Wandiremedde ku Kukola Ggwe ky’Oyagala?
KUBA akafaananyi ng’abaana babiri bali awo bazannya. Omu asika ku munne ekintu ky’azannyisa nga bw’aleekaana nti, “Kyange!” Okuviira ddala mu buto, abantu abatatuukiridde baba beerowoozaako bokka. (Lub. 8:21; Bar. 3:23) Ng’oggyeko ekyo, ensi eno okutwalira awamu buli omu emukubiriza kwefaako yekka. Kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okweggyamu omuze ogwo. Bwe tutakola tutyo, ebikolwa byaffe biyinza okuleetera abalala okwesittala, ne twonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.—Bar. 7:21-23.
Ng’atukubiriza okulowooza ku ngeri abalala gye bakwatibwako ebintu bye tukola, omutume Pawulo yagamba nti: “Byonna birungi; naye ebisaana si byonna. Byonna birungi, naye ebizimba si byonna.” Yagattako nti: “Temuleetanga ekyesittaza.” (1 Kol. 10:23, 32) Kino kiraga nti bwe tuba tugenda okukola ekintu kyonna, kiba kya magezi okwebuuza nti: ‘Wadde nga ndi wa ddembe okukola kye njagala, ndi mwetegefu okukyusaamu bwe kiba nti kye njagala okukola kijja kutabangula emirembe mu kibiina? Ndi mwetegefu okukolera ku misingi gya Baibuli, ka kibe nga si kyangu?’
Ng’Osalawo Omulimu gw’Onookola
Abantu abasinga bakitwala nti eky’omulimu gwe basalawo okukola abalala tekibakwatako. Naye lowooza ku kyokulabirako kya munnabizineesi omu abeera mu kabuga akatono ak’omu Amerika ow’obukiika ddyo. Yali amanyiddwa ng’omukubi wa zzaala era ng’omutamiivu. Kyokka oluvannyuma lw’okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, yakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. (2 Kol. 7:1) Bwe yasaba okutandika okubuulira awamu n’ekibiina, omukadde omu yayogera naye n’amukubiriza alowooze ku mulimu gwe yali akola. Okumala ekiseera ekiwerako, omusajja oyo ye yali asinga okusuubuza ab’omu kabuga ako emmandule. Wadde ng’emmandule ekozesebwa mu bintu bingi, mu kitundu ekyo abasinga baali bagitabulamu mwenge.
Omusajja oyo yakiraba nti okutandika okubuulira abantu b’omu kitundu ekyo ng’akyatunda emmandule kyali kijja kwonoona erinnya ly’ekibiina awamu n’enkolagana ye ne Katonda. Wadde nga yalina abantu bangi b’alabirira mu maka ge, yalekera awo okugitunda. Kati ssente ezirabirira ab’omu maka ge aziggya mu kutunda bintu ebitali bimu ebikolebwa mu mpapula. Omusajja ono ne mukazi we, awamu n’ababiri ku baana baabwe abataano, kati babatize. Babuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu awatali kutya.
Ng’Olonda Emikwano
Kiri eri ffe okwesalirawo obanga kisaanira okukola omukwano n’abantu abatali ba nzikiriza yaffe, oba waliwo emisingi gya Baibuli gye tulina okulowooozaako? Mwannyinaffe omu yali ayagala okugenda ku kabaga n’omusajja atali Mujulirwa wa Yakuwa. Wadde nga yalabulwa ku kabi akaali mu ekyo, yagamba nti y’alina okwesalirawo eky’okukola era bw’atyo yagenda ku kabaga n’omusajja oyo. Ng’ali eyo, baamuwa omwenge ogwali guteekeddwamu eddagala eryebasa era yagenda okuzuukuka oluvannyuma lw’essaawa eziwerako, ng’omuntu gwe yali ayita mukwano gwe amusobezzaako.—Geraageranya Olubereberye 34:2.
Wadde ng’okukola emikwano n’abatali bakkiriza oluusi tekiba kya kabi kutuuka awo, Baibuli erabula nti: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” (Nge. 13:20) Kino tekiriiko kubuusabuusa—okukola emukwano n’abantu ababi kya mutawaana! Engero 22:3 wagamba nti: “Omuntu omuteegevu alaba akabi ne yeekweka: naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.” Yee, mikwano gyaffe girina kinene kye gitukolako era ne kye gikola ku nkolagana yaffe ne Katonda.—1 Kol. 15:33; Yak. 4:4.
Mu Nnyambala n’Okwekolako
Emisono gikyuka buli kiseera, naye gyo emisingi gya Baibuli egikwata ku nnyambala n’okwekolako tegikyuka. Pawulo yakubiriza abakazi Abakristaayo ‘okwekolako nga bambala ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa era nga beegendereza’—omusingi guno gutwaliramu n’abasajja. (1 Tim. 2:9, NW) Pawulo yali tagamba nti kibi okwambala ebintu ebiri ku mulembe, oba nti Abakristaayo bonna balina okwambala mu ngeri y’emu. Ate kiri kitya ku byambalo ebiweesa ekitiibwa? Okusinziira ku nkuluze emu, omuntu aweesa ekitiibwa ‘taba na malala era teyeeraga. Ayambala, ayogera era yeeyisa mu ngeri esaana.’
Tulina okwebuuza: ‘Ddala nnyinza okugamba nti ennyambala yange eweesa ekitiibwa nga nnemedde ku kwambala nga bwe njagala era mu ngeri esamaaliriza abalala? Engeri gye nnyambalamu ereetera abalala okulowooza nti ndi wa mpisa mbi?’ Tusaanidde okwewala ‘okufuuka enkonge’ mu nsonga eno nga ‘tetutunuulira byaffe byokka, wabula n’eby’abalala.’—2 Kol. 6:3; Baf. 2:4.
Mu bya Bizineesi
Olw’omuze gw’obukumpanya ogwali guzzeewo mu kibiina ky’e Kkolinso, Pawulo yawandiika nti: “Lwaki temumala gakkiriza ne mukolwa obubi? Lwaki temumala gakkiriza ne mukumpanyizibwa?” Pawulo yakubiriza Abakristaayo bakkirize okufiirwa mu kifo ky’okutwala baganda baabwe mu kkooti. (1 Kol. 6:1-7, NW) Ow’oluganda omu ow’omu Amerika yakolera ku kubuulirira okwo. Yali afunye obutakkaanya ne mukama we Omukristaayo olw’obutamusasula musaala gwe. Baagezaako emirundi egiwera okugonjoola ensonga eyo ng’Ebyawandiikibwa bwe biragira, naye baalemwa okutuuka ku ntegeeragana. Oluvannyuma ensonga baazitwala ‘eri ekibiina,’ oba eri abakadde mu kibiina.—Mat. 18:15-17.
Kya nnaku nti ensonga yagaana okuggwa. Oluvannyuma lw’okusaba ennyo, ow’oluganda oyo yasalawo okufiirwa ssente ezisinga ze yali abanja. Lwaki? Yagamba nti, “Obutakkaanya obwo bwali bummalako essanyu awamu n’ebiseera bye nnali nnyinza okukoleramu ebintu ebinnyamba mu by’omwoyo.” Ng’amaze okusalawo bw’atyo, ow’oluganda oyo yaddamu okuba omusanyufu, n’okuwulira nti afuna emikisa gya Yakuwa mu buweereza bwe.
Ne mu Bintu Ebitono
Obutalemera ku kukola kye twagala kireeta emikisa ne mu bintu ebitono. Ku lunaku olusooka olw’olukuŋŋaana lwa disitulikiti, omwami omu ne mukyala we abaweereza nga bapayoniya baatuuka bukyali ne bafuna ebifo we baali baagala okutuula. Programu bwe yali etandika omwami omu n’ab’omu maka ge abawerako baayingira mu kisaawe ekyali kikubyeko. Bapayoniya bwe baakiraba nti abantu abo baali tebafunye bifo bya kutuulamu bimala, baasituka mu bifo byabwe ne babibalekera. Kino kyasobozesa ab’omu maka ago bonna okutuula awamu. Mu nnaku ntono ng’olukuŋŋaana olwo luwedde, bapayoniya baafuna ebbaluwa ebeebaza okuva eri ab’omu maka ago. Baalaga mu bbaluwa eyo nti okutuuka ekikeerezi ku lukuŋŋaana kyabayisa bubi nnyo. Baabagamba nti baawulira essanyu lya maanyi era baasiima nnyo olw’ekisa kye baabalaga.
Bwe kiba nga kyetaagisa, ka tube beetegefu okuleka ffe kye twagala ku lw’obulungi bw’abalala. Bwe tunaalaga okwagala ‘okutanoonya byakwo,’ tujja kuba tuyamba okukuuma emirembe mu kibiina era ne wakati waffe ne baliraanwa baffe. (1 Kol. 13:5) N’okusinga byonna, tujja kukuuma omukwano gwaffe ne Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Oli mwetegefu okuleka emisono gy’oyagala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20, 21]
Oli mwetegefu okuva w’obadde otudde olekerewo muganda wo?