne tulekera awo okuweereza Yakuwa nga tugoberera amakubo gaabwe amabi? Awatali kubuusabuusa, ekyo kyennyini Sitaani ky’ayagala tukole.

11, 12. (a) Kiki ekyayamba omuwandiisi wa Zabbuli okutereeza endowooza ye, era ekyo kituyigiriza ki? (b) Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, kiki ekikuyambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu?

11 Kiki ekyayamba omuwandiisi wa Zabbuli okutereeza endowooza ye? Wadde nga yagamba nti yabulako katono okuseerera okuva mu kkubo ery’obutuukirivu, endowooza ye yakyuka bwe yayingira ‘awatukuvu wa Katonda’​—kwe kugamba, bwe yakuŋŋaana awamu n’abantu abettanira eby’omwoyo mu weema oba mu yeekaalu ya Katonda era n’afumiitiriza ku kigendererwa kya Katonda. Kino kyamuyamba okukitegeera nti tekiba kya magezi okugoberera ekkubo ly’abantu ababi. Yakiraba nti ekkubo lyabwe ebbi libateeka mu “bifo eby’obuseerezi.” Omuwandiisi wa Zabbuli yakitegeera nti abo bonna abaleka Yakuwa ne beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu bajja kuzikirizibwa mu ‘ntiisa,’ so ng’ate Yakuwa ajja kuyamba abo abafuba okumuweereza. (Soma Zabbuli 73:16-19, 27, 28.) Kya lwatu nti naawe olabye obutuufu bw’ebigambo ebyo. Wadde ng’abantu bangi baagala nnyo okweyisa nga bwe baagala awatali kufaayo ku mateeka ga Katonda, ebizibu ebiva mu kweyisa batyo tebasobola kubyewala.​—Bag. 6:7-9.

12 Kiki ekirala kye tuyigira ku muwandiisi wa Zabbuli? Yafuna obukuumi n’amagezi mu bantu ba Katonda. Yatandika okutunuulira ebintu mu ngeri ennuŋŋamu bwe yagenda mu kifo gye baali basinziza Yakuwa. Mu ngeri y’emu leero, tusobola okuweebwa amagezi amalungi era n’emmere ey’eby’omwoyo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa akubiriza abaweereza be okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Mu nkuŋŋaana ezo bazzibwamu amaanyi era ne bakubirizibwa okweyisa mu ngeri ey’amagezi.​—Is. 32:1, 2; Beb. 10:24, 25.

Londa Mikwano Gyo n’Amagezi

13-15. (a) Kiki ekyatuuka ku Dina, era kituyigiriza ki? (b) Lwaki okukola omukwano ne Bakristaayo banno kya bukuumi?

13 Dina, muwala wa Yakobo, y’omu ku abo abaafuna ebizibu eby’amaanyi olw’okuba n’emikwano emibi. Ebyo bye tumusomako mu kitabo ky’Olubereberye biraga nti yali akoze omukwano ku bawala Abakanani abaali mu kitundu ab’omu maka ga Yakobo gye baali babeera. Abakanani baali tebatambulira ku mitindo gya mpisa abasinza ba Yakuwa gye baali bagoberera. Ate era ebyo abayiikuula eby’omu ttaka bye bazudde biraga nti Abakanani baali basinza ebifaananyi, baali beenyigira mu bikolwa eby’ettemu, era nga n’okusinza kwabwe kwalimu ebikolwa eby’obugwenyufu. (Kuv. 23:23; Leev. 18:2-25; Ma. 18:9-12) Jjukira ekyo ekyatuuka ku Dina olw’okuba n’omukwano n’abantu abo.

14 Sekemu, omuvubuka ayogerwako ng’oyo ‘eyalina ekitiibwa okusinga ennyumba yonna eya kitaawe,’ yalaba Dina ‘n’amutwala n’amukwata.’ (Lub. 34:1, 2, 19) Ng’ekyo kyali kibi nnyo! Olowooza Dina yali asuubira nti ekyo kyali kiyinza okumutuukako? Osanga ye yali ayagala kubeera bubeezi mukwano gw’abavubuka ab’omu kitundu ekyo, era nga baali balabika ng’abataalina mutawaana. Naye ekyo Dina kye yali alowooza tekyali kituufu.

15 Ebyo ebyamutuukako bituyigiriza ki? Bituyigiriza nti tetusobola kwewala kugwa mu mitawaana singa tukola omukwano ku bantu abatali bakkiriza. Ebyawandiikibwa bigamba nti “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Kol. 15:33) Ku luuyi olulala, okukola omukwano ku bakkiriza banno, abaagala Yakuwa nga naawe bw’omwagala era abalina empisa ennungi, kijja kuba kya bukuumi gy’oli. Emikwano ng’egyo emirungi gijja kukukubiriza okweyisa mu ngeri ey’amagezi.​—Nge. 13:20.

“Munaaziddwa”

16. Abamu ku Bakristaayo mu kibiina ky’e Kkolinso omutume Pawulo yaboogerako atya?

16 Ekibiina Ekikristaayo kiyambye abantu bangi okweggyako emize emibi. Omutume Pawulo bwe yawandiikira ekibiina ky’e Kkolinso, yayogera ku nkyukakyuka Abakristaayo mu kibiina ekyo ze baali bakoze okusobola okutuukana n’emitindo gya Katonda. Abamu ku bo baali basinza ebifaananyi, baali bakaba, benzi, bali ba bisiyaga, babbi, batamiivu, n’ebirala ebiringa ebyo. Naye Pawulo yabagamba nti “kaakano munaaziddwa.”​—Soma 1 Abakkolinso 6:9-11.

17. Okukolera ku misingi gya Baibuli kiyambye kitya abantu bangi okukyusa obulamu bwabwe?

17 Abantu abatalina kukkiriza baba tebalina misingi mituufu kwe batambulira. Be beesalirawo ekkubo ery’okugoberera, oba bagoberera bugoberezi empisa embi ez’abo ababeetoolodde, ng’abamu ku Bakkolinso ab’edda bwe baakolanga nga tebannafuuka Bakristaayo. (Bef. 4:14) Naye okumanya okutuufu okukwata ku Kigambo kya Katonda ne ku bigendererwa bye, kulina amaanyi agasobola okukyusa obulamu bw’abo abagoberera obulagirizi obuli mu Byawandiikibwa. (Bak. 3:5-10; Beb. 4:12) Leero bangi abali mu kibiina Ekikristaayo bagamba nti bwe baali tebannayiga misingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu era nga tebannatandika kugikolerako, baali beeyisa nga bwe baagala. Wadde kyali kityo, tebaali basanyufu era tebaali bamativu. Kyokka bwe baatandika okukolagana n’abantu ba Katonda n’okutambulira ku misingi gya Baibuli, baafuna emirembe.

18. Kiki ekyatuuka ku muvubuka omu, era ekyo kiraga ki?

18 Ku luuyi olulala, abo abaaliko mu ‘mazzi awali obukuumi,’ nga kino kye kibiina Ekikristaayo, naye ne basalawo okugavaamu kati bejjusa olw’okusalawo obubi. Mwannyinaffe omu, gwe tujja okuyita Tanya, agamba nti ‘yakulira mu bantu abaali mu mazima,’ naye bwe yali nga wa myaka 16, yava mu kibiina asobole “okwenoonyeza ebintu by’ensi.” Yafuna olubuto lwe yali teyeeyagalidde era oluvannyuma n’aluggyamu. Kati agamba nti: “Mu myaka esatu gye nnamala ebweru w’ekibiina nnafuniramu enkovu ezitagenda kunvaako. Ekintu kye sigenda kwerabira kwe kuba nti nnattira omwana mu lubuto. . . . Njagala okutegeeza abo bonna abakyali abato abeegomba ‘okulozaako’ ku bulamu bw’ensi wadde akatono bwe kati nti: ‘Temugezaako!’ Wadde nga ku ntandikwa ebintu biyinza okulabika ng’ebigenda obulungi, ku nkomerero ebivaamu biba bibi byereere. Ensi teriimu kalungi konna okuggyako ennaku enjereere. Nnagirozaako. Ngimanyi bulungi. Munywerere mu kibiina kya Yakuwa! Mwe mwokka mwe musobola okufunira essanyu erya nnamaddala.”

19, 20. Bukuumi ki omuntu bw’afuna ng’ali mu kibiina Ekikristaayo, era abufuna mu ngeri ki?

19 Lowooza ku ebyo ebiyinza okukutuukako singa osalawo okuva mu kibiina Ekikristaayo omuli obukuumi. Bangi bwe bajjukira obulamu obutalina kigendererwa bwe baalimu nga tebannayiga mazima, tebaagala na kulowooza ku kya kuva mu kibiina. (Yok. 6:68, 69) Osobola okwewala emitawaana mingi egiri mu nsi ya Sitaani singa weekuumira mu kibiina Ekikristaayo. Okukolagana n’ab’oluganda n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina kijja kukuyamba okujjukiranga emisingi gya Yakuwa era kikukubirize okugitambulirako. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, waliwo ensonga nnyingi ezandikukubiriza ‘okwebaza Yakuwa mu kibiina ekinene.’​—Zab. 35:18.

20 Kyo kituufu nti olw’ensonga ezitali zimu, Abakristaayo bonna oluusi beesanga mu mbeera mwe kiyinza okulabikira ng’ekizibu okukuuma obugolokofu bwabwe. Bayinza okuba nga kye beetaaga ye muntu okubalaga eky’okukola. Kiki ggwe awamu n’abalala mu kibiina kye muyinza okukola okusobola okuyamba bakkiriza bannaffe abali mu mbeera ng’eyo? Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri gy’osobola ‘okubudaabuda era n’okuzimba’ baganda bo mu kibiina.​—1 Bas. 5:11.

Wandizzeemu Otya?

• Kiki kye tuyigira ku muwandiisi wa Zabbuli 73?

• Ebyo ebyatuuka ku Dina bituyigiriza ki?

• Lwaki osaanidde okwekuumira mu kibiina Ekikristaayo?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Wugira mu kifo awali obukuumi; sigala mu kibiina!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza