Ebirimu
Apuli 15, 2009
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Jjuuni 1-7, 2009
Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa
OLUPAPULA 3
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 13, 14
Jjuuni 8-14, 2009
Bw’Okuuma Obugolokofu Osanyusa Omutima gwa Yakuwa
OLUPAPULA 7
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 69, 58
Jjuuni 15-21, 2009
Amagezi ga Yakuwa Geeyolekera mu Butonde
OLUPAPULA 15
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 35, 94
Jjuuni 22-28, 2009
Okutegeera Obulungi Oyo Asinga Musa Obukulu
OLUPAPULA 24
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 65, 61
Jjuuni 29 2009–Jjulaayi 5, 2009
Okutegeera Obulungi Yesu Asinga Dawudi ne Sulemaani Obukulu
OLUPAPULA 28
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 74, 92
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
Ebitundu eby’Okusoma 1, 2 OLUPAPULA 3-11
Ebitundu bino biraga ensonga lwaki Yakuwa yaleka Setaani okugezesa Yobu n’ekyo ekyayamba Yobu okukuuma obugolokofu bwe. Era binnyonnyola engeri, okufaananako Yobu, gye tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa bwe tutyo ne tusanyusa omutima gwe.
Ekitundu eky’Okusoma 3 OLUPAPULA 15-19
Obutonde bwa Yakuwa bwoleka engeri ze ezitali zimu. Bwe tufumiitiriza ku bintu bye yatonda, tuyiga ebintu eby’omuwendo bingi. Mu kitundu kino, tujja kwetegereza ebitonde bya Yakuwa bina era tulabe kye bituyigiriza.
Ebitundu eby’Okusoma 4, 5 OLUPAPULA 24-32
Ebiri mu Baibuli ebyogera ku bamu ku basajja abeesigwa abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi biraga nti waliwo ebintu ebikulu abasajja abo bye baali bafaanaganya ne Yesu. Mu bitundu bino ebibiri, tujja kwetegereza Musa, Dawudi, ne Sulemaani era tulabe engeri ebyo ebikwata ku bulamu bwabwe gye bituyamba okutegeera obulungi ekifo Yesu ky’alina mu kigendererwa kya Katonda.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi—Waliwo essuubi lyonna nti omwana eyafiira mu lubuto lwa nnyina alizuukira?
OLUPAPULA 12
OLUPAPULA 14
Osobola Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingawo obw’Ababuulizi b’Obwakabaka?
OLUPAPULA 20