Ebirimu
Agusito 15, 2008
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIKI EYA:
Ssebutemba 29, 2008–Okitobba 5, 2008
Yakuwa Tajja Kwabulira Bantu Be Abeesigwa
OLUPAPULA 3
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 49, 38
Okitobba 6-12, 2008
Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu
OLUPAPULA 7
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 17, 4
Okitobba 13-19, 2008
Gulumiza Yakuwa ng’Oyoleka Ekitiibwa Kye
OLUPAPULA 12
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 23, 57
Okitobba 20-26, 2008
Yakuwa Afaayo ku Baweereza Be Abakaddiye
OLUPAPULA 17
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 28, 56
Okitobba 27, 2008–Noovemba 2, 2008
Omanyi Bulungi Okwogera “Olulimi Olulongoofu”?
OLUPAPULA 21
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 64, 75
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
Ebitundu eby’Okusoma 1, 2 OLUPAPULA 3-11
Ebintu bino ebyogera ku ngeri Isiraeri gye yayawulwamu, obwakabaka bw’ebukiika kkono n’obw’ebukiika ddyo, biraga nti Yakuwa tayabulira bantu be abeesigwa. Ebintu bino biteeka essira ku ky’okuba nti tulina okuyiga okuba abeesigwa kati tusobole okwewala omwoyo gw’okwagala ebintu n’okwetulinkiriza.
Ekitundu eky’Okusoma 3 OLUPAPULA 12-16
Ekitundu kino kiraga engeri okutegeera ekitiibwa kya Katonda gye kyanditukutteko. Kiraga bye tuyiga ku kitiibwa kya Katonda okuva ku ngeri Yesu gye yayisangamu abalala. Era tujja kuyiga engeri y’okwolekamu ekitiibwa kya Katonda.
Ekitundu eky’Okusoma 4 OLUPAPULA 17-21
Yiga okutunuulira bannamukadde Abakristaayo nga Yakuwa bw’abatunuulira. Weetegereze engeri Baibuli gye tuyamba okuyiga okubafaako, okubayamba mu by’omwoyo, n’okubawa ekitiibwa olw’ebintu ebingi bye bamanyi.
Ekitundu eky’Okusoma 5 OLUPAPULA 21-25
Okuyitira mu nnabbi we Zeffaniya, Yakuwa yagamba nti: “Ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu.” (Zef. 3:9) Manya “olulimi olulongoofu” kye kitegeeza. Laba by’olina okukola okusobola okuluyiga. Era manya engeri gy’oyinza okukozesaamu olulimi olwo okutendereza Yakuwa.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
OLUPAPULA 26
OLUPAPULA 29
OLUPAPULA 30