Ebbaluwa Eyava e Ghana
Olunaku Kafulu mu Kalati lwe Yalekera awo Okumuzannya
EKIFAANYI kye nnafuna bwe nnammulaba si kye nnali nsuubiira. Yali mu bigere byerere ng’ayambadde ekyambalo ekyeru, nga yesibye n’omusipi omuddugavu mu kiwato. Yali ayimiriridde ddala ng’omuntu agenda okulwana, ng’emikono agikakanyazza, era ng’agaziyizza n’amagulu. Yenna yali asibye emitaafu, nga n’amaaso gatunuza bukambwe.
Nnagenda okulaba ng’akuba oluta omulundi gumu ng’eno bw’alekaana nti “Yaati!” Omukono gwe gw’akuba akabaawo ne kamenyeka bwe ppaa!, ne kagwa wansi. Yakyuka n’abuuka ne yeetooloolera mu bbanga, ng’ebigere n’emikono abitadde we bisobolera okukuba n’okusamba oyo yenna amwaŋŋanga. Ddala ono ye musajja eyali ampise okumuyigiriza Baibuli?
Nnasembera ne mmukwata mu ngalo, era ne mmugamba nti: “Oteekwa okuba nga ggwe Kojo. Nnakitegeddeko nti oyagala okuyiga Baibuli.” Nga bw’anyweza engalo zange, yateekako akamwenyumwenyu, n’amaaso amakambwe ge nnali ndabye ne gafuuka ga kisa, nga kyeyoleka bulungi nti yalina by’ayagala okumanya. Yaddamu nti: “Yee, njagala nnyo okuyiga Baibuli. Tunaatandika ddi?”
Twatuula ku lubalaza lw’ennyumba ye ne tuggyayo obutabo bwaffe ne Baibuli. Wabweru waali waweweevu bulungi, wasirifu era nga tewali bantu balala. Twaliwo basatu ffekka: Nze, Kojo, n’akakima ke. Akakima kano akaali kaweza yinci nga 14 obuwanvu, kaali katunula ngeri olw’okuba kaalina ebyoya ebimyufu ku mutwe n’ekirevu ekyeru. Kaali kazannyirira nnyo, katunuulira buli kantu, keetala buli wamu, kalinnyirira ebitabo byaffe, katunyakulako ekkalaamu, era nga katukwata mu nsawo okulaba oba nga mulimu ekintu kyonna. Okufaananako omuzadde eyamanyiira obwana okumulekaanira n’okumutawanya, ebirowoozo bya Kojo byonna byali ku kusoma. Ebibuuzo ebingi bye yabuuza byandaga nti yalina by’alowooza bingi, era nti yali mwetegefu okuyiga. Oboolyawo omuzannyo gwa kalati gwamuyigiriza okuba omwegendereza kubanga yali takkiriza kintu kyonna nga tamaze kulaba bukakafu bumatiza kuva mu Byawandiikibwa.
Okusoma kwaffe kwagenda mu maaso. Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnakiraba nti yalina ekintu ekirala kye yali alwanagana nakyo mu mutima gwe. Lumu yaŋŋamba nti: “Ekintu kyokka ekinnyumira mu nsi muno kwe kukuba kalati.” Nnali nkiraba nti ddala omusajja oyo yali ayagala nnyo omuzannyo ogwo, era yali afuuse kafulu mu gwo. Ku myaka 26 gyokka, yali azannye omuzannyo ogwo n’atuuka ku ddaala ery’omusipi omuddugavu, nga lino batono nnyo abalituukako.
Nnali simanyi Kojo ky’agenda kusalawo. Yali akitegedde bulungi nti okukuba kalati, omuli okukozesa emikono gye n’amagulu ge okulumya abalala, tekikwatagana na ngeri gamba ng’okwagala, obusaasizi, ekisa, n’okufaayo ku balala, engeri Abakristaayo ab’amazima ze balina okwoleka. Era nnali nkimanyi nti Baibuli ekyusizza abantu abalina emitima emikakanyavu n’okusingako awo. Bwe kyandibadde nti omutima gwe ddala mulungi, Kojo yandigenze agonda mpolampola olw’amaanyi g’Ekigambo kya Katonda. Nnalina okuba omugumiikiriza.
Lumu olweggulo bwe twali tunaatera okumala okusoma, twasoma ekyawandiikibwa mu Baibuli ekyaleetera Kojo okwekanga n’aba nga gwe basambye tteke. Yasoma nti: “Mukama akema abatuukirivu: naye omubi n’oyo ayagala [eby’ettemu] emmeeme ye ebakyawa.” (Zabbuli 11:5) Mu ddoboozi erya wansi yaddamu n’agamba nti, ‘ayagala eby’ettemu!’ Omusajja oyo eyali omumalirivu era omukakanyavu yakyuka n’antunuulira nga bw’amwenya n’aŋŋamba nti: “Nsazeewo.”
Omulimu nze ne Kojo gwe tukola kati gwe tusinga okwagala—tukola nga bannakyewa nga tusomesa abantu Baibuli ku bwereere. Lumu ku makya twalina okukyalira omuvubuka omu ayitibwa Luke.
Bwe twali tugenda ewuwe, ekkubo lye twakwata lyali liyita mu katale. Twalaba ebikumi n’ebikumi by’emidaala n’abantu nga batunda ebintu ebitali bimu: kaamulari, ennyaanya, leediyo, manvuuli, ssabbuuni, amasefuliya, nga kw’otadde engoye enkadde n’engatto. Twalaba abawala abeetisse amaseffuliya omuli emmere ewunya akawowo. Baagendanga bayita mu bantu basobole okubasikiriza okugula ku nva z’ebyennyanja, amakovu n’ebirala, ze baali batunda. Embwa, embuzi, n’enkoko byali bitaayaya buli wantu. Abantu baali boogerera waggulu, nga leediyo zitumbuddwa, nga n’emmotoka zifuuwa eŋŋombe
Nga tumaze okuyita mu kabuga omwali akatale, twakwata akakubo ak’ettaka akaatutuusa ku kizimbe ekikadde ennyo ekyaliko akapande akagamba: “Long Journey Spot.” Bwe twatuuka, Luke, omuvubuka ayali asoba mu myaka 20, yasinziira mu mulyango n’atuyita tuve mu kasana. Ennyumba ye yali ejjudde ebisawo n’ebibokisi omuli ebikoola ebikalu, emirandira n’ebipapajjo by’emiti—byali bya ssenga we eyali omusawo ajjanjabisa eddagala ly’ekinnansi. Yalina obumanyirivu mu kusekula n’okukola eddagala lye yajjanjabisanga endwadde eza buli ngeri. Luke yali akimanyi nti twali ba kujja, kubanga ebintu byonna yali abipanze ku ludda lumu, n’ateekawo obutebe busatu. Okwo kwe twatuula nga tulinaaniganye ne tutandika okumusomesa Baibuli.
Kojo ye yali asomesa Luke Baibuli. Bwe ntyo, nze nnatuula butuuzi ne mpuliriza Kojo ng’akozesa Baibuli okunnyonnyola muvubuka munne lwaki waliwo okubonaabona kungi nnyo mu nsi. Kojo bwe yakunukkiriza okuyamba Luke okuzuula ekyawandiikibwa, nneewuunya okulaba emikono egy’amaanyi bwe gityo nga gibikkula Baibuli n’obwegendereza obw’ekitalo. Mu kaseera ako nnina kye nnajjukira. Mu bbanga si ddene emabega, emikono egyo gyali gikola gwa kulwana. Yee, amaanyi g’Ekigambo kya Katonda gakyusa omuntu abadde n’engeri embi ennyo, ne gamufuula ow’ekisa era alina okwagala. Teri kintu kireeta ssanyu kusinga ekyo.
Bwe twali tudda eka, twayogerako n’omusajja gwe twasanga atudde wansi w’omuti gw’omuyembe. Nnasirika ne mpuliriza nga Kojo amusomera ekyawandiikibwa okuva mu Baibuli. Omusajja oyo bwe yakitegeera nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa, yasituka n’ayimirira. Yatuboggokera n’agamba nti, “Bantu mmwe mwantama!” Amangu ago Kojo yaswakiira. Naye mu kaseera buseera, yakkakkana, ne tutambula ne tumuviira.
Bwe twatuuka eyo mu kkubo, Kojo yayimirira n’agamba nti: “Mpulidde obusungu nga bujula okunzita bw’ayogedde bw’atyo. Omanyi kye nnandikoze omusajja oyo?” Nnamuddamu nga bwe mweenya nti, “Nkimanyi bulungi.” Kojo naye yateekako akamwenyumwenyu, ne tweyongerayo.