Semberera Katonda
Omutonzi Agwanidde Okutenderezebwa
WALI weebuuzizzaako obanga obulamu bulina ekigendererwa? Abo abatakkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa tebamanyi kya kuddamu. Bwe kityo si bwe kiri eri abo abamanyi ekituufu nti Yakuwa Katonda ye Nsibuko y’obulamu. (Zabbuli 36:9) Bakimanyi bulungi nti yalina ekigendererwa ng’atutonda. Ekigendererwa ekyo kisangibwa mu Okubikkulirwa 4:11. Ebigambo ebyo, ebyawandiikibwa omutume Yokaana, binnyonnyola ensonga lwaki tuli ku nsi. Ka tubyetegereze.
Yokaana ayogera bw’ati ku maloboozi ge yawulira mu ggulu nga gatendereza Katonda: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Yakuwa yekka y’agwaniide okuweebwa ekitiibwa ng’ekyo. Lwaki? Kubanga ‘ye yatonda ebintu byonna.’ Kati olwo, ebitonde bye byonna ebirina amagezi bisaanidde kukola ki?
Kigambibwa nti Yakuwa agwanidde “okuweebwanga” ekitiibwa, ettendo, n’obuyinza. Tewali kubuusabuusa nti ye Muntu asingayo okuba ow’ekitiibwa, era ow’amaanyi mu nsi yonna. Kyokka, abantu abasinga obungi tebamuwa kitiibwa kye ng’Omutonzi. Wadde kiri kityo, waliwo abo abasobola okulaba ‘engeri ze ezitalabika’ okuyitira mu bintu bye yatonda. (Abaruumi 1:20) Olw’emitima egijjudde okusiima, bawa Yakuwa ekitiibwa n’ettendo. Bategeeza buli eyandyagadde okufuna obukakafu obulaga nti Yakuwa ye yatonda ebintu byonna era nti ye gwe tugwanidde okusinza.—Zabbuli 19:1, 2; 139:14.
Naye, abantu abasinza Yakuwa bamuwa batya obuyinza? Kya lwatu nti tewali kitonde kyonna kiyinza kuwa Mutonzi wa bintu byonna buyinza. (Isaaya. 40:25, 26) Naye olw’okuba twakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, tulina engeri ng’ezize, ng’emu ku zo ge maanyi. (Olubereberye 1:27) Okusiima ebintu Omutonzi waffe by’atukoledde kyandituleetedde okukozesa obuyinza bwaffe n’amaanyi gaffe okumuwa ekitiibwa n’okumugulumiza. Mu kifo ky’okumalira amaanyi gaffe mu kukola bye twagala, tusaanidde okugakozesa gonna nga tuweereza Yakuwa Katonda.—Makko 12:30.
Kati olwo lwaki tuli ku nsi? Okubikkulirwa 4:11 wamaliriza bwe wati: “Kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Si ffe twasalawo nti tutondebwe. Katonda ye yasalawo okututonda. Eno ye nsonga lwaki obulamu tebuba na makulu bwe tubukozesa okunoonya ebyaffe ku bwaffe. Okusobola okufuna emirembe, essanyu, n’obumativu, tulina okuyiga Katonda by’ayagala era ne tufuba okubikola. Eyo y’engeri yokka gye tusobola okumanya ensonga lwaki twatondebwa.—Zabbuli 40:8.
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
NASA, ESA, and A. Nota (STScI)