Kuuma ‘Omuguwa ogw’Emiyondo Esatu’ ogw’Obufumbo
“Omuguwa ogw’emiyondo esatu tegutera kukutuka.”—MUB. 4:12.
1. Ani yagatta abantu ababiri abaasooka?
YAKUWA KATONDA bwe yamala okutonda ebimera n’ensolo, n’akola omuntu eyasooka, Adamu. Oluvannyuma Katonda yaleetera Adamu otulo tungi, era yaddira olubiriizi lwe n’amukolera omubeezi eyali atuukiridde. Bwe yalaba omubeezi oyo, Adamu yagamba nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange.” (Lub. 1:27; 2:18, 21-23) Yakuwa yalaga nti kino kyali kirungi bwe yagatta omukazi oyo n’omusajja abaasooka, era n’abawa omukisa.—Lub. 1:28; 2:24.
2. Setaani yaleetawo atya enjawukana wakati wa Adamu ne Kaawa?
2 Kya nnaku nti mu bbanga ttono enteekateeka ya Katonda eyo ey’obufumbo yaggyamu obuzibu. Mu ngeri ki? Malayika omubi, eyafuuka Setaani, yalimbalimba Kaawa n’alya ku muti bombi gwe baali bagaaniddwa okulyako. Oluvannyuma Adamu yeegatta ku mukazi we ne bajeemera Katonda eyali agwanidde okubafuga n’okubawa obulagirizi. (Lub. 3:1-7) Yakuwa bwe yababuuza kye baali bakoze, kyeyoleka bulungi nti enkolagana yaabwe mu bufumbo yali emaze okwonooneka. Adamu omusango yagussa ku mukazi we n’agamba nti: “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku muti ne ndya.”—Lub. 3:11-13.
3. Ndowooza ki enkyamu Abayudaaya abamu gye baafuna?
3 Okuva olwo, Setaani abadde akozesa engeri ezitali zimu okuleetawo enjawukana mu bufumbo. Ng’ekyokulabirako, oluusi akozesa abakulembeze b’eddiini okuyigiriza ebintu ebikyamu ku bufumbo. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abamu baabuusanga emitindo gya Katonda amaaso ne bakkiriza abasajja okugoba bakazi baabwe olw’ensonga ezitaliimu, gamba ng’okussa omunnyo omungi mu mmere. Naye ye Yesu yagamba nti: “Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw’obwenzi, n’awasa omulala, ng’ayenze.”—Mat. 19:9.
4. Bintu ki ebyonoona enteekateeka y’obufumbo leero?
4 Na buli kati Setaani akyagezaako okulaba nti ayonoona enteekateeka y’obufumbo. Abalyi b’ebisiyaga okuba nti bagattibwa, abasajja okuba nti babeera n’abakazi be batagattiddwa nabo, n’okuba nti kyangu okugattulula obufumbo, byonna biraga nti obukodyo bw’akozesa okwonoona obufumbo bukola. (Soma Abaebbulaniya 13:4.) Ng’Abakristaayo, tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa endowooza enkyamu ezikwata ku bufumbo? Ka twetegereze ebimu ku bintu ebireeta essanyu mu bufumbo.
Mukuumire Yakuwa mu Bufumbo
5. Ebigambo “omug[u]wa ogw’emiyondo essatu” birina makulu ki agakwata ku bufumbo?
5 Obufumbo okusobola okugenda obulungi, Yakuwa alina okububaamu. Ekigambo kye kigamba: “Omug[u]wa ogw’emiyondo esatu tegutera kukutuka.” (Mub. 4:12) Ebigambo “omug[u]wa ogw’emiyondo esatu” bikozesebwa mu ngeri ya kabonero. Bwe kituuka ku bufumbo, emiyondo ebiri, ng’ono ye mwami n’omukyala, girina kuzingirirwa ku muyondo omukulu, Yakuwa Katonda. Okunywerera ku Katonda kiyamba abafumbo okugumira ebizibu, era kye kisingayo okubaleetera essanyu mu bufumbo.
6, 7. (a) Abakristaayo bayinza kukola ki okulaba nti Katonda abeera mu bufumbo bwabwe? (b) Kiki mwannyinaffe omu ky’asinga okwagala ku bba?
6 Ate abafumbo bo basaanidde kukola ki okulaba nti obufumbo bwabwe buba ng’omuguwa ogw’emiyondo esatu? Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yagamba nti: “Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” (Zab. 40:8) Naffe okwagala kwe tulina eri Katonda kutuleetera okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. Bwe kityo, omwami n’omukyala bombi balina okufuba okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa n’okukola by’ayagala. Era buli omu mu bufumbo alina okufuba okuyamba munne yeeyongere okwagala Katonda.—Nge. 27:17.
7 Amateeka ga Katonda bwe gaba mu mitima gyaffe, gatuyamba okwoleka engeri ezinyweza obufumbo bwaffe, gamba ng’okukkiriza, okusuubira, n’okwagala. (1 Kol. 13:13) Sandra, Omukristaayo eyaakamala emyaka 50 mu bufumbo, agamba nti: “Kye nsinga okwagala ku mwami wange kwe kuba nti ampa amagezi amalungi, annyamba mu by’omwoyo, era ayagala nnyo Yakuwa n’okusinga bw’anjagala.” Abasajja, bakazi bammwe basobola okuboogerako bwe batyo?
8. Kiki ekyetaagisa okusobola okufuna “empeera ennungi” mu bufumbo?
8 Abafumbo, Obwakabaka n’eby’omwoyo mubiteeka mu kifo ekisooka? Era mukyala wo oba mwami wo ddala omutwala nga munno bwe muweerereza awamu Yakuwa? (Lub. 2:24) Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Babiri basinga omu; kubanga baba n’empeera ennungi olw’okutegana kwabwe.” (Mub. 4:9) Yee, omusajja n’omukazi kibeetaagisa okufuba ennyo okusobola okufuna “empeera ennungi” ey’obufumbo obunywevu, era obulimu okwagala n’emikisa gya Katonda.
9. (a) Abaami balina buvunaanyizibwa ki? (b) Okusinziira ku Abakkolosaayi 3:19, omusajja asaanidde kuyisa atya mukazi we?
9 Ekimu ku biraga nti obufumbo bulimu Katonda kwe kuba nti omwami n’omukyala bafuba okutambulira ku mitindo gye. Abaami be balina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka gaabwe mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. (1 Tim. 5:8) Ate era bakubirizibwa okufaayo ku nneewulira za bakazi baabwe. Abakkolosaayi 3:19 wagamba nti: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe.” Omwekenneenya wa Baibuli omu agamba nti ebigambo ‘okukwatirwa obukambwe’ bizingiramu “okubaboggolera oba okubakuba, obutabalabirira, obutabakuuma, obutabayamba, okugaana okubafaako n’okubalaga okwagala.” Kya lwatu nti enneeyisa ng’eyo tesaana mu maka Makristaayo. Omusajja bw’akulembera obulungi amaka ge, mukazi we ayanguyira okumugondera.
10. Abakazi Abakristaayo balina kuba na ndowooza ki?
10 Abakazi Abakristaayo abaagala okuteeka Yakuwa mu bufumbo bwabwe balina okutambulira ku mitindo gye. Omutume Pawulo yawandiika: “Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekkanisa.” (Bef. 5:22, 23) Setaani yalimbalimba Kaawa bwe yamuleetera okulowooza nti okwewaggula ku Katonda kyandimutuusizza ku ssanyu ery’olubeerera. Awatali kubuusabuusa, omwoyo ogwo ogwa kyetwala gweyolekera mu bufumbo bungi nnyo leero. Kyokka, abakazi abatya Katonda tebakitwala nti okugondera babbaabwe kintu kibi. Bakimanyi bulungi nti Yakuwa yatonda Kaawa abe “omubeezi” wa bba, era ng’ekyo kyali kifo kya kitiibwa mu maaso ga Katonda. (Lub. 2:18) Omukazi Omukristaayo agondera enteekateeka ya Katonda eyo ddala aba “ngule” eri bba.—Nge. 12:4.
11. Ow’oluganda omu agamba nti kiki ekimuyambye mu bufumbo?
11 Ekintu ekirala ekiyamba abafumbo okuteeka Katonda mu bufumbo bwabwe kwe kusomera awamu Ekigambo kya Katonda. Gerald eyaakamala emyaka 55 mu bufumbo agamba, “Ekintu ekisingayo okuyamba obufumbo okutambula obulungi kwe kusomera awamu Baibuli.” Era agamba, “Okukolera awamu ebintu, naddala eby’omwoyo, kiyamba abafumbo okukolagana obulungi, era n’okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa.” Okusomera awamu Baibuli kiyamba abafumbo okumanya obulungi emitindo gya Yakuwa, okukula mu by’omwoyo, n’okutwala obufumbo bwabwe mu maaso.
12, 13. (a) Lwaki kikulu nnyo abafumbo okusabira awamu? (b) Bintu ki ebirala ebiyamba okunyweza obufumbo?
12 Abafumbo abaagalana era basabira wamu. Omusajja ‘bw’afuka omutima gwe’ ng’asaba ebintu ebibakwatako bombi kiyamba okunyweza obufumbo bwabwe. (Zab. 62:8) Ng’ekyokulabirako, kiba kyangu okwerabira obutategeeragana obuli wakati wammwe bwe musaba Katonda okubawa obulagirizi nga muli wamu. (Mat. 6:14, 15) Nga mukolera ku bye musabye, kirungi buli omu okuyamba n’okweyongera ‘okugumiikiriza n’okusonyiwa’ munne. (Bak. 3:13, NW) Jjukira nti okusaba kulaga nti obwesige bwammwe mubutadde mu Katonda. Kabaka Dawudi yagamba nti: ‘Amaaso ga buli omu gakulindirira.’ (Zab. 145:15) Bwe tuteeka essuubi lyaffe mu Katonda nga tumusaba, ebitweraliikiriza biba bitono olw’okuba tumanyi nti ‘atufaako.’—1 Peet. 5:7.
13 Ekintu ekirala ekiyamba abafumbo okukuumira Yakuwa mu bufumbo bwabwe kwe kugenda bombi mu nkuŋŋaana ne mu buweereza bw’ennimiro. Mu nkuŋŋaana zaffe, abafumbo bayiga engeri y’okwaŋŋangamu “enkwe” Setaani z’akozesa okwonoona obufumbo. (Bef. 6:11) Era omwami n’omukyala abatera okukolera awamu mu buweereza bw’ennimiro baba ‘banywevu era tebasagaasagana.’—1 Kol. 15:58.
Bwe Wajjawo Ebizibu
14. Bintu ki ebiyinza okuleetawo ebizibu mu bufumbo?
14 Kituufu nti ebyo ebyogeddwako waggulu si bipya, naye lwaki totuula wamu ne munno ne mubyogerako? Muyinza okwesanga nga waliwo kye mwetaaga okukola musobole okulongoosa mu bufumbo bwammwe. Kyokka, Baibuli egamba nti n’abo abakulembeza Katonda mu bufumbo bwabwe ‘bajja kuba n’okubonaabona mu mubiri.’ (1 Kol. 7:28) Abaweereza ba Katonda abeesigwa nabo bayinza okufuna ebizibu eby’amaanyi mu bufumbo bwabwe olw’okuba tebatuukiridde, beetooloddwa abantu ababi, n’olw’emitego gya Setaani. (2 Kol. 2:11) Naye Yakuwa atuyamba okugumira ebizibu ng’ebyo. Yee, tusobola okubigumira. Yobu omusajja omwesigwa yafiirwa ebisolo bye, abakozi be, n’abaana be. Naye Baibuli egamba nti: ‘Mu ebyo byonna Yobu teyayonoona, so teyavuma Katonda busirusiru.’—Yobu 1:13-22.
15. Kiki omuntu ky’ayinza okukola ng’afunye ebizibu, era bw’akola bw’atyo, munne mu bufumbo yandyeyisizza atya?
15 Kyokka ye muka Yobu yamugamba nti: “Okyanyweza obutayonoona bwo? Weegaane Katonda ofe!” (Yobu 2:9) Kino kiraga nti bwe wagwawo ebizibu, omuntu ayinza okwesanga ng’akoze ekintu ekitali kya magezi. Omusajja omugezigezi yagamba: “Okunyigirizibwa kuleetera omuntu ow’amagezi okweyisa ng’omulalu.” (Mub. 7:7, NW) Munno bw’ayogeza obusungu olw’embeera enzibu oba ‘enyigiriza,’ fuba okusigala ng’oli mukkakkamu. Bw’ogezaako okwesasuza, mwembi muyinza okwesanga nga mwogedde ebintu ebyonoona obwonoonyi embeera. (Soma Zabbuli 37:8.) N’olwekyo, towuliriza ‘bigambo ebyanguyirize’ omuntu by’ayinza okwogera nga yeekyaye oba ng’ebizibu bimuyitiriddeko.—Yobu 6:3.
16. (a) Yesu bye yayogera mu Matayo 7:1-5 bikwata bitya ku bufumbo? (b) Lwaki kikulu abafumbo okutunuulira ebintu mu ngeri ennuŋŋamu?
16 Tosuubira munno kukola buli kintu nga bwe wandikyagadde. Oyinza okukizuula nti munno alina engeri z’otoyagala, muli n’ogamba nti, ‘Nja kuzimuggyamu.’ Oluusi bw’okwata munno obulungi era n’obugumiikiriza, osobola okumuyamba okutereeza ebintu ebimu. Naye teweerabira nti Yesu yafaanaganya omuntu alondalonda banne n’oyo alaba “akantu” akali ku liiso lya muganda we, n’alemererwa okulaba “enjaliiro” eri ku liiso lye. Yatugamba nti: “Temusalanga musango, muleme okusalirwa.” (Soma Matayo 7:1-5.) Kino tekitegeeza nti abafumbo tebalina kugezaako kulwanyisa bunafu bwabwe obw’amaanyi. Robert eyaakamala emyaka kumpi 40 mu bufumbo agamba nti: “Buli omu okusobola okugamba ku munne awatali kutya, n’okumuwuliriza ng’aliko eky’amakulu ky’amugambye kiyinza okwetaagisa abafumbo okukola enkyukakyuka ez’amaanyi.” N’olwekyo, kirungi okutunuulira ebintu mu ngeri ennuŋŋamu. Mu kifo ky’okunyiiga olw’okuba munno talina ngeri ze wandyagadde abe nazo, fuba okusiima engeri ennungi z’alina kati.—Mub. 9:9.
17, 18. Embeera bw’etuzibuwalira, tusobola kufuna wa obuyambi?
17 Enkyukakyuka ezibaawo mu bulamu ziyinza okuleetawo embeera ezigezesa. Ebintu biyinza okuzibuwala ng’abafumbo bazadde abaana. Munno mu bufumbo oba omwana wammwe ayinza okufuna obulwadde obw’amaanyi. Bazadde bammwe bayinza okwetaaga okulabirirwa ennyo bwe bagenda bakaddiwa. Abaana bayinza okukula ne bava awaka ate nga babeera wala. Wayinza n’okujjawo enkyukakyuka endala olw’okufuna obuvunaanyizibwa mu kibiina. Bino byonna biyinza okuleetawo embeera ezigezesa mu bufumbo.
18 Oyinza kukola ki singa owulira ng’embeera y’obufumbo bwo ezibuwadde ekisusse? (Nge. 24:10) Tolekulira! Tewali kisanyusa Setaani nga kulaba muweereza wa Katonda ng’avudde mu kusinza okw’amazima. Aba musanyufu n’okusingawo, abo abavudde mu mazima bwe baba mwami na mukyala. N’olwekyo, mufube okulaba nti obufumbo bwammwe bubeera ng’omuguwa ogw’emiyondo esatu. Baibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abafumbo abaafuna ebizibu naye ne baasigala nga beesigwa. Ng’ekyokulabirako, lumu Dawudi yasaba Yakuwa n’agamba nti: “Onsaasire, ai Katonda, kubanga abantu . . . banjooga.” (Zab. 56:1) Wali obaddeko ‘n’abantu’ abakujooga? Oyo akujooga k’abe ani, jjukira nti: Dawudi yafuna amaanyi n’asobola okugumiikiriza era naawe osobola. Yagamba nti:“N[n]anoonya Mukama, n’anziramu, n’andokola mu kutya kwange kwonna.”—Zab. 34:4.
Emikisa Emirala
19. Tuyinza tutya okulwanyisa Setaani?
19 Mu kiseera kino eky’enkomerero, abafumbo kibeetaagisa ‘okubudaabudagananga n’okuzimbagananga.’ (1 Bas. 5:11, NW) Teweerabira Setaani kye yagamba nti okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa tulina okuba ne kye tumufunako. Setaani ajja kukozesa emitego egya buli ngeri, nga mw’otwalidde n’okutabangula obufumbo, okulaba nti atulemesa okwesiga Katonda. Okusobola okumulwanyisa, tulina okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. (Nge. 3:5, 6) Pawulo yawandiika nti: “Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.”—Baf. 4:13.
20. Mikisa ki egiva mu kukuumira Katonda mu bufumbo bwaffe?
20 Okukuumira Katonda mu bufumbo kivaamu emikisa mingi. Bwe kityo bwe kibadde eri Joel ne mukazi we gw’amaze naye emyaka 51. Agamba nti: “Nneebaza Yakuwa bulijjo olw’omukyala gwe nnafuna n’olw’enkolagana ennungi gye tulina. Abadde mubeezi mulungi nnyo.” Kiki ekibayambye okuba n’obufumbo obw’essanyu? “Buli omu afuba okulaga munne ekisa, obugumiikiriza, n’okwagala.” Kino tewali n’omu ku ffe ayinza kukikola mu ngeri etuukiridde mu nteekateeka y’ebintu eno. Naye, ka tufube okutambulira ku misingi gya Baibuli n’okukuumira Yakuwa mu bufumbo bwaffe. Bwe tunaakola tutyo, obufumbo bwaffe bujja kuba ‘ng’omuguwa ogw’emiyondo esatu ogutatera kukutuka.’—Mub. 4:12.
Ojjukira?
• Okukuumira Yakuwa mu bufumbo kitegeeza ki?
• Abafumbo balina kukola ki nga wazzeewo ebizibu?
• Obufumbo obulimu Katonda tubumanyira ku ki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Okusabira awamu kiyamba abafumbo okwaŋŋanga ebizibu