Eby’Obugagga Ebiva eri Katonda
KATONDA anaakuwa eby’obugagga bw’onooba omwesigwa gy’ali? Oboolyawo anaabikuwa, naye si ebyo by’osuubira. Lowooza ku Maliyamu, maama wa Yesu. Malayika Gabulyeri yamulabikira n’amugamba nti yali ‘asiimibwa nnyo’ mu maaso ga Katonda era nti yali agenda kuzaala Omwana wa Katonda. (Lukka 1:28, 30-32) Naye Maliyamu teyali mugagga. Oluvannyuma lw’okuzaala Yesu, yawaayo “amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento,” nga ssaddaaka abaavu ze baawangayo eri Yakuwa.—Lukka 2:24; Eby’Abaleevi 12: 8.
Eky’okuba nti Maliyamu yali mwavu kitegeeza nti teyalina mikisa gya Katonda? Nedda! Bwe yagenda okukyalira Erizabeesi gwe yalinako oluganda, ‘Erizabeesi yajjuzibwa omwoyo omutukuvu, n’ayogera mu ddoboozi erya waggulu nti: “Oli wa mukisa [Maliyamu] mu bakazi bonna, era ekibala ky’omu lubuto lwo kya mukisa!”’ (Lukka 1:41, 42) Maliyamu yaweebwa enkizo ey’okufuuka maama ow’oku nsi ow’Omwana wa Katonda gw’ayagala ennyo.
Ne Yesu kennyini teyali mugagga. Ng’oggyeko eky’okuba nti yazaalibwa mu maka maavu, naye kennyini yali mwavu ekiseera kyonna kye yamala ku nsi. Lumu, yagamba omusajja eyali ayagala okufuuka omuyigirizwa we nti: “Ebibe birina we bisula n’ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Lukka 9:57, 58) Wadde kiri kityo, Yesu Kristo okujja ku nsi kyasobozesa abayigirizwa be okufuna eby’obugagga ebisinga obukulu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Yafuuka mwavu ku lwammwe, musobole okubeera abagagga okuyitira mu bwavu bwe.” (2 Abakkolinso 8:9) Bya bugagga bya ngeri ki Yesu bye yawa abayigirizwa be? Era bya bugagga bya ngeri ki bye tulina leero?
Bya Bugagga bya Ngeri Ki?
Emirundi egisinga obungi eby’obugagga biyinza okulemesa omuntu okuba n’okukkiriza kubanga omuntu omugagga ayinza okwesiga ssente ze mu kifo ky’okwesiga Katonda. Yesu yagamba nti: “Nga kijja kuba kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” (Makko 10:23) Awatali kubuusabuusa, eby’obugagga Yesu bye yawa abagoberezi be tebyalina kakwate na ssente.
Mu butuufu, Abakristaayo abasinga obungi abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali baavu. Omusajja eyazaalibwa nga mulema bwe yasaba ssente, Peetero yamuddamu nti: “Ffeeza ne zaabu sibirina, naye kye nnina kye nnaakuwa: Mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, tambula!”—Ebikolwa 3:6.
Ebigambo by’omuyigiriza Yakobo nabyo biraga nti ekibiina Ekikristaayo okusingira ddala kyalimu bantu baavu. Yagamba nti: “Muwulire, baganda bange abaagalwa. Katonda teyalonda abaavu mu nsi okubeera abagagga mu kukkiriza, era abasika b’obwakabaka bwe yasuubiza abo abamwagala?” (Yakobo 2:5) Okwongereza ku ekyo, omutume Pawulo naye yagamba nti si bangi “abatwalibwa ng’abagezi” oba “ab’amaanyi” oba “ab’ebitiibwa” abaayitibwa okuba mu kibiina Ekikristaayo.—1 Abakkolinso 1:26.
Bwe kiba nti eby’obugagga Yesu bye yawa abagoberezi be tebyalina kakwate na ssente, kati olwo bya bugagga ki bye yabawa? Mu bbaluwa Yesu gye yaweereza ekibiina ky’omu Sumuna, yagamba nti: “Mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo—naye oli mugagga.” (Okubikkulirwa 2:8, 9) Wadde ng’Abakristaayo b’omu Sumuna baali baavu, baalina eby’obugagga eby’omuwendo omungi okusinga ffeeza ne zaabu. Baali bagagga olw’okuba baalina okukkiriza era nga beesigwa eri Katonda. Okukkiriza kwa muwendo nnyo kubanga “si kwa bonna.” (2 Abassessaloniika 3:2) Mazima ddala, abo abatalina kukkiriza baavu mu maaso ga Katonda.—Okubikkulirwa 3:17, 18.
Eby’Obugagga Ebiva mu Kuba n’Okukkiriza
Naye, mu ngeri ki okukkiriza gye kuli okw’omuwendo ennyo? Abo abakkiririza mu Katonda baganyulwa mu ‘kisa kye, obukwatampola, n’obugumiikiriza by’alina mu bungi.’ (Abaruumi 2:4) Ate era ‘basonyiyibwa ebyonoono byabwe’ olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. (Abeefeso 1:7) Okugatta ku ekyo, bafuna amagezi “ekigambo kya Kristo” ge kireetera abo abalina okukkiriza. (Abakkolosaayi 3:16) Bwe basaba Katonda nga balina okukkiriza, “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna” gikuuma emitima gyabwe n’ebirowoozo byabwe, ne bafuna obumativu n’essanyu.—Abafiripi 4:7.
Okwongereza ku miganyulo egyo gyonna, abo abakkiririza mu Katonda okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo, balina essuubi ery’ekitalo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Kino kituukagana bulungi n’ebigambo bya Yesu Kristo bino ebimanyiddwa ennyo: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Essuubi eryo ery’omuwendo linywezebwa singa omuntu afuna okumanya okutuufu okukwata ku Kitaffe n’Omwana, kubanga era Yesu yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”—Yokaana 17:3.
Wadde ng’okusingira ddala emikisa Katonda gy’atuwa gya bya mwoyo, naye era atuwa n’emikisa emirala egituganyula mu nneewulira ne mu by’omubiri. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Dalídio abeera mu Brazil. Bwe yali nga tannafuna kumanya kutuufu okukwata ku kigendererwa kya Katonda, yalina ekizibu eky’okunywa ennyo omwenge. Kino kyayonoona enkolagana ye n’ab’omu maka ge era embeera ye ey’eby’enfuna teyali nnungi. Oluvannyuma yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’akola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe.
Ebyo Dalídio bye yayiga okuva mu Baibuli byamuleetera okulekayo emize emibi gye yalina. Yakulaakulana nnyo mu by’omwoyo n’atuuka n’okugamba nti, “Nnali ŋŋenda bbaala ku bbaala, naye kati ŋŋenda nnyumba ku nnyumba.” Yali afuuse omubuulizi w’Ekigambo kya Katonda ow’ekiseera kyonna. Enkyukakyuka eno yatereeza obulamu bwe n’embeera ye ey’eby’enfuna. Dalídio yagamba, “Ssente ze nnayonooneranga ku mwenge, kati nzikozesa okuyamba abali mu bwetaavu oba okugula bye nneetaaga.” Era afunye emikwano emirungi mingi olw’okukolagana n’abantu abafaayo ku by’omwoyo. Dalídio kati alina emirembe n’obumativu ebisingira ewala ennyo ekintu kyonna kye yali alowoozezzaako nga tannategeera Katonda.
Lowooza ku kyokulabirako ekirala ekya Renato eyaganyulwa olw’okukkiririza mu Yakuwa Katonda. Bw’omulaba leero nga musanyufu era ng’aliko akamwenyumwenyu, oyinza obutakikkiriza nti yali ayisiddwako obubi ennyo mu bulamu bwe. Maama we yamusuula nga yaakamuzaala. Yamuteeka mu nsawo n’amussa wansi w’entebe, n’amuleka nga yenna ataaguddwataaguddwa, era nga n’akalira ke tekannakutukako. Abakyala babiri bwe baali bayitawo, baalaba ensawo eyali wansi w’entebe nga yeenyeenya. Mu kusooka baalowooza nti mu nsawo mulimu ka kapa. Bwe bakizuula nti yali mwana muwere, baamutwalirawo mu ddwaliro okumujjanjaba.
Omu ku bakyala abo yali Mujulirwa wa Yakuwa, era yabuulirako Rita Omujulirwa omulala, ebikwata ku mwana gwe baali balonze. Rita yali azadde abaana bangi naye nga bonna abazaala bafudde, era ng’alina omwana omu yekka omuwala. Yali ayagala nnyo omwana omulenzi, era bw’atyo yasalawo okukuza Renato.
Rita yagamba Renato ng’akyali muto nti si ye yali nnyina amuzaala. Naye yamulabirira bulungi nnyo era yafuba okumuyigiriza emisingi gya Baibuli. Bwe yakula, yatandika okwagala okuyiga Baibuli. Era yeeyongera okusiima engeri ey’ekitalo gye yawonyezebwamu. Afuna ebiyengeyenge mu maaso buli lw’asoma ebigambo bya Dawudi bino: “Kubanga kitange ne mmange bandese, naye Mukama ananjijajanbanga.”—Zabbuli 27:10.
Renato yalaga okusiima olw’ebyo byonna Yakuwa bye yali amukoledde, ng’abatizibwa mu 2002 era n’afuuka obubuulizi ow’ekiseera kyonna mu mwaka ogwaddirira. N’okutuusa leero, tamanyi kitaawe wadde nnyina era oboolyawo talibategeera. Wadde kiri kityo, Renato awulira nti ekimu ku birabo ebisingayo okuba eby’omuwendo by’afunye, kwe kumanya Yakuwa n’okumukkiririzaamu nga Kitaawe ow’okwagala era amufaako.
Oyinza okuba ng’oyagala okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda ow’okwagala, era kino kijja kuba kya muganyulo nnyo gy’oli. Omuntu yenna k’abe mwavu oba mugagga asobola okufuna enkolagana eyo ne Yakuwa Katonda awamu n’Omwana we, Yesu Kristo. Enkolagana eyo eyinza obutakuyamba kugaggawala, naye ejja kukuyamba okufuna emirembe n’obumativu by’otosobola kufuna mu ssente zonna eziri mu nsi. Mazima ddala ebigambo bino ebiri mu Engero 10:22 bituufu nnyo: “Omukisa gwa Mukama—gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”
Yakuwa Katonda ayagala nnyo abantu abajja gy’ali, agamba nti: “Singa wawulira amateeka gange! Kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.” (Isaaya 48:18) Era asuubiza nti abo abajja gy’ali nga balina endowooza ennuŋŋamu n’ekigendererwa ekirungi, ajja kubawa empeera. Baibuli egamba nti: “Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama”—Engero 22: 4.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]
Okukkiririza mu Katonda kireeta emirembe, obumativu n’essanyu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Wadde nga bazadde ba Yesu ab’oku nsi baali baavu, Katonda yabawa emikisa mingi