Okukkiriza Kwange Kwannyamba Okwolekagana n’Ebizibu
Byayogerwa Soledad Castillo
Waabangawo ebiseera lwe nnawuliranga ng’ekiwuubaalo kijula kunzita—naye nnasobola okubiyitamu. Nnali mpeza emyaka 34, omwami wange n’afa. Waayita emyaka mukaaga ne kitange n’afa. Nga wayise emyezi munaana bukya kitange afa, kyazuulibwa nti omwana omulenzi yekka gwe nnalina yalina obulwadde obutawona.
ERINNYA lyange nze Soledad. Wadde ng’erinnya eryo litegeeza “Ekiwuubaalo,” tewali na lumu lwe nnali mpulidde nga ndekeddwa ttayo. Bwe nnafuna ebizibu, nnali mukakafu nti Yakuwa Katonda ali nange, era nti ‘ankutte ku mukono okunnyamba nneme kutya.’ (Isaaya 41:13) Ka nnyinnyonnyole engeri gye nnasobola okugumira ebizibu bye nnafuna, n’engeri gye byannyamba okusemberera Yakuwa.
Obulamu obw’Essanyu Omutaali Nnyo Bizibu
Nnazaalibwa mu kibuga Barcelona eky’omu Spain, nga Maayi 3, 1961, era bazadde bange José ne Soledad nze gwe baazaala nzekka. Maama wange yayiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda nga ndi wa myaka mwenda. Yalina ebintu bingi bye yeebuuza naye ng’ebiyigirizibwa mu ddiini ye tebimumatiza. Lumu, Abajulirwa ba Yakuwa babiri baamukyalira awaka era ne baddamu ebibuuzo bye byonna nga bakozesa Baibuli. Yakkiriza okutandika okuyiga Baibuli.
Mu bbanga ttono maama yabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, era waayita emyaka mitono ne taata n’abatizibwa. Eliana, eyasomesanga maama, yakiraba mangu nti nnali njagala nnyo Ekigambo kya Katonda. Wadde nga nnali nkyali kawala kato, Eliana yagamba nti nnali nsanidde okusomesebwa Baibuli. Bw’atyo yatandika okunsomesa, nga ne maama bw’anzizaamu amaanyi, era nnabatizibwa nga nnina emyaka 13.
Bwe nnali mu myaka gyange egy’obutiini, nnateranga nnyo okusaba Yakuwa—naddala bwe nnabanga nnina kye njagala okusalawo. Mu butuufu, nnafuna ebizibu bitono ddala mu myaka gyange egy’obuvubuka. Nnalina emikwano mingi mu kibiina, era nnali nkolagana bulungi nnyo ne bazadde bange. Mu 1982, nnafumbirwa Felipe eyali Omujulirwa wa Yakuwa, era ffembi twalina ebiruubirirwa by’eby’omwoyo bye bimu.
Tuyamba Omwana Waffe Okwagala Yakuwa
Waayita emyaka etaano ne nzaala omwana omulenzi, era twamutuuma erinnya Saúl. Nze ne Felipe twasanyuka nnyo okufuna omwana. Twalina essuubi nti Saúl ajja kukula nga mulamu bulungi, era ng’ayagala nnyo Katonda. Twabeeranga nnyo Saúl nga tumuyigiriza ebikwata ku Yakuwa, nga tulya naye, nga tutambulako naye, era nga tuzannya naye. Saúl yayagalanga nnyo okugenda ne Felipe okuyigiriza abantu Baibuli, era Felipe yamutendeka mu buweereza okuviira ddala nga muto, ng’amulaga bwe bakuba akade nga batuuse ku luggi era ng’amuyigiriza okuwa abantu butulakiti.
Okwagala kwe twalaga Saúl n’okufuba okutendeka tebyagwa butaka. Yagenda okuweza emyaka omukaaga, nga takyasigala mabega nga tugenda okubuulira. Yali anyumirwa nnyo engero z’omu Baibuli, era yeesunganga nnyo ebiseera bye twasomeranga awamu Baibuli. Bwe yatandika okusoma, yatandika okukozesa bye yali ayize mu Baibuli okwesalirawo mu bintu ebitonotono.
Kyokka, twafuna ekizibu eky’amaanyi mu maka gaffe nga Saúl wa myaka musanvu. Felipe yafuna obulwadde obw’akabi mu mawuggwe. Yalwana n’obulwadde obwo okumala emyezi 11, ng’ali ku ndiri takyakola. Yafa nga wa myaka 36.
Na buli kati amaziga gannyunguka bwe nzijjukira omwaka ogwo. Obulwadde bwaluma omwami wange okutuusa lwe yafa nga ssirina kye nsobola kukola kumuyamba. Mu kiseera ekyo kyonna, nnagezaako okugumya Felipe, wadde nga muli nnali nkiraba nti tewali ssuubi nti ajja kuwona. Nnamusomera ebitabo byaffe ebinnyonnyola Ebyawandiikibwa, era kino kyatuzzangamu amaanyi ffembi nga tetusobodde kugenda mu nkuŋŋaana za Kikristaayo. Bwe yafa, nnawulira ekiwuubaalo eky’amaanyi.
Naye Yakuwa yaŋŋumya. Nnamusabanga buli kiseera okumpa omwoyo gwe. Nnamwebaza olw’emyaka egy’essanyu gye nnamala ne Felipe n’olw’okuba n’essuubi nti nja kuddamu okumulaba ng’azuukidde. Nnasaba Katonda annyambe okuba omusanyufu olw’ebirungi bye twatuukako nga ndi n’omwami wange, era nnamwegayirira ampe amagezi nkuze bulungi omwana waffe afuuke Omukristaayo ow’amazima. Wadde nga nnali mu nnaku ya maanyi, nnawulira nga ŋŋumye.
Bazadde bange wamu n’ab’oluganda mu kibiina bannyamba nnyo. Naye era nze nnali nvunaanyizibwa okuyigiriza Saúl Baibuli n’okumuyamba okufuuka omuweereza wa Yakuwa. Omu ku bantu be nnali nnakolerako yampa omulimu gwa ofiisi omulungi, naye nnasalawo okukola ogw’okuyonja nsobole okuba n’ebiseera ebimala okubeera ne Saúl, naddala ng’akomyewo okuva ku ssomero.
Ekyawandiikibwa kino kyanzijukiza nnyo obukulu bw’okuyamba Saúl mu by’omwoyo: “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.” (Engero 22:6) Kyampa essuubi nti bwe nandinyiikidde okukuliza Saúl ku mutindo gw’eby’omwoyo omulungi, Yakuwa yandinnyambye. Kituufu nti nnalina okwerekereza ebirungi mu bulamu, naye okufuna ebiseera okuba n’omwana wange kyali okusingira okufuna ebintu.
Saúl yali aweza emyaka 14 kitange n’afa. Kino Saúl kyamuyisa bubi nnyo, kubanga kyamujjukiza ennaku y’okufiirwa kitaawe. Taata yali ataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kuweereza Yakuwa. Jjajjaawe bwe yamala okufa, Saúl yasalawo nti olw’okuba ye “musajja” yekka eyali asigadde mu maka, yali alina okulabirira maama we ne jjajjaawe omukazi.
Ameggana ne Kkansa w’Omu Musaayi
Nga wayise emyezi munaana bukya kitange afa, omusawo waffe yaŋŋamba ntwale Saúl mu ddwaliro, olw’okuba yali awulira nga buli kiseera aba mukoowu nnyo. Oluvannyuma lw’okumukebera, omusawo yakantema nti Saúl yalina kkansa w’omu musaayi.a
Mu myaka ebiri n’ekitundu egyaddirira, Saúl yali tava mu ddwaliro era kkansa awamu n’eddalaga eryali limuweebwa okumulwanyisa byombi byamuyisa bubi nnyo. Obujjanjabi bwe yafuna mu myezi omukaaga egyasooka bw’amuyamba okukkakkanya ku bulwadde obwo okumala emyezi 18. Bwe bwaddamu okumuluma, eddagala eryakozesebwa okugezaako okumuyamba lyamunafuya nnyo. Ku mulundi ogwo kkansa yasiriikiriramu katono n’adda, ng’ate Saúl yali takyasobola ddagala lya maanyi bwe lityo. Saúl we yafiira, yali amaze okwewaayo eri Yakuwa era yali ayagala abatizibwe ng’omu ku Bajulirwa be. Yafa alina emyaka 17.
Olw’okuba eddagala erirwanyisa kkansa lya maanyi nnyo, abasawo batera okuteekamu abalwadde omusaayi baleme kunafuwa nnyo. Kya lwatu nti okuteekebwamu omusaayi tekiwonya kkansa. Abasawo bwe baakizuula nti Saúl alina kkansa, nze ne Saúl twabategeeza nti tetukkiriza kuteekebwamu musaayi, olw’okuba Yakuwa yatulagira ‘okwewalanga omusaayi.’ (Ebikolwa 15:19, 20) Enfunda eziwerako, Saúl yalina okunnyonnyola abasawo nga ssiriiwo nti eky’obutateekebwamu musaayi ye yali akyesaliddewo ku lulwe. (Laba akasanduuko ku lupapula 21.)
Abasawo baasobola okukiraba nti wadde Saúl yali muto, yali etegeera bulungi ebikwata ku bulwadde obumuluma. Bakkiriza okukola nga bwe twabasaba ne bamujjanjaba nga tebakozesezza musaayi, wadde nga buli kiseera baagezangako okulaba nti tukyusa endowooza yaffe. Kyampanga nnyo essanyu okuwulira Saúl ng’annyonnyola abasawo lwaki takkiriza musaayi. Tewali kubuusabuusa nti yali afunye enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa.
Mu kiseera we twamanyira nti Saúl alina kkansa, we twafunira akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa ku lukuŋŋaana olunene olwali e Barcelona. Akatabo ako kaatuyamba nnyo okuba abanywevu mu kiseera ekyo ekyali ekizibu nga tetumanyi byali bigenda kuddirira. We twabeerera mu ddwaliro, twakasomamu ebintu bingi. Emirundi mingi twejjukanyanga bye twabanga tusomye mu katabo ako. Ekyo kye kiseera ebigambo ebiri mu Isaaya 41:13, ebyogerwako mu nnyanjula y’akatabo ako, we byafuukira eby’amakulu ennyo gye tuli. Olunyiriri olwo lugamba: “Kubanga nze Mukama Katonda wo naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze naakuyambanga.”
Okukkiriza kwa Saúl Kukwata ku Balala
Enneyisa ya Saúl ey’ekikulu n’essuubi lye erinywevu byewuunyisa nnyo abasawo ne bannansi b’omu ddwaliro ly’e Vall d’Hebrón. Yakola omukwano n’abasawo bonna abaali bamujjanjaba. Okuva olwo, omusawo akulira eby’omusaayi mu kitongole ekijjanjaba kkansa abadde abajjanjaba abaana Abajulirwa abalina kkansa era ng’abawa ekitiibwa. Akyajjukira engeri Saúl gye yanywerera ku nzikiriza ye, obuvumu bwe yalaga ng’ayolekedde okufa, n’okuba nti yasigala musanyufu. Bannansi baagamba Saúl nti ye mulwadde gwe baajjanjaba mu ddwaliro eryo eyasinga bonna obulungi. Baagamba nti teyeemulugunyako mulundi na gumu era nti teyalekayo kusaaga nabo—ne bwe yali ng’anaatera okufa.
Omusawo omu yaŋŋamba nti abaana bangi ab’emyaka egyo bwe baba n’obulwadde nnamutta ng’obwo, batera okujeemera abasawo n’abazadde olw’obulumi obw’amaanyi n’okwekyawa. Yakiraba nti ku Saúl bwe kityo si bwe kyali. Omukyala oyo yeewuunya nnyo okulaba Saúl nga mukkakkamu era nga musanyufu. Kino kyatuwa nze ne Saúl akakisa okuwa omusawo oyo obujulirwa ku nzikiriza yaffe.
Era nzijukira nti Saúl alina engeri gye yayambamu Omujulirwa omu mu kibiina kyaffe. Yali amegganye n’obulwadde bw’okwenyamira okumala emyaka mukaaga, nga n’eddagala lyonna erimuweereddwa terimuyambye. Emirundi egiwerako, yasula mu ddwaliro ng’alabirira Saúl. Yaŋŋamba nti engeri Saúl gye yayolekaganamu n’obulwadde yamukwatako nnyo. Yakiraba nti wadde nga Saúl obulwadde bwali bumunafuya nnyo, yafubanga okuzzaamu buli eyamukyaliranga amaanyi. Omujulirwa oyo agamba nti: “Ekyokulabirako kya Saúl kyannyamba nnyo mu kulwanyisa obulwadde bw’okwennyamira.”
Kati wayise emyaka esatu bukya Saúl afa. Na buli kati nkyawulira ennaku. Sinnaba kuguma bulungi, naye Katonda ampadde “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Abakkolinso 4:7, NW) Nkiyize nti omuntu ne bw’afuna ebizibu eby’amaanyi ennyo, waliwo ebirungi ebisobola okuvaamu. Okuyiga okugumira ennaku y’okufiirwa omwami wange, kitange, ne mutabani wange kinjigirizza obuteefako nzekka, n’okulaga abo ababonaabona obusaasizi. N’okusinga byonna, kinnyambye okusemberera Yakuwa. Nsobola okwaŋŋanga ebiseera by’omu maaso awatali kutya kubanga Kitange ow’omu ggulu ajja kunnyamba. Na kati akyankutte ku mukono.
[Obugambo obuli wansi]
a Kkansa Saúl gwe yalina y’oyo asaanyawo obutoffaali obweru obw’omu musaayi.
[Akasanduuko akali ku lupapula 21]
WALI WEEBUUZIZZAAKO?
Oyinza okuba nga wawulirako nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza kuweebwa musaayi. Omanyi ensonga lwaki tebagukkiriza?
Kino kiri bwe kityo lwa kuba Baibuli bw’etyo bw’eragira, wadde nga bangi kino tebagitegeera. Abantu abamu balowooza nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza bujjanjabi bwonna okutwalira awamu oba nti obulamu tebabutwala ng’ekintu ekikulu. Naye ekyo si kituufu. Abajulirwa ba Yakuwa awamu n’ab’omu maka gaabwe baagala okujjanjabibwa obulungi. Kyokka, tebakkiriza bujjanjabi buzingiramu kukozesa musaayi. Lwaki?
Kubanga waliwo etteeka ekkulu ennyo Katonda lye yawa abantu. Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa bwe gaali gaakaggwa, Katonda yakkiriza Nuuwa n’ab’omu maka ge okulya ennyama y’ensolo. Naye omusaayi yabagaana okugulya. (Olubereberye 9:3, 4) Olw’okuba abantu bonna baava mu Nuuwa, etteeka eryo libatwaliramu bonna. Teriggyibwangawo okuva olwo. Nga wayise ebyasa munaana, Katonda yaggumiza etteeka eryo eri eggwanga lya Isiraeri, n’annyonnyola nti omusaayi mutukuvu, era nti gukiikirira bulamu bwennyini. (Eby’Abaleevi 17:14) Nga wayise emyaka egissuka mu 1,500, abatume ba Yesu baalagira Abakristaayo bonna “okwewalanga . . . omusaayi.”—Ebikolwa 15:29.
Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti tekisoboka muntu kugamba nti yeewala omusaayi ng’ate akkiriza okugumuteekamu. Eno ye nsonga lwaki enzijanjaba zokka ze bakkiriza zeezo ezitazingiramu kukozesa musaayi. Olw’okugondera etteeka lino ery’omu Byawandiikibwa emirundi mingi kibayamba okufuna obujjanjabi obulungi okusinga ku bwa bulijjo. Eno ye nsonga lwaki abantu bangi abatali Bajulirwa ba Yakuwa nabo basaba okuweebwa obujjanjabi obutazingiramu kukozesa musaayi.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Nga ndi ne mwami wange Felipe ne mutabani waffe Saúl
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Bazadde bange José and Soledad
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Saúl, omwezi gumu nga tannafa