Nnazuula Amakulu Agali mu Bulamu
Byayogerwa Gaspar MartÍnez
Obulamu bwange bulaga engeri omulenzi ow’omu kyalo era omwavu gye yajja mu kibuga n’afuna eby’obugagga. Naye nga bw’ojja okukiraba, eby’obugagga bye nnali nsuubira si bye nnafuna.
MU MYAKA gya 1930 we nnakulira, twabeeranga mu kitundu ekikalu ennyo ekiri mu bukiika ddyo bwa Spain ekiyitibwa Rioja. Nnava mu ssomero nga nnina emyaka kkumi, naye nnali njize okusoma n’okuwandiika. Twazaalibwa abaana mukaaga era twateranga okubeera ffenna nga tulunda endiga oba nga tulima ku ttaka lyaffe eryali ettono ddala.
Okuba abaavu kyatuleetera okufuba okukola ennyo tusobole okugaggawala. Kyatukwasanga obuggya okulaba abantu abalina ebintu ebingi okutusinga. Wadde nga mu byenfuna twali bubi, lumu bisopu yagamba nti ekyalo kyaffe kye kyali “kisinga okwettanira eby’eddiini mu ssaza lye.” Teyamanya nti ekiseera kyali kijja kutuuka abantu bangi bave mu Bukatoliki.
Nnoonya eky’Okukola
Nnawasa Mercedes, omuwala eyali ow’oku kyalo kyaffe, era waayita ebbanga ttono ne tuzaala omwana omulenzi. Mu 1957, twasenguka ne tudda mu kibuga Logroño ekyatuli okumpi, era oluvannyuma n’ab’ewaffe bonna baakola kye kimu. Nnakizuula nti olw’okuba nnali sirina mulimu gwe nnasomerera, kyali kizibu okufuna omulimu ogunsasula obulungi. Nneebuuza wa gye nnali nnyinza okufuna ku magezi. Nnagendako mu tterekero ly’ebitabo erimu naye ne kye nnagenda okunoonyayo mu butuufu nnali sikimanyi.
Nga wayise ekiseera, nnawulira nti waaliwo programu ku leediyo eyali eyamba abantu mu musomo gwa Baibuli. Bwe nnamala emisomo egyo, abantu abawerako okuva mu Makanisa g’Ekiprotestanti bantuukirira nga baagala mbegatteko. Oluvannyuma lw’okugendayo emirundi nga gigyo nnakiraba nti waaliyo obukuubagano bwa maanyi mu bakulembeze. Saddayo era nnalowooza embeera bw’etyo bw’eri mu madiini gonna.
Ekifu Kinva ku Maaso
Lumu mu 1964 omwami ayitibwa Eugenio yajja ewaffe. Yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, eddiini gye nnali siwulirangako. Naye ebikwata ku Baibuli nnali njagala nnyo okubyogerako era nnali mmanyi nti Ebyawandiikibwa mbitegeera bulungi. Nnayogera naye nga nkozesa Ebyawandiikibwa ebitono bye nnali njize mu musomo gwa Baibuli. Wadde nga nnagezaako okumulaga nti enjigiriza z’Abaprotestanti ezimu ntuufu, nange muli nnali sizikkiririzaamu.
Oluvannyuma lw’okwogerera ekiseera ekiwera emirundi ebiri, nnakkiriza nti Eugenio yali mukugu mu Kigambo kya Katonda. Kyanneewuunyisa okulaba nti yali amanyi bulungi ebyawandiikibwa awamu n’okubinnyonnyola, ng’ate nze nnali musinga obuyigirize. Eugenio yandaga okuva mu Baibuli nti tuli mu nnaku za luvannyuma, era nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okufuula ensi eno Olusuku lwa Katonda. Kino kyansanyusa nnyo.—Zab. 37:11, 29; Is. 9:6, 7; Mat. 6:9, 10.
Awatali kulonzalonza nnakkiriza okutandika okuyiga Baibuli. Kumpi buli kintu kye nnayiga kyali kipya era kyankwatako nnyo. Nnatandika okulaba amakulu agali mu bulamu era kye nnali nnoonya nnali nkizudde. Kati eby’okunoonya obulamu obwa waggulu nnali sikyabifaako, era n’okufuna omulimu omulungi nnali sikyakitwala nga kikulu. Ggwe ate oba okulwala n’okufa nabyo bigenda kuggwawo.—Is. 33:24; 35:5, 6; Kub. 21:4.
Saalwa ne ntandika okubuulira ku b’eŋŋanda zange bye nnali njiga, nga mbannyonnyola nti Katonda yasuubiza okufuula ensi olusuku lwe abantu abeesigwa mwe bajja okubeera emirembe gyonna.
Ab’Eŋŋanda Zange Bakkiriza Amazima
Mu bbanga ttono, abantu nga 12 twali tukuŋŋaanira ewa taata wange omuto buli lwa ssande olw’eggulo, ne tusoma ku bisuubizo ebiri mu Baibuli. Kino twakikolanga okumala essaawa bbiri oba ssatu buli wiiki. Eugenio bwe yakiraba nti ab’eŋŋanda zange bangi baali baagala okuyiga Baibuli, n’akola enteekateeka okubayamba kinnoomu.
Ab’eŋŋanda zange abalala baali babeera Durango, akabuga akaali keesudde mayiro nga 80 era nga teri Bajulirwa. Bwe kityo nga wayise emyezi esatu, nnasaba ennaku bbiri ne nva ku mulimu ne ŋŋenda okubabuulira ebintu ebipya bye nnali njize. Ku mulundi ogwo, twakuŋŋaana abantu nga kkumi buli kawungeezi, era nnayogera nabo okutuuka mu ttumbi. Bonna bye baawulira byabaleetera essanyu. Bwe nnali nvaayo nnabalekera Baibuli eziwerako n’ebitabo ebinnyonnyola Baibuli. Okuva olwo twasigala tuwuliziganya.
Abajulirwa ba Yakuwa baagenda okutuuka e Durango—gye baali batabuulirangako—baasangayo abantu 18 abalinze okuyigirizibwa Baibuli. Abajulirwa baali basanyufu okukola enteekateeka, buli maka ne gayigirizibwa.
Okutuusa mu kiseera ekyo, mukyala wange Mercedes yali alemeddwa okuyiga amazima olw’okutya abantu. Era olw’okuba omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gwali guwereddwa, yalowooza nti abaana baffe bombi baali bagenda kugobebwa mu ssomero era babuleko abaagala. Naye oluvannyuma yakkiriza okuyiga Baibuli bwe yalaba ng’ab’eŋŋanda zaffe bonna bakkirizza amazima.
Mu myaka ebiri gyokka, ab’eŋŋanda zange 40 baali bamaze okwewaayo n’okubatizibwa okuweereza Yakuwa. Yee, ebiruubirirwa ab’eŋŋanda zange bye baalina mu bulamu byali bifaanana n’ebyange. Nnawulira nga nfunye ekintu eky’omuwendo ennyo mu bulamu. Twali tufunye eby’obugagga eby’omwoyo bingi nnyo.
Nneeyongera Okufuna Essanyu mu Bulamu
Mu myaka 20 egyaddirira, nnafuba okuyamba batabani baffe ababiri awamu n’okuweereza mu kibiina. Nze ne mukyala wange Mercedes we twasengukira okudda e Logroño, ekibuga ekyo omwali abantu abawera 100,000 kyalimu Abajulirwa 20 bokka. Era mu bbanga ttono nnali mpeereddwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina.
Bwe nnali mpeza emyaka 56 egy’obukulu, kampuni gye nnakoleranga yaggalawo ne mba nga sikyalina mulimu. Bulijjo nnali njagala nnyo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, era bwe ntyo nnakozesa akakisa kano ne nfuuka payoniya. Ssente ez’ensako ze nnali nfuna zaali tezitumala kwebeezaawo era obulamu tebwali bwangu. Kyokka Mercedes yafunayo omulimu ogw’okuyonja ne tusobola okweyimirizaawo era tetubulwangako bintu bye twetaaga mu bulamu. Na buli kati nkyaweereza nga payoniya, era naye atera okuweereza nga payoniya omuwagizi era anyumirwa nnyo obuweereza bw’ennimiro.
Emyaka mitono emabega, Mercedes alina omukyala ayitibwa Merche gwe yatwaliranga magazini eyasomako Baibuli n’Abajulirwa ng’akyali muto. Merche yali anyumirwa okusoma magazini ezo, era Mercedes yakiraba nti omukyala oyo yali akyayagala amazima. Oluvannyuma Merche yakkiriza okuyiga Baibuli era yakulaakulana mangu. Naye bbaawe Vicente yali anywa nnyo omwenge era nga buli mulimu gw’afuna bamugoba. Olw’ensonga eyo yali takyasobola kuyimirizaawo ba mu maka ge; okunywa ekisusse kyali kyolekedde okumwonoonera obufumbo.
Mukyala wange yawa Merche amagezi agambe bbaawe ayogereko nange, bw’atyo bba bwe yakola. Twasisinkana emirundi nga giigyo n’akkiriza okuyiga Baibuli. Vicente yatandika okukola enkyukakyuka, era yasooka n’agezaako okumala ennaku nga ziizo nga takomba ku mwenge. Yatuusa ekiseera ng’amala wiiki ennamba oba okusingawo nga tanywedde, era oluvannyuma omwenge yaguviirako ddala. Yatandika okulabika obulungi era enkolagana yaabwe mu maka yalongooka. Ye n’ab’omu maka ge, omuli mukyala we ne muwala we, kati babeera ku bizinga ebiyitibwa Canary era bayambye nnyo ekibiina ekitono ekiriyo.
Obulamu Bwange Bubadde bwa Makulu
Wadde ng’abamu ku b’eŋŋanda zange abaali bamaze ebbanga eddene mu mazima baafa, abalala bangi bagakkiriza, era Katonda atuwadde emikisa mingi. (Nge. 10:22) Kimpa essanyu lingi okulaba ng’abantu abaayiga Baibuli emyaka 40 emabega—wamu n’abaana baabwe n’abazzukulu—na kati bakyaweereza Yakuwa n’obwesigwa!
Nnina ab’eŋŋanda zange bangi nnyo Abajulirwa, era abamu bakadde mu bibiina, baweereza, n’abalala bapayoniya. Mutabani wange omukulu ne mukyala we baweereza ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa e Madrid mu Spain. We nnatandikira okuweereza Yakuwa, twali Abajulirwa nga 3,000 mu Spain. Kati tusoba mu 100,000. Nnyumirwa nnyo obuweereza obw’ekiseera kyonna era nneebaza nnyo Katonda olw’essanyu eringi lye nfunye nga mmuweereza. Wadde nga saasoma kugenda wala, oluusi nfuna enkizo ey’okuyamba ku mulabirizi w’ekitundu.
Emyaka mitono emabega nnakizuula nti ku kyalo kwe nnakulira kumpi tekukyali bantu. Obwavu bwawaliriza abantu bonna okuleka ennimiro n’ennyumba zaabwe ne bagenda mu bitundu ebirala. Kya ssanyu nti bangi ku bantu abo—nga nange mw’ontwalidde—bafunye eby’obugagga eby’omwoyo. Twakitegeera nti obulamu bwa makulu nnyo, era nti okuweereza Yakuwa kivaamu essanyu eritageraageranyizika.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Abamu ku b’eŋŋanda z’Ow’oluganda Martínez bonna abali mu mazima